ترجمة سورة الدّخان

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الدّخان باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ha Miim.
2. Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu.
3. Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu).
4. Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo.
5. Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka.
6. (Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo.
7. (Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala.
8. Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka.
9. Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya.
10. Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu).
11. Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo.
12. (Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza.
13. Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira.
14. Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu.
15. Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe).
16. (Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza.
17. Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa.
18. (Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa.
19. Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu.
20. Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja.
21. Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi)
22. (Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi.
23. (Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa.
24. (Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa.
25. Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka?.
26. N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa.
27. Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu.
28. Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala.
29. Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye).
30. Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa.
31. (Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo.
32. Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala.
33. Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu.
34. Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti.
35. Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa.
36. (Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima.
37. Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi.
38. Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya.
39. Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi.
40. Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa.
41. Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa.
42. Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo.
43. Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi.
44. Ye mmere ya bonoonyi.
45. (Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya).
46. Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse.
47. (Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu.
48. Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako).
49. (Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira).
50. Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana.
51. Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe.
52. Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo.
53. Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye.
54. Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene.
55. Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe.
56. Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu.
57. (Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu.
58. Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo).
59. Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde.
Icon