ترجمة سورة الحجرات

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الحجرات باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Abange mmwe abakkiriza temwetumikirizanga mu maaso ga Katonda n’omubaka we (nemwogera ku kintu nga omubaka tannakyogerako) era mutye Katonda mazima Katonda muwulizi nnyo mumanyi.
2. Abange mmwe abakkiriza temusitulanga amaloboozi ga mmwe okusinga ku ddoboozi lya Nabbi, era temumwatuliranga ebigambo nga abamu mu mmwe bwe batuulira bannabwe, emirimu gya mmwe gireme kwononeka nga temugenderedde.
3. Mazima abo abakkakkanya amaloboozi gaabwe awali omubaka wa Katonda, abo beebo Katonda beyatukuza emitima gyabwe babe nga bamutya. Balina ekisonyiwo ne mpeera ensukkulumu.
4. Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera.
5. Singa mazima bo bagumikiriza okutuusa lwofuluma n'ogenda gye bali, kyandibadde kirungi gye bali, era Katonda musonyiyi waakisa nnyo.
6. Abange mmwe abakkiriza singa omwononefu abaleetera amawulire muteekwa okwetegereza, mube nga temutuusa kabi ku bantu mu butamanya, olwo nno nemukeesa nga mwejjusa olwekyo kye mwakoze.
7. Era mumanye nti mazima omubaka wa Katonda ali mu mmwe, singa abagondera mu bigambo ebisinga obungi (nga bwe mubiraba), mwandifunye obuzibu, naye ddala Katonda yabaagazisa obukkiriza nabulabisa bulungi eri emitima gya mmwe, na bakyayisa obukafiiri n’obwononefu n’obugyemu, (abo abataliimu mize egimenyeddwa waggulu) bo be balungamu.
8. (Ng’ebyo byonna) birungi era nga byengera ebiva ewa Katonda, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
9. Ebibinja bibiri mu bakkiriza bwe birwanagananga muteekwa mulongoose wakati wa byombi (mu bitabaganye) ekimu bwekirumba ekirala olwo nno mulwanyise ekyo ekiba kirumbye okutuusa lwekidda eri ekigambo kya Katonda bwekiba kizze kale mutabaganye wakati wa byombi mu bwesimbu, era mukole obwenkanya mazima Katonda ayagala abakola obwenkanya.
10. Ddala abakkiriza ba luganda n’olwekyo mulongoose (mutabaganye) wakati wa baganda ba mmwe, era mutye Katonda mube nga musaasirwa.
11. Abange mmwe abakkiriza abantu (abamu) mu mmwe tebanyomanga bantu bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, wadde abakyala okunyoma bakyala bannabwe, anti oluusi bayinza okuba nga be balungi okusinga bo, era temwerengezzanga, era temweyitanga amannya ageemize, erinnya erisinga obubi lyeryo erikakkanya omuntu oluvanyuma lwokuba nti mukkiriza. Omuntu (akola ekyo) bwatenenya, abo bo be beeyisa obubi.
12. Abange mmwe abakkiriza mwewale okuteebereza okusinga obungi, anti okuteebereza okumu kiba kyonoono, era temwekettanga, era abamu mu mmwe tebageyanga bannabwe, abaffe omu ku mmwe yandiyagadde okulya ennyama ya muganda we nga mufu! Ate nga mwakitamwa dda, era mutye Katonda mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi nnyo.
13. Abange mmwe abantu mazima ffe twabatonda nga tubaggya mu musajja n’omukazi, era ne tubafuula amawanga neebika mulyoke mumanyagane, mazima abasinga ekitiibwa ewa Katonda yooyo abasinga okumutya, mazima Katonda mumanyi nnyo amanyidde ddala ebintu okuva ku nsibuko yaabyo
14. Ba nnamalungu baagamba nti tukkirizza, bagambe nti temunnakkiriza, wabula mugambe nti twewaddeyo eri abasiraamu (netuwona okuttibwa oba okuwambibwa) era obukkiriza tebunnayingira mu mitima gya mmwe naye singa mugondera Katonda n’omubakawe tagenda kukendeeza ku mpeera ya mirimu gya mmwe kintu kyonna. Mazima Katonda musonyiyi musaasizi nnyo.
15. Mazima abakkiriza abannamaddala beebo abakkiriza Katonda n’omubaka we, ate nebatabuusabuusa (ebyo bye bakkiriza) era nebalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa emmaali yaabwe ne myooyo gyabwe, abonno, bo, be bakkiriza ab’amazima.
16. Bagambe nti mumanyisa Katonda eddiini ya mmwe ng’ate Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.
17. Bakweralaasizaako nti baasiramuka, bagambe nti temundalaasizaako busiraamu bwa mmwe, wabula Katonda abenyumiririzaako okuba nti yabalungamya eri obukkiriza bwe muba nga muli ba mazima.
18. Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.
Icon