ترجمة سورة محمد

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة محمد باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Katonda (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe.
2. Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu era nebakkiriza ebyo ebyassibwa ku Muhammad, era nga g’emazima agava ewa Mukama omulabirizi waabwe (abo Katonda) yabasangulako ebisobyo byabwe era naalongoosa embeera yaabwe.
3. Ekyo kiri bwekityo lwakuba nti mazima bo abaakafuwala baagoberera ebitali bituufu, ate nga abo abakkiriza baagoberera amazima agava eri Mukama omulabirizi waabwe, bulijjo Katonda bwatyo akubira abantu ebifaananyi byabwe (bagerageranye).
4. Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa bamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe.
5. Ajja kubalungamya era alongoose nembeera yaabwe.
6. Era abayingize e jjana gyeyabategeeza edda.
7. Abange mmwe abakkiriza singa mutaasa Katonda, ajja kubataasa, era anyweze ebigere byammwe (abagumye).
8. N'abo abaakafuwala okuzikirira kube ku bo, era Katonda yayonoona emirimu gyabwe.
9. Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe.
10. Abaffe tebatambula mu nsi, olwo nno ne balaba nga bweyali enkomerero yaabo abaaliwo oluberyeberye lwabwe, (anti) Katonda yabazikiriza. Era abo abaakafuwala ba kutuukwako ekiringa ekyo.
11. Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ye mukuumi wa bakkiriza era nga ddala abakafiiri tebalina mukuumi.
12. Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe.
13. Era ebitundu bimeka nga byo byali byamaanyi okusinga ekitundu kyo (Makkah)? ekyo ekyakugoba, abantu be bitundu ebyo twabazikiriza newataba abadduukirira.
14. Abaffe oyo aba ali ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi we ayinza okuba ngooyo emirimu gye emibi egyamulabisibwa okuba nti mirungi!, era (abantu abo) nebagoberera okwagala kwabwe.
15. (Abaffe) e jjana eyo abatya Katonda gye balaganyisibwa (egenda kuba nga) erimu emigga egy'amazzi agatayonooneka nemigga gya mata agatakyuse mpoma yaago, n’emigga egy'omubisi oguliwoomera abanywi n'emigga gya asaali omusengejje, nga bali mu yo balifuna ebibala byonna, era balifuna mu yo ekisonyiwo okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe, oyinza okugigerageranya ku oyo owokutuula mu muliro obugenderevu nga era balinywesebwa olwegye lwa mazzi, olwo nno negakutulakutula ebyenda byabwe.
16. Era mu bo mulimu abakuwuliriza (era nebalaga nti bagonvu) okutuusa bwe bafuluma okuva wooli, bagamba abo abaweebwa okumanya nti, abadde agambaki emabegako awo?, abo beebo Katonda beyassa envumbo ku mitima gyabwe era nebagoberera okwagala kwabwe.
17. Ate abo abaalungama (Katonda) abongera bulungamu era naabawa okutya kwabwe (Katonda).
18. Abaffe balina kyebalindirira okugyako ekiseera ekyenkomerero okuba nga kibaggyira kibwatuukira ate nga ddala (obumu) ku bubonero bwakyo bumaze okujja, baligyawa okubuulirirwa kwabwe (okulibagasa ekiseera) bwe kiribagyira!.
19. Kale manya nti mazima tewali kisinzibwa okugyako Katonda era osabe ekisonyiwo olwe byonoono byo, era abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi obasabire ekisonyiwo, era Katonda amanyi entambula zammwe (nga mujjulukuka okuva mu kifo ne mudda mu kirala n'okuva ku kikolwa ne mudda ku kirala) era amanyi obuddo bwa mmwe.
20. Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali.
21. (Kwe) kugonda, n'ebigambo ebirungi, naye ekigambo bwe kimala okukakata, kale singa batuukiriza bye balagaanyisa Katonda kye kyalisinze obulungi gye bali.
22. Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe.
23. (Abakola ebyo) abo beebo Katonda beyakolimira naabaggala amatu era naaziba amaaso gaabwe.
24. Abaffe tebetegereza Kur’ani, oba emitima gyegiriko ekkufulu zaagyo.
25. Mazima abo abakyuka ne badda gyebaava (nebaleka obusiraamu) oluvanyuma lw’obulungamu okuberambikira, Sitane yeyabibalaga nti birungi era nabasuubiza ebyobulimba.
26. Ekyo nno, lwakuba nti mazima bo, bagamba abatayagala Katonda byeyassa, nti tujja kubagondera mu bintu ebimu. Era bulijjo Katonda amanyi ebyama byabwe.
27. Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe.
28. Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe.
29. Abaffe abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe basuubira nti Katonda tagenda kuggyayo bukukuuzi bwabwe (bwe balina ku Nabbi Muhammad).
30. Singa twagala twandibakulaze, olwo nno wandibategedde olwo bubonero bwabwe, era ojja kubategeerera ddala okusinziira ku njogera yaabwe. Era Katonda amanyi emirimu gyammwe.
31. Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe.
32. Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe.
33. Abange mmwe abakkiriza mugondere Katonda, era mugondere omubaka, era temwononanga emirimu gya mmwe.
34. Mazima abo abaakafuwala era nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, oluvanyuma nebafa nga bakafiiri, Katonda tagenda kubasonyiwa.
35. Temufotokereranga ne musaba emirembe ate nga mmwe ba waggulu, era nga Katonda ali wamu na mmwe, era nga tagenda kukendeeza mpeera ya mirimu gya mmwe.
36. Mazima obulamu bwe nsi muzannyo na binyumu, naye bwe mukkiriza era nemutya Katonda, ajja kubawa empeera ya mmwe, ate nga tabasabye mmali ya mmwe.
37. Singa agibasaba nabapeeka mujja kukodowala, olwo nno nassa mu bbanga obukukuuzi bwa mmwe.
38. Abaffe mmwe, mmwe beebo abakowoolwa mube nga muwaayo mu kkubo lya Katonda, olwo nno mu mmwe ne mubaamu akodowala, so nga omuntu akodowala, mazima yekodowalira yekka ng’ate Katonda yatalina kyeyetaaga ate nga mmwe muli betaavu, naye bwe munakyuka (nemuva ku ddiini) ajja kuleeta abantu abalala abatali mmwe, oluvanyuma tebagenda kuba nga mmwe.
Icon