ترجمة سورة الحاقة

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الحاقة باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero).
2. Olunaku lwokwolesa amazima kyeki.
3. Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki.
4. Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa.
5. Abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi.
6. Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu.
7. Gweyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso.
8. Gwe mu kulaba waliwo eyawona.
9. Farawo, n'abamukulembera, naabo abali kubyalo bya Luutu bayonoona.
10. Ekyatuusa buli bamu okujeemera omubaka Katonda gwe yabatumira. Katonda kye yava abakwata olukwata oluyitirivu.
11. Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato.
12. Olwo nno tulyoke tukibafuulire mmwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera.
13. Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka.
14. Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu.
15. Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse.
16. Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba lyabirivu.
17. Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo.
18. Ku lunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka.
19. Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange.
20. Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa.
21. Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa.
22. Mu jjana ey'a waggulu.
23. Ebibala byayo nga birengejjera kumpi.
24. Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita.
25. Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange.
26. Era nessimanya kubalibwa kwange.
27. Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira.
28. Ebyobugagga byange tebingasizza.
29. Sikyalina byakuwoza.
30. Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje.
31. Bwemumala mumukasuke mu muliro.
32. Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu.
33. Anti yali takkiriza Katonda owekitiibwa.
34. Era nga takubiriza kuliisa banaku.
35. N'olwekyo olwaleero wano talinawo muntu amulumirwa.
36. Nga bwatalina kyakulya okugyako masirasira.
37. Ebintu ebitayinza kulibwa okugyako abonoonyi.
38. Tewali kingana kulayira ebyo byemulaba.
39. Nebyo byemutalaba
40. Mazima Kur'ani bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa.
41. Ssi bigambo bya mutontomi naye Iman yammwe yentono.
42. Era sibigambo bya mulaguzi naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula).
43. Byassibwa ku ye okuva eri omulezi w'ebitonde.
44. Singa yetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma.
45. Twalimukutteko n'amanyi.
46. Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu.
47. Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye.
48. Mazima yyo Kur'ani kyakwebuulirira eri abatya Katonda.
49. Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (Kur'ani).
50. Mazima okugirimbisa (Kur'ani) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abakafiiri.
51. Mazima yo Kur'ani ge mazima aga namaddala.
52. Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katonda wo owekitiibwa.
Icon