ترجمة معاني سورة المرسلات
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana.
2. Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi.
3. Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba).
4. Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba.
5. Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza.
6. Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa.
7. Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo.
8. Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo).
9. Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango).
10. Era ensozi bwezirimerengulwa.
11. Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu.
12. (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi!.
13. Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde.
14. Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!.
15. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa.
16. Abaffe tetwazikiriza ababasokawo.
17. Netubagoberezaako abalala.
18. Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi.
19. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
20. Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa.
21. Netugateeka mukifo ekigakuuma.
22. Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa.
23. Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi.
24. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
25. Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya.
26. Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo).
27. Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi.
28. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
29. Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa.
30. Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu.
31. Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro.
32. Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu.
33. Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu.
34. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
35. Olwo lunaku lwebatagenda kwogera.
36. Wadde okukkirizibwa okwetonda.
37. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
38. Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera.
39. Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko.
40. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
41. Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta.
42. N'ebibala byebaliba bagala.
43. Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala.
44. Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi.
45. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
46. (Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero).
47. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
48. Bwebalagirwa okusaala tebasaala.
49. Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.
50. Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza.