ﰁ
surah.translation
.
ﰡ
1. Eggulu bwe liryeyasaamu.
2. Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde.
3. Ensi bw'eriseeteezebwa.
4. N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere.
5. N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde.
6. Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana.
7. Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo.
8. Agenda kubalwa olubala olwangu.
9. Era adde eri banne nga musanyufu.
10. Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe.
11. Agenda kukuba e biwoobe.
ﮜﮝ
ﰋ
12. Yeesogge omuliro Sa-iira.
13. Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda).
14. Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira.
15. So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba.
16. Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa).
17. Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya.
18. Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde.
19. Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala).
20. Naye lwaki tebakkiriza!
21. Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama.
22. Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani).
23. So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe).
24. Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma.
25. Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo.