ترجمة سورة الفجر

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الفجر باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ndayira e mambya.
2. N’ebiro e kkumi.
3. N’ebibiri bibiri n’ebyensusuuba.
4. N’ekiro bwekiba nga kitambula (nga kijja oba nga kivaawo).
5. Abaffe mu kulayira kuno temuliimu kwebuulirira eri oyo alina amagezi.
6. Tewamanya ebyo Omuleziwo (Katonda) bye yatuusa ku bantu b'ekika kya A'adi.
7. Aba-Irama abawagguufu.
8. Tewatondebwangayo babafaanana mu nsi.
9. N’ebyo bye yatuusa ku ba Thamuud abaawukuulanga e njazi mu lusenyi.
10. N'ebyo bye yatuusa ku Firaawo nannyini nkondo.
11. Abo bonna (aboogeddwako) beewaggula kuno ku nsi.
12. Ne bayitiriza nnyo obwonoonefu.
13. Omuleziwo (Katonda) kye yava abafukirira e bibonerezo e by'enjawulo.
14. Mazima ddala Omuleziwo (Katonda) abalindiridde.
15. Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde.
16. Ku ludda olulala bw'aba amugezesezza n'amufundiza ebyenfunaye agamba nti omulezi wange (Katonda) anzikakkanyiza.
17. Nedda, wabula temuyisa bulungi ba Mulekwa.
18. Era temwekubiriza kuliisa banaku.
19. Ate nga mulya emmaali ya ba Mulekwa, olulya olugimalawo.
20. Era nga mwagala eby'enfuna okwagala okuyitiridde.
21. Nedda eyo si y'endaba e ntuufu ey’ebintu, e nsi bwe ribeera nga ebetenteddwa.
22. Omuleziwo n'ajja nga ne Ba Malayika basimbye ennyiriri.
23. Era kwolwo o muliro Jahannama gulireetebwa, kwolwo nno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki.
24. Agenda kugamba: zinsanze nze. Singa nategekera obulamu bwange buno.
25. Olunaku olwo (Katonda) e bibonerezo by'agenda okubonereza nabyo tewali n'omu yali abibonerezzaako.
26. Era ensiba gyalisiba ku lunaku olwo tewali yali agisibyeko.
27. Owange ggwe omwoyo omutebenkevu (omuntu).
28. Dda eri Omuleziwo ng'oli musanyufu era asiimiddwa.
29. Olwo nno oyingire mu baddu bange (abalongoofu).
30. Era oyingire mu jjana yange.
Icon