ترجمة سورة النّمل

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة النّمل باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. waa Siin, bino bigambo bya Kur’ani era ekitabo ekinnyonnyofu.
2. Kya kulungamya era mawulire ga ssanyu eri abakkiriza.
3. Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka era nga bbo bakakasa olunaku lw'enkomerero.
4. Mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabalabisiza bulungi emirimu gya bwe, olwo nno bbo ne babulubuuta.
5. Abo beebo abatuusibwako e bibonerezo ebizito (ng'okuttibwa) ate nga bbo ku lunaku lw'enkomerero be b'okufaafaaganirwa ennyo.
6. Era mazima ggwe (Muhammad) oweebwa Kur’ani ng'eva (ewa Katonda) mugoba nsonga amanyi ennyo.
7. Era jjukira (Musa) bwe yagamba ab'omu makage nti mazima nze nengedde omuliro (kanngendeyo) nja kubaleetera okuva we guli e kigambo oba mbaleetere ekitawuliro kibayambe okwota.
8. Naye bwe yagutuukako yakoowoolwa (naagambibwa) nti wa mukisa oyo ali mu muliro n'oyo ali emabbali waagwo, era yasukkuluma Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
9. Owange Musa mazima nze Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
10. Era suula omuggogwo, bwe yagulaba nga gwenyeenya nga gulinga akasota akatono yakyuka nadduka era nga tayagala kudda, (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange Musa totya mazima nze ababaka tebatya mu maaso gange.
11. Okugyako oyo aba yeeyisizza obubi mu bantu abalala abatali babaka oluvanyuma obubi n'abuwaanyisaamu obulungi mazima nze ndi musonyiyi nnyo musaasizi.
12. (Era Katonda naagamba Musa nti) yingiza omukonogwo mu lugoye lwo gujja kuvaayo nga mweru, so nga si mulwadde (nga ebibiri ebyo, bumu) ku bubonero omwenda bw'otwalira Firaawo n'abantube mazima bbo bantu aboonoonyi.
13. Obubonero bwaffe bwe bwabatuukako nga bulagira ddala amazima baagamba nti lino ddogo eryeyolefu.
14. Nebabuwakanya mu ngeri y'okweyisa obubi n'okwekuluntaza, so nga emyoyo gya bwe gya bukkiriza, kale nno tunuulira olabe enkomerero ya boonoonyi yali etya.
15. Era mazima twawa Dauda ne Sulaiman okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Katonda oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddube abakkiriza.
16. Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.
17. Sulaiman naakungirwa eggyerye nga liva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa.
18. Okutuusa lwe baatuuka ku lusenyi lw'ensanafu, ensanafu emu kwe kugamba nti abange ba wansanafu muyingire mu bisulo bya mmwe, Sulaiman n'eggyerye tebababetenta nga nabo tebamanyi.
19. Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu.
20. Era Sulaiman yatunula mu binyonyi naagamba nti lwaki e fulungu siriraba oba liri mu bataliiwo.
21. Nja ku libonereza e bibonerezo ebikakali si nakindi nja ku lisala oba ssi ekyo lindeetere ensonga ennambulukufu.
22. (E fulungu) lyamala ebbanga eritaali ddene (oluvanyuma nerijja ewa Sulaiman) nerigamba nti nategedde ekintu kyotategeeranga era nkuleetedde okuva e Sabaa amawulire amakakafu.
23. Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu.
24. Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama.
25. Nebatavunnamira Katonda oyo agyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne bye mwolesa.
26. Katonda, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.
27. (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba.
28. Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bwomala baweemu akabanga olabe ki kye baddamu.
29. (Balikiisi) bwe yafuna ebbaluwa naagamba nti abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa.
30. Mazima yyo eva wa Sulaiman era esoma nti ku lw'elinnya lya Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi omusaasizi ow'ekisa eky'enjawulo.
31. Temunneekuluntalizaako mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda.
32. (Balikisi) naagamba nti abange mmwe abakungu mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako).
33. Nebagamba nti: ffe tuli b'amaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bbwo obuyinza buli gyoli, laba ki kyolagira.
34. (Balikisi) naagamba nti: mazima abafuzi bwe bayingira e kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona ne bafuula abantu ab'ekitiibwa mu kyo abanyoomebwa era bwe batyo bwe bakola.
35. Era mazima nze ngenda kubaweereza ebirabo olwo nno ninde bentumye badda na ki?.
36. (Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulaiman yagamba nti: munsendasenda ne mmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Katonda bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo bya mmwe.
37. (Sulaiman naagamba) ddayo gye bali (n'ebirabo bya bwe) tugenda kubajjira n'eggye lye batalinaako busobozi, era (ensi eyo) tujja kugibafulumyamu nga ba wansi era nga banyoomebwa.
38. (Sulaiman) naagamba nti abange mmwe abakungu ani mu mmwe andeetera namulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda.
39. Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa.
40. (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo.
41. (Sulaiman) naagamba nti mukyusekyuse nnamulondoye tulabe anaasobola okugimanya oba anaabeera mu batasobola kugimanya.
42. (Balikiisi) bwe yajja naagambibwa nti: eyo ye namulondoyo? naagamba nti mazima eringa yeeyo, (Sulaiman) naagamba nti: twaweebwa okumanya (Katonda) oluberyeberye lw'omukyala ono nga tanajja era tubadde basiraamu.
43. Ekyamugaana (omukyala ono okubeera omusiraamu bye) ebyo bye yali asinza nga alese Katonda ali omu, mazima yye (balikiisi) yali ava mu bantu abakaafiiri.
44. Naagambibwa nti: yingira olubiri (amatiribona) olwo bwe yalaba olubiri naalulabanga amayengo g'amazzi naabikkula ku ntumbweze zombiriri (olw'okutya amazzi) (Sulaiman) naamugamba nti mazima lwo lubiri (olujja lwa lwo) lwakolebwa mu birawuli nga wansi w'ebirawuli waliyo amazzi, (Balikiisi) naagamba nti Mukama omulabirizi wange, mazima nze mbadde neeyisa bubi (kaakano) nsiramuse nga ngoberera Sulaiman ku lwa Mukama omulabirizi w'ebitonde.
45. Era mazima twatuma eri abantu b'ekika kya Thamud muganda waabwe Swaleh nti musinze Katonda ali omu, ekyaddirira abantu abo kwe kubaamu ebibinja bibiri ebikaayagana, (ekya bakkiriza n'abatakkiriza).
46. (Swaleh) naagamba nti abange mmwe abantu bange, lwaki musaba Katonda ekibi ng'ate temunnasaba kirungi, kale nno singa musaba Katonda okubasonyiwa mube nga musaasirwa.
47. Nebagamba nti tujja kufuna ebizibu ku lulwo ne ku lw'abo abali naawe. (Swaleh) naagamba nti omugabo gwa mmwe mu birungi oba mu bizibu biri eri Katonda, wabula mmwe muli abantu abalabankanyizibwa.
48. Mu kibuga kya bwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa.
49. Nebagamba (bannaabwe) mulayire Katonda nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantube. (bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima.
50. Ne bakola e nkwe ez'okutta (Swaleh n'abantube) naffe ne tuzaanukula e nkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi.
51. Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna.
52. Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abantu abamanyi.
53. Twawonya abo abakkiriza ate nga baali batya Katonda.
54. Era (jjukira omubaka waffe) Luutu bwe yagamba abantube nti: mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala!.
55. Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi, wabula mmwe muli abantu abakola ebikolwa eby'obubuyabuya.
56. Tekwali okwanukula kw'abantube okugyako okugamba obugambi nti, muwanganguse abantu abali ne Luutu nga mu baggya mu kitundu kya mmwe anti mazima bbo bantu abeetwala okuba abatukuvu.
57. Olwo nno ne tumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe twamugerera (twamulamulira okubeera) mu b'okuzikirira.
58. Netubafukirira e nkuba, n'eba nkuba mbi nnyo (eyafukirirwa) abantu abaalabubwa.
59. (Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti okutenderezebwa okujjuvu kwa Katonda era nti emirembe gibeere ku baddube abo beyawa enkizo (ey'okutuusa obubaka bwe eri abantu), abaffe Katonda omutonzi y'asinga obulungi oba ebyo bye bamugattako!.
60. Abaffe ani yatonda eggulu n'ensi, era n'abatonyeseza okuva waggulu amazzi, ne tumeza nago amalimiro agalabika obulungi, tekibangako mu mikono gyamwe okumeza emiti gyago. Ate oluvanyuma lw'ekyo wabaawo watya ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, wabula (ekibakozesa ekyo) lwa kuba nti bo bantu abenkanya Katonda n'ebintu ebirala.
61. Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi.
62. Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono.
63. Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu ne nnyanja era ani oyo asindika e mpewo nga zireeta essanyu (e nkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasirakwe (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, Katonda musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.
64. Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima.
65. Bagambe nti abali mu ggulu omusanvu n'ensi tewali amanyi byekusifu okugyako Katonda, (era n'olwekyo) tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa.
66. Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwa bwe kwamalayo byonna okutuusa ku lunaku lw'enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku lunaku olwo.
67. Abo abaakaafuwala bagamba nti bwe tulimala okufuuka ettaka ne bakadde baffe ate tulijjibwayo.
68. Mazima ffe ne bakadde baffe okuva edda kino kizze kitulagaanyisibwa (nga tewali kibaawo, n'olwekyo) bino tebiri okugyako nfumo z'abaakulembera.
69. Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe ngeriki enkomerero ya boonoonyi bwe yali.
70. Tonakuwala ku lwabwe era towulira bubi olw'enkwe ze basala.
71. Era bagamba nti endagaano eyo erituuka ddi bwe muba nga mwogera mazima.
72. Bagambe nti, si kulwa nga musemberedde ebimu ku ebyo bye musaba okubatuukako mu bwangu.
73. Era mazima Mukama omulabiriziwo ajjudde ebirungi byagabira abantu, naye abasinga obungi mu bo tebeebaza.
74. Era mazima Mukama omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bya bwe bye bikweka n'ebyo bye bakola mu lwatu.
75. Era tewali kyekusifu kyonna mu ggulu ne munsi wabula nga nakyo Kiri mu kitabo ekiraga buli kimu.
76. Mazima Kur’ani eno etegeeza abaana ba Israil ebisinga obungi ebyo bye baawukanamu.
77. Era mazima yyo bulungamu na kusaasira eri abakkiriza.
78. Era Mukama omulabiriziwo alitaawulula wakati wa bwe nga abalamula, era yye ye nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
79. N'olwekyo (ggwe Muhammad) weekwate ku Katonda, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu.
80. (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega.
81. Era ggwe tosobola kulungamya ba muzibe noobaggya ku bubuze bwa bwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda.
82. Ekigambo bwe kiribagwaako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa bigambo byaffe.
83. Era babuulire olunaku lwe tulikungaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bawalulwa mu miteeko.
84. Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki?.
85. Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakataako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula.
86. Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza.
87. Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa.
88. Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola.
89. Oyo yenna alijja n'ekirungi agenda kuweebwa ekirungi ekikisingako, era bbo baliba mirembe ku ntiisa y'olunaku olwo.
90. N'oyo alijja n'ekibi ebyenyi byabwe bigenda kuvumbikibwa mu muliro, abaffe mulisasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola.
91. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima nalagirwa okuba nga nsinza Mukama omulabirizi w'ekibuga kino (Makkah) oyo eyakifuula e ky'emizizo era buli kintu kyonna kikye era nnalagirwa okubeera mu beewa ewa Katonda.
92. (Era nnalagirwa) okuba nga nsoma Kur’ani, kale nno oyo yenna alungama alungama ku lulwe, ate oyo abula, bagambe nti mazima nze ndi wa mu batiisa.
93. Era gamba nti buli kitendo kyonna kya Mukama Katonda ajja kubalaga obubonerobwe muli bumanya (ng'ate tebukyabagasa) Mukama omulabiriziwo tabangako atafaayo ku ebyo bye mukola.
Icon