ترجمة معاني سورة عبس
 باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
            .
            
                            
             
    
                                                                                                            ﰡ
                                                                                        
                    
                                                                                    1. (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    3. Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    4. Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    5. Oyo eyeegaggawaza nga yeematira.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    6. Ate ggwe gwe weemalira?
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    7. Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako?
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    8. So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    10. Ate ggwe gw’otofaako.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    11. Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    12. Aba ayagadde yeebuulirira nayo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    13. Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    14. Ebigulumizibwa, ebitukuvu.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    15. Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    16. Ab'ebitiibwa, abatukuvu.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    17. Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda?
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    18. (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda?
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    19. Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako).
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    20. Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa;
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    21. Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    22. Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    23. Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    24. Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu).
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    25. Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde.)
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    26. Ne tulyoka twasa ettaka olwasa     (olusaanira ebimera).
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    27. Olwo nno ne tumeza mu lyo   e mpeke.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    28. E mizabbibu n’ebimera       e bizimba omubiri.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    29. N’emizayituni n’emitende.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    30. N’ennimiro ezisaakaatiddemu  (e miti emiwanvu)
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    31. N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    32. Bibagase n’ebisolo bya mmwe. 
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    33. Naye okuboggola bwe kuliba kuzze.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    34. Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe,
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    35. Ne maamawe, ne kitaawe.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    36. Ne mukyalawe, n’abaanabe.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    37. Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    38. Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    39. Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    40. Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    41. Nga ekizikiza kibibisse.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    42. Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi.