ترجمة سورة التكوير

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة التكوير باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Enjuba bw'erizingwako.
2. Nga n’emunyeenye zikunkumuse.
3. Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).
4. Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako).
5. N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa.
6. Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja).
7. Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).
8. Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa.
9. Kibi ki ekyamussa?.
10. Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi).
11. E ggulu bwe liriba liggyiddwawo.
12. Nga n’omuliro gukoleezeddwa.
13. Nga n’ejjana esembezeddwa.
14. Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi).
15. Ndayira e munyeenye ezibulawo.
16. Ezibula emisana ne zirabika ekiro.
17. Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo.
18. Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana.
19. Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad).
20. Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi.
21. Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa.
22. Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu.
23. Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula.
24. Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza.
25. (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire.
26. Naye ddala mulaga wa?
27. Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna.
28. Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama.
29. Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde.
Icon