ترجمة سورة آل عمران

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة آل عمران باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Alif Laamu Mimu.
2. Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna.
3. Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili.
4. Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza.
5. Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu.
6. Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
7. Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu.
8. (Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe toggya mitima gyaffe ku bulungamu oluvanyuma lwokuba nti wabutuwa, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna.
9. Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja kukunganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa.
10. Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo).
11. Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza.
12. Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo.
13. Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu.
14. Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi.
15. Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be.
16. (Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro.
17. (Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.
18. Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga.
19. Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna olwokwekolera eyewaggula ku bigambo bya Katonda mazima Katonda takaluubirirwa kubala.
20. Bwebaba bakuwakanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli, yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balungamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola).
21. Mazima abeewaggula kubigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma.
22. Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa.
23. Tolaba abo abaaweebwa omukisa nebafuna ekitabo nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda abalamule, ate ekitundu ku bo, nebatakikola. Mukukola ekyo nebaba nga bavudde ku mazima gebamanyi.
24. Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okugyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebeyiyiza nebibagayaaza mu ddiini yaabwe.
25. Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi.
26. (Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu.
27. Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira.
28. Abakkiriza tebafuulanga Abakafiiri ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bwatyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okugyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda yeeri obuddo.
29. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka oba obutakweka ebiri mu bifuba byammwe, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.
30. (Lowooza) ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa awo, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa awo, nga yeegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda musaasizi eri abamusinza.
31. Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi.
32. Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri.
33. Mazima Katonda yawa Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran enkizo ku bantu abalala.
34. Nga bazukkulu, abamu bava mu bannabwe, bulijjo Katonda awulira mumanyi nnyo.
35. Jjukira mukyala wa Imran bweyagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyamye ku lulwo ekiri mu lubuto lwange kibe ekiwebwayo gyoli era nkusaba okkirize ekiwebwayo kyange, anti mazima ddala ggwe ggwe awulira omumanyi ennyo.
36. (Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo.
37. Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira.
38. Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi.
39. Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu.
40. Zakaria naagamba nti; Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) naagamba nti bwatyo Katonda akola kyaba ayagadde.
41. Naagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mpa akabonero. (Malayika) naagamba akabonero ko kwekuba nti tojja kwogera n’abantu okumala ennaku ssatu okugyako ng’okozesa kulaza. Era jjukira Katonda wo era otendereze akawungeezi nenkya.
42. Era jjukira Malayika bweyagamba Mariam nti mazima Katonda akulonze naakutukuza naakwawula ku Bakyala abalala bonna.
43. Owange Mariam weeweyo eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi nga abalala bwebakutama.
44. Ebyo by’ebimu ku bigambo ebyekusifu byetukutegeeza (Ggwe Muhammad) mu bubaka era tewali nabo web’akasukira e kalamu zaabwe ku mazzi ngabanoonya okumanya nti ani ku bo anaakuza Mariam, era tewali nabo bwe baali bakaayagana (ku nsonga eyo).
45. Era jjukira ekiseera Malayika bweyagamba Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gyali (ekyokuzaala omwana) ngerinya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku nsi ne ku nkomerero era nga w’amwabo abasembezebwa ewa Katonda.
46. Era agenda kwogera n'abantu nga ali mu kibaya ne mukusajjakula era wa mu luse lwabalongofu.
47. (Mariam) naagamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) naagamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Katonda atonda nga bwaba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba.
48. Era (Katonda) ajja kumuyigiriza amateeka n’okugoba ensonga ne Taurat ne njili.
49. Era agenda kubeera mubaka eri abaana ba Israel (ng’abagamba nti) mazima nze mbajjidde n’akabonero okuva eri Mukama Katonda wa mmwe nja kubakolera ekintu ekifaanana nga ekinyonyi okuva mu ttaka, nja kukifuuwamu omukka kibeere ekinyonyi ku lwobuyinza bwa Katonda, era njakuwonya abempoma n’abebigenge, nzuukize naabafu (byonna) kulwobuyinza bwa Katonda, era nja kubategeeza bwemulina okulya nebyemuteekwa okutereka mu mayumba gammwe, mazima ddala mw’ebyo (ebimenyeddwa) mulimu akabonero gyemuli bwe muba nga muli bakkiriza.
50. Era mbajjidde nga nkakasa amazima g’ebyo ebyakulembera ebyajjira mu Taurat. Era mbakkirize ebimu kw’ebyo ebyali byabagaanibwa, era mbajjidde n’akabonero okuva eri mukama Katonda wa mmwe nolw’ekyo mutye Katonda era mungondere.
51. Mazima Katonda ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze. Okukola ekyo lyekkubo eggolokofu.
52. Naye Isa bweyamala okulaba obukaafiiri bwabwe naagamba nti; baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Katonda, tukkiriza Katonda. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Katonda.
53. Ayi Mukama Katonda waffe tukkiriza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi.
54. (Abayudaaya) baasala enkwe ne Katonda n’asalawo okulemesa enkwe zaabwe anti bulijjo Katonda mulungi okusinga abo abasala enkwe.
55. Jjukira ekiseera Katonda bweyagamba nti; Owange ggwe Isa nze ngenda kukutuukiririza ekyo kyenakuwandiikako, era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze kwabo abaakaafuwala, abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu waabo abakafuwala okutuusa ku lunaku lw’enkomerero oluvanyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mwebyo byemwayawukanangamu.
56. Bbo Abaakaafuwala ngenda kubabonereza n’ebibonerezo ebikakali ku nsi ne ku nkomerero, era tebagenda kufuna baakubataasa.
57. Naye bbo, abo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi (Katonda) agenda kubajjuliza empeera zaabwe, anti bulijjo Katonda tayagala bakozi ba bibi.
58. Ebyo tubikusomera Ggwe (Nabbi Muhammad) nga byamububonero n’okubuulirira okwamagezi.
59. Mazima entondebwa ya Isa ewa Katonda efaanana nentondebwa ya Adam, yamutonda nga amugya mu ttaka oluvanyuma naamugamba nti beera n’aba omuntu.
60. Ago nno geemazima agava eri Mukama Katondawo, kale tobeeranga mu babuusabuusa.
61. Singa omuntu yenna akuwakanya kukino, oluvanyuma lwa mazima agakujjidde ggwe gamba nti mujje tuyite abaana baffe n'abaana ba mmwe, bakyala baffe ne bakyala ba mmwe, naffe fennyini nammwe olwo nno tusabe ekikolimo kya Katonda kituuke ku balimba.
62. Mazima bino (ebyogeddwa) g’emazima (ku bikwata ku nsonga y’okuzaalibwa kwa Isa), tewali kisinzibwa kyonna (mu mazima) okugyako Katonda omu Allah, era bulijjo Katonda ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
63. Bwebava ku mazima gano mazima Katonda amanyi byonna ebifa ku bonoonyi.
64. (Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda.
65. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera.
66. (Mwewunyisa) okuba nga mwe mwennyini mwawakana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki muwakana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi.
67. Ibrahim tabeerangako mu yudaaya wadde omukulisitayo wabula yali mukkiriza owa nnamaddala eyewaayo ewa Katonda, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.
68. Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, beebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza.
69. Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera.
70. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima!
71. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu).
72. Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kwabo abakkiriza kumakya ate mubiwakanye olweggulo oba olyawo ekyo kinaayambako nebakyusa.
73. Era temukkirizanga okugyako oyo ali ku ddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulungamu obwannamaddala bulungamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okuvuganya nammwe ku lwekyo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu.
74. Ayawula gwaba ayagadde mu mmwe naamuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi.
75. Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu.
76. Wabula (omuntu asaanira okweyita omwagalwa wa Katonda yandibadde) oyo atuukiriza byeyalagaanyisa era naatya Katonda. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abamutya.
77. Mazima ddala abo abatunda endagaano ya Katonda nebirayiro byaabwe ku muwendo omutono, tebalina mugabo ku lunaku lw’enkomerero, era Katonda tagenda kwogera nabo era tagenda kubatunulako ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda kubatukuza era bagenda kutuukwaako ebibonerezo ebiruma.
78. Era mazima mu bo mulimu ekibinja abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, era mazima mulimu ekibinja kyabantu abakozesa ennimi zaabwe nebakyusa ebiri mu kitabo babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Katonda so nga tebivanga wa Katonda, nebaba nga boogedde ku Katonda ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima.
79. Tekigwanira muntu yenna okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate naagamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olwokuba nti mubadde mukisoma (n'olwekyo mumanyi ekituufu ekyokukola).
80. Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu.
81. Jjukira Katonda bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvanyuma omubaka (Nabbi Muhammad () naabajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Katonda naagamba nti mukkirizza, era mututte endagaano eno nti ekakase nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda naagamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi.
82. Oyo yenna aliyawukana kwekyo abo nno be bonoonyi.
83. Abaffe abo (abonoonyi) baagala etali ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi mu kugonda ne mu kukakibwa, era nga gyali gyebiggya okuzzibwa.
84. Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe.
85. Oyo yenna ayagala okweteerawo eddiini etali busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gyali, era nga yye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mubafaafaganirwa.
86. Katonda ayinza atya okulungamya abo abawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa baggyira, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
87. Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo n'ekya ba Malayika n’ekya bantu bonna.
88. (Abeeyisa obubi abo) Baakubeera mu muliro olubeerera tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo ate tebagenda kulindirizibwa.
89. Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi.
90. Mazima abo abaakafuwala oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe, oluvanyuma nebeeyongera okukaafuwala, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa, era abo be babuze abannamaddala.
91. Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna.
92. Temuyinza kutuuka ku ddaala lyokuyitibwa abakozi b’obulungi okugyako nga muwaddeyo kwebyo byemwagala, buli Kintu kyonna kyemuwayo mazima ddala Katonda akimanyi.
93. Ebyokulya byonna byali Halali eri abaana ba Israil okugyako ebyo Israil (Yakubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima.
94. Oyo yenna anaatemerera Katonda ebigambo ebyobulimba oluvanyuma lwekyo, abo nno be beeyisa obubi.
95. Gamba nti Katonda yayogera mazima, kale mugoberere eddiini ya Ibrahim, nga takkiriza kusinza kintu kirala wadde okuba mwabo abagatta ku Katonda ekintu ekirala.
96. Mazima ddala e nyumba eyasooka okuterwawo abantu (olwokusinza Katonda) yeeyo eri e Mekka y’amikisa era nga kya kulungamya eri abantu bonna.
97. Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, nga ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nyumba eyo kwoyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gyeri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu.
98. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba.
99. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola.
100. Abange Mmwe Abakkiriza bwemunaagondera ekibinja mwabo abaaweebwa ekitabo bajja kubazza mu bukafiiri oluvanyuma lwokuba nga mubadde bakkiriza.
101. Muyinza mutya okukaafuwala nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alungamiziddwa mu kkubo eggolokofu.
102. Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bwokumutya era temufanga okugyako nga muli Basiramu.
103. Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama.
104. Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’enkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda).
105. Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvanyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi.
106. Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kwekyo lwakuba nti) mwakafuwala oluvanyuma lwokuba nti mwali bakkiriza, n'olwekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olwebyo byemwawakanyanga.
107. Bo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bo baakubeeramu obugenderevu.
108. Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa.
109. Era bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi era eri Katonda ebintu byonna gyebizzibwa.
110. Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu.
111. Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa.
112. B'ateekebwako okunyomebwa wonna webaba bali okugyako nga balina obukuumi bwa Katonda n'obwa basiramu (nebaweebwa omukisa gwokuwangalira mu nsi ya Basiramu nga bali wansi wa mateeka g’obusiraamu,) nebateekebwako obusungu bwa Katonda, nebassibwako okuswazibwa ekyo nno lwakuba nti baali bawakanya ebigambo bya Katonda nebatta ne ba Nabbi mu ngeri etali ntuufu, ekyonno (baakikola nga) olw'obujeemu bwabwe era nga baali babuuka ensalo za mateeka (ga Katonda).
113. Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.
114. Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero nebakubiriza Abantu okweyisa obulungi, nebabakomako kukweyisa obubi era nga banguwa mu kukola ebirungi era abo ba mu luse lwa balongoofu.
115. Buli kirungi kyonna kyebakola tekiribalyazamanyizibwa. Katonda amanyidde ddala ebifa ku bamutya.
116. Mazima abo abaakafuwala emmaali yaabwe nabaana baabwe tebigenda kubayamba ewa Katonda naakamu, era abo be bantu b’omumuliro bo b'akugubeeramu obugenderevu.
117. Byebawaayo mu bulamu buno obwensi bifaanagana nga kibuyaga alimu muzira eyakuba ebirime bya bantu abeeyisa obubi naabizikiriza, Katonda si ye yabayisa obubi naye bo bennyini be beeyisa obubi.
118. Abange mmwe abakkiriza, abatali ba mu mmwe temubafuulanga ab'emikwano ab'omunda, tebayinza kulekayo kubaagaliza kabi, bulijjo babaagaliza ekyo ekibazitoowereza. Obukyayi bulabika ku mimwa gyabwe (ku nnimi zaabwe) so nga byebakweka mu bifuba byabwe byebisinga obunene, mazima tubannyonnyodde ebigambo bwe muba nga mukozesa amagezi gammwe (bibamala okutegeera ekituufu).
119. (Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
120. Bwemutuukwako ekirungi kibanakuwaza, naye bwemugwibwako akabi (olwonno) nebasanyuka nakyo, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde.
121. Era jjukira (Ggwe Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna.
122. Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda.
123. Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza.
124. Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu.
125. So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba.
126. Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
127. (Ekyo Katonda yakikola) abe nga ajjawo ekitundu ekimu ekya baakafiiri oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu.
128. Tekiri mu busobozi bo (ggwe Muhammad), Katonda okubasonyiwa oba okubabonereza, anti mazima bo beeyisa bubi.
129. Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda. Asonyiwa gwaba ayagadde naabonereza gwaba ayagadde, bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
130. Abange Abakkiriza temulyanga Riba ekisobola okubatuusa okubazaamu emirundi n’emirundi, bulijjo mutye Katonda kibawe okulokoka ku lunaku lw’enkomerero.
131. Era mutye omuliro ogwo ogwateekerwateekerwa Abakafiiri.
132. Era mugondere Katonda n'omubaka olwo nno musaasirwe.
133. Era mwanguwe nga munoonya okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, ne jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eggulu omusanvu ne nsi, eyateekerwateekerwa abatya Katonda.
134. Abo be bawaayo mu kkubo lya Katonda, mu biseera ebyessanyu ne by'obuzibu, era ababikka ku busungu, abasonyiwa abantu. bulijjo Katonda ayagala abakozi be birungi.
135. Era abo bwebaba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okugyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu.
136. Abo empeera yaabwe kisonyiwo okuva ewa Mukama Katonda waabwe ne jjana ezikulukutiramu emigga, nga bagenda kuzibeeramu bugenderevu, nga eriba mpera nnungi eri abo abakola emirimu emirongoofu.
137. Bwebityo ebintu bwebibadde bitambula oluberyeberye lwa mmwe, kale mutambule mu nsi mutunule, mujja kulaba engeri enkomerero yaabalimbisa bweba.
138. (Kur'an eno) kwe kunnyonnyola okuweereddwa eri Abantu era bulungamu era kwe kubuulirira eri abatya Katonda.
139. Temuterebukanga era temunakuwalanga, ng’ate mmwe muli ku ngulu kavuna muba nga muli bakkiriza abannamaddala.
140. Bwe muba mutuukiddwako obuvune (mu lutalo lwe Uhud) nabali baatuukwako obuvune ng’obwo (mu lutalo lwe Badr) nabwekityo bulijjo ennaku tuzikyusakyusa wakati wa bantu (olumu lw’ono, olundi lwa mulala) olwo nno Katonda ayawule abakkiriza, mu ngeri yeemu ajje mu mmwe abafiira mu kulwanirira eddiini era bulijjo Katonda tayagala beeyisa bubi.
141. Era Katonda alyoke asengejje ayawulemu abo Abakkiriza, era azikirize Abakafiiri.
142. Oba mulowooza nti muyinza okuyingira e jjana nga Katonda tannaba kwawula abo abaalwana mu kkubo lye mu mmwe, era naayawula na bagumiikiriza.
143. Mwalinga mwegomba okufa nga temunnaba kusisinkana (Mu lutalo lwe Uhud) naye mubutuufu kwabatuukako nga mulabira ddala.
144. Muhammad tali okugyako okuba nti Mubaka era nga Ababaka bonna abaamukulembera, kaakano bwaba afudde oba nattibwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe (nemuva mu Busiraamu). Oyo yenna anaakyukira ku bisinziirobye talina kabi konna kaatuusa ku Katonda, era Katonda ajja kusasula abo abeebaza.
145. Era tewali muntu yenna afa okugyako nga Katonda yakkirizza, ekyo nga kiwandiike ekyagererwa ekiseera kyakyo, oyo yenna ayagala empera z’ensi tuzimuwa mu yo, n’oyo ayagala empeera z’enkomerero tulizimuwa ku nkomerero, era tujja kusasula abeebaza.
146. Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza.
147. Ekigambo kyabwe tekyali, okugyako okugamba nti Ayi Mukama omulabirizi waffe tusonyiwe ebyonoono byaffe, era otusonyiwe bwetuba tususse ekkomo mu nsonga zeddiini yaffe, era otunyweze mu kuyimirira kwaffe ku nsonga, era otutaase mu kibiina ku Bakafiiri.
148. Katonda n’abawa empeera z’okunsi, era nempeera ezisinga okuba ennungi ku lunaku lw’enkomerero, era bulijjo Katonda ayagala abakozi b’obulungi.
149. Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abaakafuwala bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abafaafaganiddwa.
150. Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna
151. Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi.
152. Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olwokukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala ebyokufuna bye nsi, nga bwemwalimu abagala enkomerero, oluvanyuma Katonda yaakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa ate mazima yabasonyiwa mmwe, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi.
153. Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga omubaka mumulese mabega abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira okwomuddinganwa mube nga temunakuwala olwebyo byemutaafuna, oba olwobuzibu obubatuseeko Katonda amanyidde ddala byonna byemukola.
154. Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba.
155. Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa.
156. Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaakafuwala nebagamba bannaabwe bwebaabanga batambudde mu nsi, oba nga bagenze ku lutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba.
157. Singa muttibwa nga muli mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya.
158. (Kyekimu) okuba nti mufudde oba muttiddwa ewa Katonda yekka gyemulikunganyiizibwa.
159. Kulwokusaasira kwa Katonda wabagondera (Gwe Muhammad) naye singa wali waboggo omuzito w'omutima bandikudduseeko, kale basonyiwe, obeegayiririre (ewa Katonda) obebuuzengako mu nsonga zonna wabula bwobanga omaliridde (n’osalawo ekyokukola) olwo nno weekwase Katonda, mazima Katonda ayagala abamwekwasa.
160. Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abavuddemu ani oyo ayinza okubataasa atali yye, bulijjo Abakkiriza bateekwa okwessa mu mikono gya Katonda mu nsonga zonna.
161. Tekisoboka ku Nabbi yenna okuba nga akumpanya eminyago naye omuntu yenna bwakumpanya ku minyago, agenda kujja ku lunaku lw’enkomerero n’ebyo byeyakumpanya oluvanyuma omuntu agenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kyeyakola, nabo tebaliyisibwa bubi.
162. Abaffe, oyo agoberera okusiima kwa Katonda ayinza okufaanana nooyo avuddeyo n’okusunguwalirwa Katonda! nga n’obuddo bwe muliro Jahannama ate nga buddo bubi ddala!
163. Abantu abo balina ebifo byanjawulo ewa Katonda, anti era bulijjo Katonda alabira ddala byebakola.
164. Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bweyabatumamu omubaka nga ava mu bo, nga abasomera ebigambo by’a Katonda, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu.
165. Lwaki bwemwatuukwako omuswiba (mu Uhudi) nga ate bo mwabatusaako omuswiba ogwenkana ogwo emirundi ebiri (mu Badr) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo, bagambe (gwe Nabbi Muhammad ()) ekyo kivudde ku mmwe mwennyini mazima Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu.
166. N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima.
167. Mu ngeri yeemu ayawule abo abanafunsi era abaagambibwa nti mujje mulwane mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, ku lunaku olwo nga bali kumpi nnyo n’obukafiiri okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyaabwe ebitava mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka.
168. Abo (Abananfusi) abagamba bannaabwe (ab’agenda ku lutalo) bo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Gwe Muhammad) nti kale mwewonye okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera.
169. Tolowoozanga nti abo abattirwa ku kuweereza mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe.
170. Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawa mubigabwabye, era nga basanyuka olwa bannaabwe bebaleka ku nsi nti tebatuukiddwako kutya, era nga bwebatagenda kunakuwala.
171. Nga basanyuka olwebyengera, n’obulungi obungi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo talina bwatayinza kusasula mpeera z’abakkiriza.
172. Abo abaayanukula (okukowoola kwa)Katonda n'omubaka (nebakkiriza okuddayo okulwana) oluvanyuma lwokutuukibwako obulumi bwolutalo, abeeyisa obulungi mu bo nebatya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi.
173. Abo abantu (Abagatta Katonda ne bintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi.
174. (Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) baali bayayaanira kusiima kwa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi.
175. Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala.
176. Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi.
177. Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma.
178. Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa.
179. Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okugyako ngamaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gwaba ayagadde, kale mukkirize Katonda nababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito.
180. Abo abaakodowalira ebyo Katonda byeyababawa mu bigabwabye, tebalowoozanga nti ekyo kirungi gyebali, wabula kyo kibi gyebali ku lunaku lw’enkomerero bagenda kwambazibwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola.
181. Mazima Katonda awulidde ekigambo kyabo abagamba nti mazima Katonda mwavu era nga ffe bagagga. Tujja kuwandiika ebyo byeboogera nga bwetujja okuwandiika okutta kwabwe ba Nabbi awatali nsonga, era tugambe nti mukombe ku bibonerezo by’omuliro.
182. (Ekyo kigenda kubatuukako) olwebyo emikono gyamwe byegyakola, era mazima ddala Katonda tayisa bubi baddube.
183. Era beebo abagamba nti mazima Katonda yatulagaanyisa okuba nga tetukkiriza mubaka yenna okugyako nga atuleetedde Saddaaka omuliro negugyokya, bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad ()) ababaka bangi abaabajjira oluberyeberye lwange nga baleese neebyo byemugamba, lwaki ate mwabatta bwe muba nga muli b'amazima mukino kyemugamba.
184. (Ggwe Muhammad tobafaako) bwebakulimbisa ababaka bangi abaakulembera abaalimbisibwa, baaleeta obujulizi obwenkukunala n'ebiwandiiko n'ebitabo ebijjudde ekitangaala.
185. Buli muntu yenna wa kukomba ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’enkomerero oyo yenna aliwonyezebwa omuliro naayingizibwa e jjana aliba yeesiimye, obulamu bwensi tebuliimu kantu konna okugyako okweyagala okwokugayaaza.
186. Mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe nemubulamu bwa mmwe, era mujja kutuukibwako ebitasanyusa bingi okuva mwabo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye, n'okuva mwabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu ku bintu ebikulu.
187. Era jjukira ekiseera Katonda bweyakozesa endagaano abo ab'aweebwa ekitabo nti mugenda kukinnyonnyola abantu era temugenda kukikweka wabula (endagaano) baagisuula emabega waabwe nebagiwaanyisaamu eby’okufuna ebitono, bibi nnyo byebaagula.
188. Tosuubiriranga abo abasanyuka olwebyo byebawaddeyo era nga baagala okutenderezebwa olwebyo byebaba tebakoze, tolowoolezanga ddala nti bagenda kuwona ebibonerezo, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma.
189. Obufuzi bwe ggulu ne nsi bwa Katonda, era Katonda muyinza ku buli kintu kyonna.
190. Mazima mu kutonda eggulu omusanvu ne nsi nokwawukana kwekiro ne misana ddala bubonero eri abo abalina amagezi amalamu.
191. Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro.
192. Ayi mukama Katonda waffe, mazima ggwe omuntu gwoliyingiza omuliro oliba omukkakkanyizza. Abeeyisa obubi tebagenda kufuna mutaasa yenna.
193. Ayi Mukama Katonda waffe tuwulidde omukoowooze ayita Abantu okujja eri obukkiriza nga agamba nti mukkirize Mukama Katonda wa mmwe, naffe netukkiriza, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe, otusanguleko ebyonoono byaffe, otuuse okututta nga tuli mu luse lwa baddubo abalongoofu.
194. Ayi Mukama omulabirizi waffe tukusaba otuwe byewatulagaanyisa nga biyita ku babaka bo, totufuulanga abanyomebwa ku lunaku lw’enkomerero, mazima ddala ggwe toyawukana ku ndagaano.
195. Mukama omulabirizi waabwe kwekubaanukula nti, siyinza butasasula mulimu omu ku mmwe gwaba akoze kaabe musajja oba mukazi, mwenna muli kyekimu (anti muli basiraamu). Abonno abaasenguka nebagobaganyizibwa mu mayumba gaabwe, nebabonyabonyezebwa ku lwange, ne balwanagana n'omulabe kulwange, ne balwanagana n’omulabe ne battibwa nja kubajjirako ddala ebibi byaabwe era nja kubayingiriza ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, eyonno nga mpeera okuva ewa Katonda, era bulijjo ewa Katonda yeeri empeera ennungi.
196. Abakafiiri okwegiriisiza mu nsi tekikuyigulanga ttama.
197. Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi.
198. Naye mazima abo abatya mukama Katonda waabwe baakufuna e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu nga bibanja ebyolubeerera ebiribaweebwa Katonda. Ebiri ewa Katonda byebirungi eri abaddu abalongoofu.
199. Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala.
200. Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olwekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemwekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munyweere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’enkomerero.
Icon