ترجمة سورة سبأ

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة سبأ باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ebitendo byonna bya Katonda, oyo nga bibye yekka, ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era ebitendo byonna bibye ku nkomerero era yye ye mugoba nsonga amanyi ennyo.
2. Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mu lyo, era yye ye musaasizi omusonyiyi.
3. Abo abaakaafuwala bagamba nti enkomerero tegenda kutujjira, bagambe nti nedda ndayidde Mukama omulabirizi wange (enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama omulabirizi wange) omumanyi w'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako kakabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kwako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okugyako nga kiri mu kitabo ekinnyonnyofu.
4. (Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo ne riziki eweesa ekitiibwa.
5. Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa ebigambo byaffe, abo balina ebibonerezo ebiruma olw'ebyonoono (byabwe).
6. Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa.
7. Abo abaakaafuwala (mu kujereegerera) bagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya.
8. Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala.
9. Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenyeza Katonda we.
10. Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma.
11. (Netumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima nze ndabira ddala ebyo bye mukola.
12. Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri.
13. N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange.
14. Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okugyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambula nga nagwo) olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa.
15. Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi.
16. Baava ku kyabalagirwa netubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono.
17. Ekyo kye twabasasula olw'obukaafiiri bwa bwe, ye ate tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okugyako abakaafiiri.
18. Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe.
19. Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo.
20. Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye nga akozesa bbo, olwo nno ne bamugoberera okugyako ekitundu ku bakkiriza.
21. Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu.
22. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala.
23. Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu.
24. Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu.
25. Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola.
26. Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo.
27. Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula yye ye Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
28. Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
29. Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!.
30. Bagambe nti mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna).
31. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: tetujja kukkiriza Kur’ani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa osobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba aba waggulu nti singa temwali mmwe twandibadde bakkirizza.
32. Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulungamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi.
33. N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Katonda netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola.
34. Era tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya nga bagamba nti mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo.
35. Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa.
36. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.
37. Era emmaali ya mmwe n’abaana ba mmwe si bye biyamba okusembera gye tuli okugyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nyumba ensitufu.
38. N'abo abassa amaanyi mu kulemesa ebigambo byaffe bagenda kuleetebwa eri bibonerezo
39. Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi.
40. Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe.
41. Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu.
42. (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.
43. Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu.
44. (Boogera ebyo naye nga) tetubawanga bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna oluberyeberye lwo.
45. Era abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa (abaka baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimu kya kkumi kye twawa bali, ate olwo nno nebalimbisa ababaka bange, naye nnababonereza ngeriki?.
46. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde.
47. Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa.
48. Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange akozesa amazima najjawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu.
49. Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda.
50. Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala.
51. Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala.
52. Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde).
53. Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala.
54. Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza).
Icon