ترجمة سورة الرّوم

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الرّوم باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Alif Laam Miim.
2. Abaroma bawanguddwa.
3. Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shami) ate nabo oluvanyuma lw'okuwangulwa kwa bwe, bajja kuwangula.
4. Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Katonda oluberyeberye n'oluvanyuma, olunaku olwo abakkiriza bagenda kukyakyankya.
5. Ku lw'okutaasa kwa Katonda (Katonda) ataasa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
6. Eyo ndagaano ya Katonda, Katonda tayawukana ku ndagaanoye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
7. (Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi.
8. Abaffe tebafumiitiriza mu myooyo gyabwe (ne bakiraba nti) Katonda teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina e kiseera ekigere naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
9. Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.
10. Oluvanyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa e bigambo bya Katonda era baali babijeeja.
11. Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa.
12. Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira.
13. Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe.
14. Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana.
15. Bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa.
16. Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe ne balimbisa n'ensisinkano y’olunaku lw'enkomerero, abo bagenda kuteekebwa mu bibonerezo.
17. N'olwekyo asukkulumizibwe Katonda mu kiseera wemubeerera mu biseera eby'olweggulo ne wemubeerera mu biseera eby'okumakya.
18. Era okutenderezebwa ku kwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu.
19. (Era Katonda) aggya e kiramu mu kifu era naggya e kifu mu kiramu, era y'awa ensi obulamu oluvanyuma lw'okufa kwayo era bwe mutyo bwe muliggyibwa mu ntaana.
20. Era mu bubonerobwe (obulaga obuyinzabwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi.
21. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti yabatondera be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe, mube nga musobola okubeera nabo, era yassa wakati wa mmwe omukwano n'okusaasira , mazima ebyo mulimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.
22. Era mu bubonerobwe :okutonda eggulu omusanvu n'ensi n'okwawukana kw'ennimi zammwe n'amabala gammwe mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abamanyi.
23. Era mu bubonerobwe :okwebaka kwa mmwe ekiro n'emisana n'okunoonya kwa mmwe ebigabwabye mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abawulira.
24. Era mu bubonerobwe :kwe kuba nti abalaga ekimyanso ky'eggulu nga mukitya ate nga mululunkanira (enkuba) era assa okuva waggulu amazzi n'awa nago ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abategeera.
25. Era mu bubonerobwe :eggulu n'ensi okubeerawo ku kiragirokye, oluvanyuma bwali bakoowoola olukoowoola nti (muve) mu ttaka, oligenda okulaba nga muvaayo
26. Era bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi byonna bigondera yye (yekka).
27. Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaalibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
28. (Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwe nnyini nga agamba nti abaffe mwebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mwabo emikono gyamwe bye gifuga (abaddu ba mmwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bulijjo bw tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera.
29. Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa.
30. Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri eddiini ng'oli mwesimbu. (Olw'okuba eddiini eyo) y'enkola ya Katonda gye yatonderako abantu, tewali kukyusa mu ntonda ya Katonda, eyo ye ddiini ennambulukufu, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
31. (N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
32. Mu abo abaatemaatema e ddiini yaabwe ne baba bibiina nga buli kibinja kikyakyankya n'ebyo bye kirina.
33. Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama omulabirizi waabwe nga bamwemenyera, oluvanyuma bwabaloza ku kusaasira okuva gyali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.
34. Kale beegaane ebyo bye twabawa era mweyagale mmwe (nabo) lumu mulimanya.
35. Abaffe oba twabawa obujulizi nga bwogera ku ebyo bye bagatta ku Katonda (nti bituufu!).
36. Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda.
37. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.
38. Kale wa ow'olugandalwo olw'okumpi kyateekwa okuweebwa, n'omufuna mpola, n'omutambuze ekyo kye kirungi eri abo abaagala ebiri eri Katonda era abo bbo be bookutuuka ku kigendererwa.
39. Ekyo kyonna kye muba muwaddeyo (nga muwola) mu mmaali ey'ennyongeza (Riba) nti zigende zizaalire mu mmaali y'abantu tezizaala ewa Katonda, ate ekyo kye muba muwaddeyo mu Zzaka nga mwagala ebiri eri Katonda abo nno be basaanira ennyongeza.
40. Katonda yooyo eyabatonda bwamala naabagabirira bwamala naabatta, oluvanyuma agenda kubawa obulamu, abaffe mu bannammwe be mugatta ku Katonda waliwo akola ku ebyo ekintu kyonna? musukkulumu Katonda era yayawukana ku ebyo bye bamugattako.
41. Obwonoonefu bweyolese ku lukalu ne ku nnyanja olw'ebyo emikono gy'abantu bye gikola, (Katonda) alyoke abakombese ku bukaawu bw'ebimu ku ebyo bye baakola, balyoke beekomeko.
42. Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
43. Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja.
44. Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe.
45. Katonda alyoke asasule mu bigabwabye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima yye tayagala bakaafiiri.
46. Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo).
47. Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza.
48. Katonda yooyo atambuza empewo, nezifuukuula ebire naabyanjuluza mu bbanga nga bwaba ayagadde, naabifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namutikkwa w'enkuba nga bivaamu, (Katonda) bwagituusa ku abo baaba ayagadde mu baddube ogenda okulaba nga bo basanyuka.
49. Newaakubadde nga tennaba kubatonnyesebwa oluberyeberye lw'ekyo baali bakutuse n'okusuubira.
50. Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu.
51. Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda).
52. (N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega.
53. Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda.
54. Katonda yooyo eyatonda mmwe okutandikira mu bunafu, ate oluvanyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvanyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda kyaba ayagadde era yye ye mumanyi ennyo omuyinza.
55. Olunaku lw'enkomerero lwe lulituuka aboonoonyi balilayira nti (Ku nsi) tebaatuulako okugyako kaseera katono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa.
56. Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi.
57. Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwa bwe tekulibagasa era tebagenda kukubirizibwa kwenenya.
58. Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abakaafuwala bajja kugamba nti temuli mmwe okugyako okuba aboonoonyi.
59. Bwatyo Katonda bwazibikira emitima gy'abo abatamanyi.
60. Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda.
Icon