ترجمة سورة القلم

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة القلم باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa.
2. Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu.
3. Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo.
4. Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo.
5. Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba.
6. Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu.
7. Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu.
8. Kale nno togondera abo abalimbisa.
9. Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera.
10. Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa.
11. Omugeyi atambuza olugambo.
12. Omukodo, omulumbaganyi omwononefu.
13. Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi.
14. Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana.
15. Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda.
16. Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro.
17. Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala.
18. Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah.
19. Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase.
20. Okugenda okukya ngankalu nga enkungule.
21. Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne.
22. Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye.
23. Baatambula nga bogera bwama.
24. Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe.
25. Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu.
26. Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze.
27. Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini.
28. Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda.
29. Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi.
30. Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe.
31. Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu.
32. Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi.
33. Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi.
34. Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe
35. Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi.
36. Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya!
37. Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma.
38. Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero.
39. Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba.
40. Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo.
41. Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima.
42. Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola.
43. Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola.
44. Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi.
45. Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu.
46. Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula.
47. Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi).
48. Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu.
49. Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa.
50. Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu.
51. Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu.
52. So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde.
Icon