ﰡ
1. Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi.
2. Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe.
3. Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu.
4. Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka.
5. Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe.
6. Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa.
7. Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda).
8. (Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe.
9. Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe.
10. Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana).
11. Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu.
12. Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka
13. Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana).
14. Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna.
15. Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa.
16. Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa.
17. Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde.
18. Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo.
19. Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya.
20. Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali.
21. Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo.
22. Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa.
23. Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!.
24. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka.
25. Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa).
26. (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe).
27. Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira.
28. Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi.
29. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu).
30. Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa.
31. Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala.
32. Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)!.
33. Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa.
34. Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa.
35. Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda!.
36. Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa.
37. (Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okugyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukuzibwa.
38. Tali yye okugyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza.
39. (Omubaka) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa kwa bwe.
40. (Katonda) naagamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa.
41. Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi.
42. Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe emirembe emirala.
43. Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna).
44. Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza.
45. Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala.
46. Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu.
47. Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza!.
48. Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa.
49. Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama.
50. Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta.
51. Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola.
52. Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye.
53. Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina.
54. Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa).
55. Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana.
56. Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera.
57. Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe.
58. Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza.
59. Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe.
60. Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe.
61. Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera
62. Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa.
63. Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere).
64. Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalajaana.
65. Temulaajana leero, mazima mmwe temuli ba kututaasibwako.
66. Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziro bya mmwe ne mubikuba amabega.
67. Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kur’ani), nga mugyogerako mu ngeri e mbi nga mutudde ku byoto bya mmwe ekiro.
68. Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kur’ani ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera.
69. Oba tebaamanya mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya.
70. Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima.
71. Singa amazima gaagoberera okwagala kwa bwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandi yonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kur’ani) naye (eky'ennaku) bbo beesamba ekitiibwa kya bwe.
72. Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama omulabiriziwo gwe gusinga obulungi era yye y'asinga abagabirizi bonna.
73. Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu.
74. Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo.
75. Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta.
76. Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda.
77. Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa.
78. (Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono.
79. Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa.
80. Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera!.
81. Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba.
82. Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa.
83. Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka.
84. Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi?.
85. Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira!.
86. Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa?.
87. Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.
88. Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi.
89. Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya!.
90. Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba.
91. Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera.
92. (Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.
93. Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa.
94. Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi.
95. Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala.
96. Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera.
97. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane.
98. Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera.
99. (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi).
100. Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
101. Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya.
102. Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima.
103. Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama.
104. Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde.
105. Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa.
106. Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula.
107. Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi.
108. Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange.
109. Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.
110. Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera.
111. Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima.
112. (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?
113. Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi.
114. Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi.
115. Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.
116. Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.
117. Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.
118. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna.