ترجمة سورة الشورى

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الشورى باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ha Miim.
2. Ayin Siin Kaaf.
3. Bwatyo Katonda nantalemwa, mugobansonga, akutumira obubaka era nga bweyatuma eri abo abaaliwo oluberyeberye lwo.
4. Bibye yekka byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi ,era yye ye wa waggulu ennyo owekitiibwa.
5. Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi.
6. Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala nebamuvaako, Katonda mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo.
7. Bwekityo twakuweereza Kur’ani nga eri mu luwarabu obe nga otiisa (nayo) maama w'ebibuga byonna (Makkah) n'abali mu bitundu ebikyetoolodde era otiise (abantu) olunaku lw'okukungaana olutaliimu kubuusabuusa, nga ekibinja kya kuyingira jjana ate ekibinja ekirala kya kuyingira muliro ogububuuka.
8. Singa Katonda yayagala (bonna) yandibafudde ekibiina kimu, naye ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasira kwe, ate abeeyisa obubi tebaliba na mukuumi wadde omutaasa.
9. Oba baaleka Katonda nebeeterawo ba katonda (abalala) so nno Katonda ye ye mukuumi, era yye ye wokulamusa abafu, era ye (bulijjo) muyinza ku buli kintu kyonna.
10. Ekintu kyonna kyemuba mwawukanyeemu, okulamula kwakyo kuli eri Katonda, oyo mwe Katonda ye Mukama omulabirizi wange. ye yekka gwe nneesiga era gyali gyenzira.
11. Omutandisi weggulu ne nsi, abateerawo nga agya mu mmwe bemufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abazalukusa mu nkola eyo, tewali kintu kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo.
12. Yekka yaalina ebitambulirwako eggulu omusanvu ne nsi, ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde, ate nafunza (kwoyo gwaba ayagadde) mazima yye ye mumanyi ennyo wa buli kintu.
13. Yabalaalikako mu ddiini ebyo bye yalaamira Nuuhu n'ebyo bye twassa ku ggwe n'ebyo byetwalamira Ibrahim ne Mussa ne Issa ebigamba nti muyimirizeewo eddiini temujawukanangamu kizitoye kubagatta ku Katonda ebintu ebirala ekyo kye mubakowoola okujja gye kiri, Katonda alondobamu oyo gwaba ayagadde nadda gyali, era alungamya okudda gyali oyo eyeemenya.
14. Tebaayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya okubajjira (nga ekyabatuusa kwekyo) bwe bukyayi obwali wakati waabwe, era singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo (ekyo butazikirizaawo bonoonyi) okutuusa ebbanga eggere (erya baweebwa) waalisaliddwawo wakati waabwe (mu kiseera ekyo kye nnyini) era mazima abo abasikizibwa ekitabo oluvanyuma lwabwe, mu kyo bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana.
15. N’olwekyo kale kowoola (abantu okujja eri e ddiini) era obeere mwesimbu nga bwe walagirwa, era togoberera kwagala kwabwe era gamba nti nzikiriza e bitabo ebyo Katonda bye yassa, era nalagirwa okukola obwenkanya wakati wa mmwe. Katonda ye mulabirizi waffe era omulabirizi wa mmwe ffe tulina emirimu gyaffe na mmwe mulina emirimu gya mmwe. Tewali nkayana wakati waffe na mmwe (anti amazima meyolefu), Katonda agenda kutusisinkanya (ffe na mmwe) era gyali yokka yeeri obuddo.
16. N'abo abawakana ku bikwata ku Katonda, oluvanyuma lwo kuba nti (omubaka Muhammad) yayanukulwa (nagobererwa), ensonga yaabwe ya butaliimu mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, era baliko obusungu n'ebibonerezo ebikambwe.
17. Katonda yooyo eyassa ebitabo nga bya mazima n’obwenkanya. yye omanyira kuki oba olyawo olunaku lw’enkomerero luli kumpi.
18. Abo abatakkiriza basaba luleetebwe mangu, ate abo abakkiriza balwelaliikirira era bamanyi nti mazima ddala lwo (okutuuka kwalwo) ge mazima, abange mazima abo abawakana ku kubaawo kwo lunaku lw’enkomerero ddala bali mu bubuze obwewala.
19. Katonda alumirwa abaddu be, agabira oyo gwaba ayagadde era yye ye wamanyi nantakubwa ku mukono.
20. Oyo ayagala ebikungulwa byo bulamu obwoluvanyuma tumwongeza mu bikungulwa bye, nooyo ayagala ebikungulwa byo bulamu bwensi tubimuwaako (ebyo bye twamugerera) naye nga talina ku nkomerero mugabo gwonna.
21. (Ekibabuza) oba balinayo be bagatta ku Katonda nga ba bateerawo amateeka g’eddiini ago Katonda ga takkiriza, era singa si kigambo ekyokusalawo (okulibaawo ku lunaku lw’enkomerero mangu ddala) wandiramuddwa wakati waabwe. Era mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma ennyo.
22. (Ku lunaku olwo) oliraba abeeyisa obubi nga beraliikirira olwebyo bye bakola, era nga ddala ekyo kigenda kubatuukako ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu bifo byo mu jjana, balifuna ebyo bye baliyagala ewa Mukama omulabirizi waabwe, ekyo kyo, bwe bulungi obusuffu.
23. Ekyo kyekyo Katonda kyasanyusa nakyo abaddu be abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu. (Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti (ekyo kubatuusaako obubaka) si kibasabirako mpeera wabula (kye mbagalamu) kwe kukolagana mu ngeri y’omukwano nga ab’oluganda. Oyo yenna akola obulungi tubumwongezaamu obulungi obulala, mazima Katonda musonyiyi nnyo musiimi nnyo.
24. Oba (ekibabuza lwakuba) bagamba nti (Muhmmad) yajweteka ku Katonda ebigambo mu bulimba, Katonda bwaba ayagadde asobola okuzibikira omutima gwo (singa okola nga bwe bagamba), era Katonda naggyawo ebitali bituufu nakakasa amazima olwebigambo bye, mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
25. Era yye yooyo akkiriza okwenenya kwa baddu be era naasonyiwa ebibi, era amanyi ebyo bye mukola.
26. Era ayanukula (okusaba kwabo) abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu era nabongera ebirungi bye, bo abakafiiri balina ebibonerezo ebikakali.
27. Singa Katonda yagaziya riziki ku baddu be balyonoonye mu nsi, wabula assa mu kipimo ekyo kyaba ayagadde mazima ye amanyidde ddala ebyomunda era alaba nnyo ebikwata ku baddu be.
28. Era ye yooyo atonnyesa enkuba oluvanyuma (lwa bantu) okukutuka n’okusuubira ,era abunyisa okusaasira kwe, era yye, ye mukuumi atenderezebwa ennyo.
29. Naakamu mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kwe kutondebwa kwe ggulu omusanvu ne nsi. Nebyo ebirimu obulamu ebitambula bye yassa mu byombi. Era yye asobola okubakungaanya wayagalira.
30. Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi.
31. Era mmwe temuli bayinza kulemesa (Katonda) ku nsi ate era nga ogyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa.
32. Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi.
33. Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza.
34. Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulujjo alekera bingi.
35. Era abo abawakanya ebigambo byaffe, bateekwa bamanye nti tebagenda kufuna buddukiro.
36. Buli kintu kyonna kyemuba muweereddwa bya kwe yagala bya bulamu bwa nsi, so nga ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye byo kusigalawo nga byabo abakkiriza ,era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beesiga.
37. Era beebo abewala ebibi ebinene ne byo buwemu era bo bweba banyiize basonyiwa.
38. Era beebo abayanukula Mukama omulabirizi waabwe ne bayimirizaawo e sswala era nga bulijjo ekigambo kyabwe (kisalwawo nga kiyita mu) kuteseganya wakati waabwe era nga bagaba kwebyo bye tubagabirira.
39. Era beebo bwe baba batuukiddwako obulumbaganyi, bo belwanako.
40. Era empeera y'ekibi eba kibi ekifaanana nga kyo, kale nno oyo alekera natabagana (ne mu nne) okusasulwa kwe kuli ku Katonda, anti mazima yye (Katonda) tayagala bayisa ba nnaabwe bubi.
41. Omuntu eyetaasa nga abadde ayisiddwa bubi abo tebabalinaako kkubo (lya kubavunaana).
42. Mazima ekkubo (ly’okuvunaana) liri kwabo abayisa obubi abantu ne bonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebiruma ennyo.
43. Naye omuntu agumikiriza nasonyiwa, mazima ddala ekyo kya mu bintu ebikkaatirizibwa (omukkiriza byateekwa okukola)
44. (Awatali Katonda) oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na mukuumi, oliraba abeeyisa obubi kebaliraba ebibonerezo baligamba nti, abaffe waliwo ekkubo eriddayo (ku nsi).
45. Olibalaba nga baleetebwa gye biri (ebibonerezo) nga banyomebwa olwokukkakkanyizibwa (okubatusiddwaako) baliba batunuulira ku mabbali g’aliiso (eriiso nga babba libbe), abo abakkiriza baligamba nti mazima abo abafafaganirwa beebo abafafagana bo bennyini nebafafaganya abantu baabwe ku lunaku lw'enkomerero. Mazima abeeyisa obubi ba kubeera mu bibonerezo ebyolubeerera.
46. Era tebaalina bakuumi babataasa ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kuba na kkubo (lya kulungama).
47. Mwanukule Mukama omulabirizi wa mmwe nga olunaku terunnatuuka lwe wataliba buddukiro kuwona Katonda. Ku lunaku olwo temuliba na buddo, era temuliba na buwakaniro.
48. Bwebaba bagaanye tetukutumanga kuba kalondoozi ku bo, tovunanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka). Era mazima ffe bwetukombesa omuntu ku kusaasira okuva gyetuli ku musanyusa, naye bwe batuukwako obuzibu olwebyo emikono gyabwe byegiba gikoze (ng’olwo bakyusa enjogera) anti bulijjo mazima omuntu tasiima.
49. Bwa Katonda obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, atonda ekyo kyaba ayagadde, agabira oyo gwaba ayagadde abaana ab’obuwala, era nagabira oyo gwaba ayagadde (omulala) abalenzi.
50. Oba abagattira ab’obuwala n’abobulenzi ate oluusi gwaba ayagadde amufuula mugumba (anti) mazima yye ye mumanyi ennyo omuyinza.
51. Tekisaanirangako muntu Katonda kwogera naye, okugyako nga amusaako bubaka, oba nayogera naye nga asinziira mabega wa kintu ekyawulawo, oba okutuma omubaka (Malayika), olwo nno kulwokusalawokwe namutumira kyaba ayagadde (anti) mazima yye wa waggulu nnyo mugoba nsonga.
52. Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu.
53. Ekkubo lya Katonda oyo bibye yekka ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Abange eri Katonda ebintu byonna gye bidda.
Icon