ترجمة سورة الأنفال

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الأنفال باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ebikwata ku minyago, gamba nti e minyago gy’a Katonda n’omubaka, kale nno mutye Katonda, era mulongoose e nkolagana wakati wa mmwe, era mugondere Katonda n’omubakawe bwe muba nga muli bakkiriza.
2. Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa.
3. Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako.
4. Abo b’e bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama omulabirizi waabwe n’ekisonyiwo n’okugabirirwa okuyitirivu.
5. (Kino kifaanana) nga Mukama omulabiriziwo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe badri), so nga ettengetenge mu bakkirizza baali tebakyagadde.
6. Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula.
7. Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri.
8. Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala.
9. Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana.
10. Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
11. Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe.
12. Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo.
13. Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
14. Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro.
15. Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga.
16. Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi.
17. Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi.
18. E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri.
19. (Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.
20. Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubakawe, temumuvangako, ate nga muwulira (bya bagamba).
21. Temubeera nga abo ab’agamba nti tuwulidde so nga tebawulira.
22. Mazima e kiramu e kisinga obubi ewa Katonda, be ba kiggala, ba kasiru abo abatategeera.
23. Singa Katonda yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse nebava ku mazima.
24. Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Katonda n’omubaka bwabayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Katonda, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutimagwe, so ng’ate bulijjo, mazima gyali gye mugenda okukunganyizibwa.
25. Mutye e kikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi mu mmwe bokka, era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
26. Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza.
27. Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Katonda n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi.
28. Era mumanye nti mazima e mmaali ya mmwe, n’abaana ba mmwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Katonda, alina empeera ensukkulumu.
29. Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Katonda, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko e byonoono bya mmwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Katonda ye nannyini bigabwa e bisuffu.
30. Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe.
31. Bwe basomerwa e bigambo byaffe bagamba, nti mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (byoyogera), ebyo tebirina kye biri okugyako okuba enfumo z’a bedda.
32. Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo.
33. Naye Katonda teyali w’akubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Katonda teyali w’akubabonereza nga beegayirira.
34. Kale nga lwaki Katonda teyaalibabonerezza! ng’ate baziyiza (abantu) abakkiriza okutuuka eri omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okugyako abatya Katonda, wabula ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.
35. Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga.
36. Mazima abo abaakaafuwala, bawaayo e mmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya Katonda, kale bajja kugiwaayo, oluvanyuma ebafuukire e ky'okwejjusa, era bawangulwe, ng’ate abo abaakaafuwala, bagenda kukunganyizibwa batwalibwe mu muliro Jahannama.
37. Olwo nno Katonda abe nga ayawula omubi ku mulungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu muliro Jahannama. Abo nno be baafaafaganirwa.
38. Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa.
39. Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola.
40. Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga.
41. Era mumanye nti omunyago gwonna gwemuba muggye ku mulabe, mazima kimu kyakutaano kyagwo kya Katonda, n’omubaka, nab’oluganda olw'okumpi olwa Nabbi, ne ba mulekwa, n’a banaku, n’omutambuze, bwe muba nga mwakkiriza Katonda n'ebyo bye twassa ku muddu waffe (Muhammad) ku lunaku Katonda lwe yayawula amazima ku bulimba, olunaku e bibinja e bibiri lwe byasisinkana (ku lutalo e Badri), bulijjo Katonda w’a buyinza ku buli kintu.
42. Mujjukire e kiwonvu bwe mwakiri ku ludda oluli okumpi (n'ekibuga Madinah, nga ate abalabe ba mmwe bali mitala, ate nga n’a baali mu kibinja kya basuubuzi nga bali mu kifo ekiri wansi wa mmwe, singa mwali mulagaanye okusisinkana mwandiyawukanye ku ndagaano eyo, naye (mwasisinkana), Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, olwo nno oyo anaazikirira, azikirire nga azikirira lwa nsonga, n’asigadde nga mulamu asigale lwa nsonga, bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, era mumanyi nnyo.
43. Jjukira Katonda bwe yabakulaga (abalabebo) mu kirootokyo, nga batono, so nga singa yabakulaga nga bangi mwalinafuye ne mukubagana empawa mu kusalawo, naye mazima Katonda yabataasa, anti Katonda muyitirivu w'a kumanya ebiri mu bifuba bya mmwe.
44. Era jjukira Katonda bwe yababalaga nga batono mu maaso ga mmwe, bwe mwasisinkana, mmwe naabafuula batono mu maaso gaabwe, Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo e nsonga zonna ewa Katonda gye zizzibwa.
45. Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga e kibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule.
46. Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza.
47. Temubeera nga (abakaafiiri) abaafuluma mu mayumba gaabwe nga beekuluntaza n’okweraga eri abantu, era nga baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y’a Katonda, nga bulijjo Katonda yeetoolodde ebyo byonna bye bakola.
48. Jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza.
49. Jjukira abannanfusi n’abalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti, e ddiini yaabo abakkiriza ebabuzizza, sso nga buli eyeekwasa Katonda (y’aba akoze e kituufu), anti mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
50. Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya.
51. Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube.
52. (Ebyo ebituuse ku bakaafiiri) bifaanana n’ebyatuuka ku bantu ba Firawo, n'abo abaabakulembera, baawakanya ebigambo bya Katonda, Katonda naababonereza olw'e byonoono bya bwe, mazima ddala Katonda wa maanyi era muyitirivu wa kubonereza.
53. Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo.
54. Bafaanana nga abantu ba Firawo, n'abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe, baalimbisa e bigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, netubazikiriza olw'ebibi bya bwe, netusaanyaawo abantu ba Firawo, era bonna baali beeyisizza bubi.
55. Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso g’a Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza.
56. Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda.
57. Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira.
58. Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya.
59. Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda).
60. Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi.
61. Singa bayaayaanira e mirembe naawe giyaayaanire, era weekwase Katonda, anti mazima yye awulira nnyo, mumanyi.
62. Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza.
63. Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
64. Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza.
65. Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera.
66. Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza.
67. Tekisaanira Nabbi yenna kuba na bawambe okutuusa nga amaze okusimba amakanda mu nsi. (Bwe musalawo okutwala abawambe nga temunnanywera) muba mwagala bya kufuna byansi, ng’ate Katonda ayagala nkomerero, ate nga bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
68. Singa ssi kusalawo kwa Katonda oluberyeberye, mwandituusiddwako e kibonerezo e kikakali olw'ebyo bye mwatwala.
69. Kale nno mulye mu ebyo bye mufunye, nga minyago ebiri Halal ate nga birungi, era mutye Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaazizi.
70. Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
71. Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima ba kumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, agoba nsonga.
72. Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola.
73. Ate abo abaakaafuwala abamu mikwano gya bannaabwe, bwe mutaakikole (eky'okutaasa bannammwe bemuteekwa okukikolera), olwo wajja kubaawo obuzibu mu nsi n’okwonoona kungi.
74. Era abo abakkiriza nebasenguka, nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, n'abo abaabudamya nebataasa (abaava e Mekkah), abo nno be bakkiriza abannamaddala. Balina e kisonyiwo n’okugabirirwa okw'ettendo.
75. Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.
Icon