ﰡ
1. Okussa ekitabo kino (Kur’ani) kuva ewa Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
2. Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu. Kale sinza Katonda nga eddiini yonna ogikola ku lulwe yekka.
3. Abange eddiini ensengejje ya Katonda yekka bo abamuvaako ne beeteerawo abakuumi abalala (nga bagamba nti:) tetubasinza okugyako lwa kutusembeza kumpi ne Katonda, mazima Katonda agenda kulamula wakati waabwe mwebyo bo bye baawukanamu, mazima Katonda talungamya muntu oyo omulimba awalaaza empaka.
4. Singa Katonda yayagala kweteerawo mwana yaalibadde alonda ekyo kyayagadde mwebyo byatonda, naye wabula musukkulumu nnyo (teyeetaaga mwana) yye ye Katonda ali omu nantalemwa.
5. Yatonda eggulu omusanvu n'ensi mu butuufu, abikka ekiro ku misana nga bwabikka emisana ku kiro, era yagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kyakutambula okumala ebbanga eggere, abange yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo.
6. Katonda yabatonda nga abaggya mu muntu omu oluvanyuma naggya mu ye mukyala we, era naabawa mu bisolo eby'omumaka emitindo munaana, abatondera mu mbuto za ba nnyammwe, nga kuba kutonda luvannyuma lwa kutonda, nga muli mu bizikiza bisatu, oyo nno ye Katonda, Mukama omulabirizi wa mmwe, obufuzi bwonna bubwe tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, kale ate mukyusibwa mutya!.
7. Bwemukaafuwala, mazima Katonda talina kyeyeetaaga ku mmwe era tayagaliza baddu be bukaafiiri, naye bwe mwebaza (ekyo) akibasiimako, era omwoyo omwonoonyi tegugenda kwetikka bibi bya mulala, oluvanyuma obuddo bwa mmwe buli eri Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno naabamanyisa ebyo bye mwakolanga (anti) mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
8. Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro.
9. Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya olunaku lw'enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe abamanyi n'abatamanyi benkana? mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nannyini magezi amatuufu.
10. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaddu bange abakkiriza, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe, balina abo abakola obulungi mu bulamu buno obwo ku nsi obulungi (nga bakyali ku nsi, ne mu bulamu obw'oluvanyuma) era ensi ya Katonda ngazi (muyinza okusenguka ku lw'okusinza Katonda wa mmwe mu mirembe) so nga bo ababa bagumiikirizza (ne batasenguka) baliweebwa empeera yaabwe awatali kubalirira.
11. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze nnalagirwa okusinza Katonda, ng'eddiini ngikola ku lulwe yekka.
12. Era nnalagirwa mbe nga nze nsoose okuba mwabo abasiramuse.
13. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima nze ntya singa mba njeemedde Mukama omulabirizi wange (okutuukibwako) ebibonerezo by'olunaku oluzibu.
14. Gamba nti nsinza Katonda, ng'eddiini yange ngikola ku lulwe yekka.
15. Kale mmwe musinze ebyo bye muba mwagadde ebitali yye, era gamba nti mazima abantu ab'okufaafaaganirwa beebo abagenda okufaafaaganirwa emyoyo gyabwe n’abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero, abange okwo nno kwe kufaafaaganirwa okweyolefu.
16. Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Katonda atiisa nakyo abaddube nga abagamba nti: abange baddu bange kale muntye.
17. Ate abo abeesamba okusinza ebisinzibwa eby'obulimba nebadda eri Katonda balina amawulire ag'essanyu n'olwekyo sanyusa abaddu bange.
18. Abo abawulira ebigambo nebagoberera ebisinga obulungi mu byo, abo beebo Katonda be yawa obulungamu, era abo bo be ba nannyini magezi amatuufu.
19. Abaffe oyo gwekikakaseeko ekigambo ky'ebibonerezo (olw'okwonoonekakwe oyinza okumulungamya!) abaffe ggwe oyinza okutaasa oyo ali mu muliro!.
20. Naye abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balina e nyumba ezaakalina nga waggulu waazo ate wazimbiddwayo e nyumba endala, ng'emigga gikulukutira mu zo, (eyo) nga ndagaano ya Katonda (ate) nga Katonda tayawukana ku ndagaano.
21. Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi naagakulukusiza mu mifuleggye egiri mu ttaka, oluvanyuma ameza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo, oluvanyuma bikala (ebibadde ebyakiragala) n'obiraba nga bifuuse bya kyenvu, oluvanyuma abifuula ebisubi ebikutusekutuse. Mazima mu ekyo mulimu okujjukiza eri abalina amagezi.
22. Abaffe oyo Katonda gwayanjululiza obusiraamu ekifuba kye, olwo nno yye naaba nga ali ku kitangaala ekiva eri Mukama omulabirizi we (afaanana n'oyo alina omutima omukakanyavu!) okubonaabona kuli kwabo abakakanyavu b’emitima gyabwe egiva ku kutendereza Katonda, abo bali mu bubuze obw'olwatu.
23. Katonda yassa ebigambo ebisinga obulungi (Kur’ani) nga kitabo ekirina ebigambo ebifaanagana (naye nga tebikontana) nga kiddingana ensonga (awatali kukooyesa awulira) gyesisiwala ku lwakyo emibiri gyabo abatya Mukama omulabirizi waabwe (bwekyogera ebigambo ebyogera ku bibonerezo) oluvanyuma emibiri gyabwe n'emitima gyabwe gikkakkana bwe giba giwulidde ebigambo ebyogera ku Katonda (n'okusaasira kwe) ekyo (ekitabo Kur’ani) kulungamya kwa Katonda alungamya nakyo oyo gwaba ayagadde, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya.
24. Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga.
25. Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno ebibonerezo nebibajjira okuva webaali tebasuubira.
26. Olwo nno Katonda naabakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali singa baali bamanyi.
27. Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kifaananyi babe nga beebuulirira.
28. Kur’ani (twagissa) nga eri mu luwarabu nga teriimu bukyamu bwonna babe nga batya Katonda.
29. Katonda yakuba ekifaananyi ky'omusajja (omuddu) ng'aliko bakamaabe bangi abakaayana (n'atamanya ani gwasooka okuweereza) n’omusajja omulala (omuddu) nga wa muntu omu, abaffe mu kulaba bafaanana. Ebitendo byonna bya Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
30. Mazima ggwe (Nabbi Muhammad) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa.
31. Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozanganya ewa Mukama omulabirizi wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero.
32. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera obulimba ku Katonda! era naalimbisa amazima bwe gaamujjira (yeeyinula ki?) abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo za bakaafiiri?.
33. Ate oyo eyaleeta amazima era n’agakkiririzaamu, abo bo be batya Katonda.
34. Balifuna bye baagala ewa Mukama omulabirizi waabwe eyo y'empeera ya balongoosa.
35. Katonda abe nga abasonyiwa ebibi ebyo bye baakola, era abasasule empeera yaabwe olw'ebirungi ebyo bye baali bakola.
36. Abaffe Katonda tamala muddu we, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali yye, oyo yenna Katonda gwabuza tagenda kufuna mulungamya.
37. Oyo yenna Katonda gwalungamya tabaako amubuza, abaffe Katonda ssi ye nantakubwa ku mukono asobola okubonereza abo (abeeyisa obubi mu baddube).
38. Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi, ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe (mmwe) mulaba nti ebyo bye musaba nemuleka Katonda singa Katonda aba anjagalizza akabi byo bisobola okugyawo akabiike, oba singa aba anjagalizza kusaasira (kirungi) abaffe byo bisobola okuziyiza okusaasira kwe, gamba nti Katonda ammala (era bulijjo) abaagala ow'okwesiga ye yekka gwe beesiga.
39. Bagambe nti: abange bantu bange mukolere ku nkola yammwe, mazima nze nkola (ku nkola eyange) luliba olwo nemumanya.
40. Ani ebibonerezo gwe birijjira nga bimuswaza era naatuukwako ebibonerezo eby'olubeerera.
41. Mazima ffe twassa ku ggwe ekitabo eky'amazima nga kya bantu bonna oyo alungama aba yeerungamidde, ate oyo abula, ekibi ky'okubulakwe kidda gyali, era ggwe toli mukuumi ku bo.
42. Katonda yaatuusa entuuko z'emyoyo bwe gituuka okuva mu mibiri gyagyo, n'ogwo oguba tegufiiridde mu tulo twagwo (guba mu mikono gye) olwo nno gwaba asazeewo nti agwetaaga gufe naagutwala, ate omulala naaguleka okumala ebbanga eggere mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri abo abafumiitiriza.
43. Oba (ekibayinula) kuba nti baleka Katonda ne beeteerawo abawolereza! bagambe nti: (bwe gutyo bweguba) newaakubadde nga (abawolereza abo) tebafuga kintu kyonna era nga tebategeera.
44. Bagambe nti: okuwolereza kwonna kuli mu mikono gya Katonda (anti) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi oluvanyuma gyali gye mulizzibwa.
45. Katonda bwaba nga ayogeddwako yekka (n'atagattibwako kintu kirala) emitima gyabo abatakkiriza nkomerero gyenyinyimbwa, naye singa abatali yye boogerwako ogenda okulaba nga bo (abagatta ebintu ebirala ku Katonda) basanyuukirira.
46. Gamba nti ayi Mukama omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, omumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, ggwe oliramula wakati wa baddu bo mu ebyo bye baali baawukanamu.
47. Singa ddala ebyo ebiri mu nsi byonna n'ebirala ebiringa byo nga byabo abeeyisa obubi bandiyagadde okwenunula nabyo okuwona obuzibu bwe bibonerezo byo lunaku lw'enkomerero n'olwokuba nti baliba bamaze okulaba okuva ewa Katonda ebyo bye baali batasuubira.
48. Era ne bibeeyoleka ebibi by'ebyo bye baakola era ne bibeetooloola ebyo bye baalinga bajeeja.
49. Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.
50. Mazima (ekigambo kye kimu ekyo) baakyogera abo abaabakulembera (naye) tebyabagasa ebyo bye baakolanga.
51. Olwo nno obubi bw'ebyo bye baakola ne bubatuukako n'abo bonna abeeyisa obubi mu bano, bajja kutuukibwako obubi bw'ebyo bye baakola ate era tebagenda kulemesa (Katonda ku bakola kyaliba ayagadde).
52. Abaffe tebamanyi nti mazima Katonda ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde ate oluusi naafunza, mazima mu ekyo mulimu ebyokuyiga eri abantu abakkiriza.
53. Bagambe nti: abange baddu bange abo abayitiriza okwonoona ku myoyo gyabwe temuggwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda, mazima Katonda asonyiwa ebyonoono byonna, mazima yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi ennyo.
54. Era mwemenye mudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe era mweweeyo gyali, nga ebibonerezo tebinnabajjira ate ne muba nga temuli ba kutaasibwa.
55. Era mugoberere ebirungi ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oluberyeberye nga ebibonerezo tebinnaba kubajjira ekibwatukira nga na mmwe temumanyi.
56. Omuntu aleme kutuuka kugamba nti zinsanze ku lw'ebyo bye nnayonoona ku bikwata ku Katonda era nga ddala nnali ku nsi mu banyooma.
57. Oba ogambe nti singa mazima Katonda yannungamya naalibadde mu batya (Katonda).
58. Oba bwoliraba ebibonerezo oligamba nti ddala singa nnina okuzzibwayo nembeera mu balongoosa.
59. (olyanukulwa nti) nedda ebigambo byange byakujjira n'obirimbisa era neweekuza nooba owo mu bakaafiiri.
60. Era ku lunaku lw'enkomerero abo abaayogera obulimba ku Katonda oliraba ebyenyi byabwe nga biddugadde (ate lwaki tebaliba batyo!), abaffe mu muliro Jahannama temuli nfo zaabo abeekuza?.
61. Era Katonda agenda kuwonya abo abaamutya nga abawa okwesiima kwabwe (olw'ejjana gyalibayingiza). Akabi (k’ebibonerezo) tekagenda kubatuukako era bo ssi baakunakuwala.
62. Katonda, ye mutonzi wa buli kintu era yye, ye mutambuza wa buli kintu.
63. Era yaalina ebiyimiriddeko entambula y'eggulu omusanvu n'ensi, ate abo abaawakanya ebigambo bya Katonda, abo bo be b'okufaafaaganirwa.
64. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti: abange mmwe abatamanyi, ebitali Katonda bye mundagira mbe nga nsinza!.
65. Ate nga mazima watumirwa obubaka n'eri abo abaakukulembera (nti) singa ogatta ku Katonda ebintu ebirala emirimu gyo gya kwonoonekera ddala, era ojja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.
66. Wabula Katonda gwoba osinza era obe mu beebaza.
67. (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala) Katonda tebamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu kibatu kye ku lunaku lw'enkomerero, nga eggulu omusanvu gazingiddwa mu mukono gwe ogwa ddyo, musukkulumu era wa waggulu ku ebyo bye bamugattako.
68. Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula.
69. Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa.
70. Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
71. Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri.
72. Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza.
73. Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balitwalibwa eri e jjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo nebabagamba nti emirembe gibe ku mmwe mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu.
74. Baligamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atutuukiririzza endagaano ye, naatusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu jjana wonna wetwagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi.
75. Oliraba ba Malayika nga babugirizza amabbali ga Arish nga batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, (ebyo byonna) abaddu baliba balamuddwa mu bwenkanya era walirangirirwa nti ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi w'ebitonde byonna.