ترجمة معاني سورة الطلاق باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

1. Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala, mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidh), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba ku kkirizibwa kuddamu kufumbirwa). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Katonda. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Katonda naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo.
2. Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu.
6. (Abakyala abaweereddwa ttalaka) mu basuzenga mu mayumba mwe musula okusinziira ku busobozi bwa mmwe, temubatulugunyanga, nga ekigendererwa kubanyigiriza (balemererwe), naye bwe babanga bali mbuto mubalabirirenga okutuusa lwe bazaala. Ate (bwe babanga bazadde) nebabayonseza abaana, mubasasulenga. Era mukkiriziganye mu ngeri e nnungi, naye bwe mubanga mulemaganye olwo nno munoonye omulala anaayonsa.
آية رقم 9
9. (Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa.
11. Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma).
تقدم القراءة