ﮓ
surah.translation
.
ﰡ
ﭑ
ﰀ
1. Alif Laam Miim Swad
2. Kino kitabo e kyassibwa gyoli, tekisaanye kukuleetera nkeka, batiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri abakkiriza.
3. Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, temumulekangawo nemugoberera abalala, (ekibi) mujjukira kitono.
4. E bitundu bimeka bye twazikiriza! E bibonerezo byaffe ne bibatuukako e kiro, nga beebase oba ne bibatuukako e misana nga bawumuddeko.
5. Ebibonerezo byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okugyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi.
6. Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa.
7. Tugenda kubatottolera ddala olw'okumanya (kwaffe), anti tetubulangako (webakolera kintu kyonna).
8. Okupima ku lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna e birizitowa e bipimwa bye, abo nno be bagenda okubalibwa nti batuuse ku buwanguzi.
9. Oyo yenna e biriwewuka e bipimwa bye, abo nno beebo abafaafaaganirwa e myooyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku bigambo byaffe.
10. Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu e bibabeezaawo (wabula) musiima kitono.
11. Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama.
12. Katonda naagamba nti: kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde, (Sitane) naagamba nti nze mulungi okusinga yye, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka.
13. Katonda naagamba nti gifulume (e jjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa.
14. (Sitane) naagamba nti nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
15. (Katonda), naagamba nti, mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa.
16. (Sitane) naagamba nti, nga bwombuzizza nja kubateeganga ku kkubo lyo e ggolokofu.
17. Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso ne mabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza.
18. (Katonda) naagamba nti gifulume ng’ovumirirwa ng’ogobeddwa, oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo mwenna ngenda kubajjuza mu muliro.
19. Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi.
20. Sitane naababuzaabuza neeba e nsonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitane) naagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri teyabagaana muti guno okugyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde ba Malayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera.
21. (Sitane) naabalayirira nti mazima ddala nze era ku mmwe mwembiriri ndi omu kubawi ba magezi.
22. Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri.
23. Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tweyisizza bubi, bwonooba totusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.
24. (Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere.
25. (Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire).
26. Abange mmwe abaana ba Adam mazima twabawae byambalo e bibikka obwereere bwa mmwe, netubawa ne byambalo bye mwewunda nabyo, wabula e kyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku bigambo bya Katonda (bya batumira babe nga beebuulirira).
27. Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza.
28. Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi!
29. Ggwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Mukama omulabirizi wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwemugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe ye yekka, olwo nno mube nga e ddiini mugikolera ye yekka, anti nga bwe yabatandika (mu ku batonda) mugenda kuddawo (oluvanyuma lw'okufa).
30. E kibinja e kimu yakilungamya ate nga e kibinja e kirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo balungamu.
31. Abange abaana ba Adam mwambalenga bulungi buli lwe mugenda okusaala, era mulye munywe naye temudiibudanga. Mazima Katonda tayagala badiibuuzi.
32. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ani yaziza e by’okwewunda bya Katonda e byo bye yawa abaddu be ne Riziki ng’ebadde nnungi, gamba nti byo n'abasiraamu bakkirizibwa okubikozesa mu bulamu obwensi, naye bigenda kubeera byabwe bokka ku lunaku lwe nkomerero, bwe tutyo nno bwe tutottola e bigambo eri abantu abamanyi.
33. Gamba ggwe Muhammad nti Mukama omulabirizi wange yaziza e by'obuwemu eby'olwaatu n’ebyenkiso era yaziza obwonoonyi n’okulumbagana abantu awatali nsonga ntuufu, era naaziza okuba nga mugatta ku Katonda e bintu e birala e kintu kyatassaako bujulizi era naaziza okuba nga mwogera ku Katonda bye mutamanyi.
34. Buli bantu balina e bbanga e lyabagererwa, Katonda bwasalawo e ntuuko yaabwe neetuuka, tebayinza kusaba kaseera kubongozebwayo wadde okukendezebwako (nebakifuna).
35. Abange mmwe abaana ba Adam ababaka bwe balibaggyira , nga bava mu mmwe, nga babatottolera e bigambo byange, oyo yenna alitya Katonda naakola e mirimu e mirungi abo nno tebalibaako kutya era tebagenda kunakuwala.
36. Naabo abalimbisa e bigambo byaffe ne beekuluntaza, ne babireka abo nno be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.
37. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajweteka e bigambo ku Katonda, oba naalimbisa e bigambo bye, abo nno omutemwa gwabwe ogwabagererwa gubatuukako, olwo nno ababaka baffe bwe babajjira (ba Malayika) okubajjamu e myoyo bagamba nti baluwa abo be mwasinzanga nemuleka Katonda nebagamba batubuzeeko nebeewaako obujulizi nti mazima ddala baali bakaafiiri.
38. Katonda aligamba nti muyingire omuliro nga muyingirira mu bibinja e byabo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, e kibinja e kyenkomerero kiryogera ku kyolubereberye nekigamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo baatubuza bawe e bibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda naagamba nti buli bamu bongezeddwamu naye temumanyi.
39. Ab'olubereberye baligamba ab’enkomerero (nti ekyo kyemwogera) tekibawa nkizo yonna ku ffe, kale mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olw'ebyo bye mwakolanga.
40. Mazima abo abaalimbisa e bigambo byaffe ne babyekuluntalizaako, e miryango gye ggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira jjana be ppo nga e ngamiya eyise mu kituli ky'empiso, bwe tutyo nno bwetusasula aboonoonyi.
41. Balina obuliri mu muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.
42. Bo abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirungi tetuwaliriza muntu yenna okugyako kyasobola, abo nno be bantu be jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo.
43. Era tugenda kujja mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu jjana) nga ekulukutiramu e migga, era baligamba nti amatendo gonna ga Katonda oyo eyatulungamya eri e kkubo erituuka eri kino, tetwali baakulungama singa Katonda teyatulungamya mazima ababaka ba Mukama omulabirizi waffe bye baaleeta mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo e jjana mugifunye olw'ebyo bye mwaali mukola.
44. Abantu bo Mu jjana balikowoola abantu b’o mu muliro nga bagamba nti mazima Mukama omulabirizi waffe bye yatulagaanyisa tusanze nga bituufu, nammwe Mukama omulabirizi wa mmwe bye yabalagaanyisa mubisanze nga bye byo, baligamba nti yye olwo nno omulanzi alirangirira wakati waabwe, nti e kikolimo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi (abantu abo abeeyisa obubi).
45. Beebo abaziyiza abantu okuweereza mu kkubo lya Katonda, era nebalivumirira. Anti bo bawakanya olunaku lw’enkomerero.
46. Era wakati w’a bantu b’o mu muliro n’a bo mu jjana wagenda kubaawo e kikomera, nga waggulu ku kikomera waliyo abasajja abaawula buli muntu okusinziira ku bulambebwe, (abantu abo) balikoowoola abantu b’o mu jjana, nebabagamba nti e mirembe gibeere ku mmwe, anti (abalibeera mu kifo e kyo), baliba tebannayingira jjana era nga amaddu gabatta.
47. Ate amaaso gaabwe bwe galikyusibwa negoolekera abantu b’o mu muliro baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe totuteeka wamu n’abantu abeeyisa obubi.
48. Era abalibeera ku kikomera balikoowoola abantu be balimanya olw'obulambe bwabwe ne bagamba nti bye mwakunganya tebibayambye, wadde okwekuza kwe mwalimu.
49. Abo beebo be mwalayirirako nti Katonda tagenda kubasaasira (mwe wamma) muyingire e jjana, temugenda kutuukibwako kutya era temugenda kunakuwala.
50. Era abantu bo mu muliro balikoowoola abo mu jjana nebagamba nti, mutuwe ku mazzi oba n'ekirala kyonna Katonda kyabagabidde, baligamba nti mazima byombi Katonda yabiziza ku bakaafiiri.
51. Abo abaafuula e ddiini yaabwe e kinyumu n'omuzannyo obulamu bwe nsi nebubagayaaza kale nno olwaleero tujja kubeerabira nga nabo bwe beerabira nti walibaayo okutuuka ku lunaku luno, era n’okuba nti baali bawakanya e bigambo byaffe.
52. Era mazima ddala twabawa e kitabo mwe twannyonnyolera buli kintu nga tusinziira ku kumanya, (e kitabo e kyo) bulungamu era kusaasira eri abantu abakkiriza.
53. Abaffe balindirira okugyako Kur’ani by'eyogerako gye biriggwera, olunaku bwe lulituuka okulaga e bintu gye biriggwera, abo abaagireka oluberyeberye baligamba nti, ababaka ba Mukama omulabirizi waffe baaleeta amazima, naye abaffe tusobola okufuna abawolereza batuwolereze, oba tuyinza okuzzibwayo (ku nsi), netukola (e mirimu e mirungi) egitali e gyo gye twali tukola, mazima bafaafaaganirwa e myoyo gyabwe n’ebyo bye baali beegunjirawo ne bibabulako.
54. Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe Katonda, yooyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi mu nnaku mukaaga, olwo nno naatuula ku Arish, e kiro akibikka omusana, nga kigunoonya mu bwangu obuyitirivu, era yatonda e njuba n’omwezi ne munyenye nga byonna bitambulira ku kiragiro kye, abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde.
55. (kale nno) musabe Mukama omulabirizi wa mmwe nga muli bakkakkamu ( mu lwatu) ne mu kyama, anti mazima yye tayagala basukka nsalo.
56. Era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugirongoosa, era Katonda mumusabenga olw'okutya e bibonerezobye, oba olw'okululunkanira e birungi bye, anti mazima okusaasira kwa Katonda kuba kumpi n’abalongoosa (e mirimu gyabwe).
57. Era Katonda yooyo asindika e mpewo, nga zireeta amawulire agessanyu okuva mu kusaasirakwe, olwo nno bwezisindika e bire e bizito, e birimu amazzi tubiweereza eri e kitundu e kikalu, ne tukitonnyesaamu e nkuba, olwo nno netumeza nayo e bimera, era bwe tutyo nno naabafu bwetugenda okubazuukiza,mulyoke mwebuulirire (nakyo).
58. E kitundu kye nsi e kirungi ebisigwamu bimera bulungi olw'obuyinza bwa Mukama omulabirizi w'akyo, kyo e kibi tebimera okugyako nga bibi, bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo abantu abeebaza.
59. Mazima twatuma Nuhu eri abantu be, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, tewali kirala kyonna kisaana kusinzibwa mazima nze mbatiisa e bibonerezo by'olunaku oluzito.
60. Abakungu mu bantu be ne bagamba nti, mazima ffe tukulaba ng’oli mu bubuze obweyolefu.
61. Naagamba nti bantu bange siriiko bubuze bwonna naye mazima nze ndi Mubaka okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
62. Nga mbatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nga mbabuulirira, era nga mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi.
63. Mwewuunya okulaba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! nga bukkira ku Musajja ava mu mmwe, n'aba nga abeekesa, era kibafuule abatya Katonda mube nga musaasirwa.
64. Ne bamulimbisa ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato, era ne tuzikiriza abo abaalimbisa e bigambo byaffe, anti mazima bo baali ba muzibe.
65. N’abeekika kya Aadi twabaatumamu muganda waabwe Huud, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka, temulinaayo kirala kitali yye kisaana kusinzibwa, abaffe temutya?
66. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be nebagamba nti mazima ffe tukulaba ng’oli mu bya butaliimu, era mazima ffe tukulaba, ng’omu ku balimba.
67. Naagamba nti bantu bange siri mu bya bwe wussa, wabula mazima ddala nze ndi Mubaka atumiddwa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
68. Mbatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange nga nange gyemuli ndi mubuulirizi omwesimbu.
69. Mwewuunya okuba nti obubaka bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe! Nga bukkira ku musajja ava mu mmwe, naaba nga abeekesa!. Era mwandibadde mujjukira bweyabafuula abasigire oluvanyuma lwa bantu ba Nuhu, n'abongera obugimu mu butonde, kale nno mujjukire ebigabwa bya Katonda kibasobozesa okutuuka ku buwanguzi.
70. Nebagamba nti, abaffe e kikuleese gye tuli lwa kusinza Katonda yekka! tuleke e byo ba jajja ffe bye baali basinza, bwe kiba bwe kityo tutuuseeko e kyo ky’otulagaanyisa, bwoba nga oli mu boogera amazima.
71. (Hudu) naagamba nti e bibonerezo n’obusungu bya Mukama omulabirizi wa mmwe bibakakaseeko, muyinza mutya okumpakanya ku mannya gemwetuumira mmwe, ne bakadde ba mmwe, nga Katonda tabissangako bujulizi bwonna, kale nno mulindirire, mazima nze nindirira wamu na mmwe.
72. Netumuwonya n'abo abaali naye olw'okusaasira kwaffe, twaggyirawo ddala e mirandira gyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, era tebabeerangako mu bakkiriza.
73. Era aba Thamudu twabatumira muganda waabwe Swaleh naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda yekka temurinaayo kirala kyemulina kusinza ekitali yye, obujulizi bubajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (eno) Ngamiya ya Katonda, nga kya magero gye muli, kale nno mugireke erye mu nsi ya Katonda wonna weeyagala, temugituusaako akabi nemutuukwaako e bibonerezo e biruma ennyo.
74. Era mujjukire Katonda bwe yabazza mu bigere byaba Aadi, naabatebenkeza mu nsi, nga mu bifo ebya wansi mu yo, muzimbamu amayumba amatiribona, ng’ate e nsozi muzisima nezifuuka amayumba, kale nno mujjukire e byengera bya Katonda, era temugufuula omulimu okugenda nga mwonoona ku nsi.
75. Abakungu abo abeekuluntaza mu bantu be kibiina kye, nebagamba eri abo abaatwalibwanga okuba aba wansi mu bo, nga bagamba abo abaali bakkiriza mu bo, nti mukakasa nti ddala Swaleh Mubaka okuva eri Mukama omulabirizi we, nebagamba nti yye, mazima ddala ffe tukkiriza byonna ebyamutumwa.
76. (Olwo nno) abo abeekuza nebagamba nti, mazima ffe tuwakanyizza ddala e byo bye mukkirizza.
77. E ngamiya n ebagifumita ne bava ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waabwe, era nebagamba owange Swaleh bwoba nga oli mu luse lwa babaka twanguyize e byo byo tulagaanyisa.
78. Okukankana okwamaanyi (Musisi) nekubajjira nebakeesa e nkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.
79. Awo nno (Swaleh) kwekubavaako nga bwabagamba nti, yye mmwe bantu bange mazima nabatuusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nababuulirira naye (ekituufu) temwagala babuulirira.
80. Era (jjukira ggwe Nabbi Muhammad) Luutu nga bwe yagamba abantu be nti abaffe mukola eby'obuwemu, nga mu nsi yonna tewali muntu yali abikoze!
81. Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mu bukola ku basajja nemulekawo abakazi wabula bantu mmwe, kyemukola muli badiibuuzi.
82. Tekwali okwanukula kw’a bantube okugyako, okuba nga baagamba nti, (abo) mubafulumye mu nsi ya mmwe, anti bo bantu abeetwala okuba nti bayonjo.
83. Wabula twamutaasa n’abantube okugyako mukyala we, yasigala nabaatuukibwako e bibonerezo.
84. Netubasindikira e nkuba (nga y’amayinja) kale fumiitiriza e nkomerero ya bajeemu bwe yali.
85. Ate abe Madyana twabatumira muganda waabwe Swaibu, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda, ng’oggyeko yye tewali kirala kyemusaanidde kusinza, obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe bubajjidde, kale nno mutuukirize ebirengwa n’ebipimwa, temugaananga okutuukiririza abantu ebintu byaabwe, era temwonoonanga mu nsi oluvanyuma lwokugikola nga nungi, ekyo nno mmwe kye kirungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza.
86. Era temuteeganga abantu mu kkubo lyonna nemubatiisa (olw'okwagala okubanyaga) nemuziyiza abantu abakkiriza Katonda okuweereza mu kkubo lye, ne mulifuula ebbi eri abantu, era mujjukire nga bwe mwali abatono naabayingiwaza, era mulabe e nkomerero y’abonoonyi nga bwe yali.
87. Era bwekiba nga e kitundu ku mmwe bakkiriza ekyo kye nnatumwa nakyo, ng’ate e kitundu e kirala tebakkiriza, kale mulinde okutuusa Katonda lwanaatulamula, anti nga bulijjo yaasinga abalamuzi.
88. Abakungu abo abeekuluntaza mu bantube, baagamba nti owange Swaibu tujja kukugoba mu kitundu kyaffe n’abo abakkiriza abali naawe, oba ssi ekyo, oteekeddwa okudda mu ddiini yaffe. Naagamba nti ne bwetuba nga e kyo si kyetwagala.
89. (Ne tumala tukikola) mazima tunaaba tugunjizza ku Katonda e bigambo e byobulimba singa tudda mu ddiini ya mmwe, oluvanyuma lwa Katonda okugituwonya, era tewali nsonga egituddisaamu, beppo nga Mukama omulabirizi waffe yaayagadde, Mukama omulabirizi waffe okumanyakwe kubuna buli kintu, ku Katonda kwe twekutte, ayi Mukama omulabirizi waffe salawo wakati waffe n’abantu baffe mu mazima, anti ggwe osinga abasalawo bonna.
90. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantu be ne bagamba nti, singa mugoberera Swaibu, olwo nno mazima mmwe, mujja kubeera mu bafaafaaganiddwa.
91. Okukankana okw'amaanyi (Musisi) ne kubajjira ne bakeesa nga mirambo e gigangalamye mu mayumba gaabwe.
92. Abo abaalimbisa Swaibu ne baba nga abateeyagalirangako mu mayumba gaabwe, abo abaalimbisa Swaibu bo be bafaafaaganirwa.
93. Olwo nno Swaibu n’abavaako (nga takyalina kya ku bakolera) naagamba nti abange bantu bange, mazima nabatusaako obubaka bwa Mukama omulabirizi wange, era nembabuulirira. Butya bwennyinza okunyolwa olw’abantu abakaafiiri.
94. Tewali Nabbi gwe twatuma mu kitundu kyonna okugyako ng’abantu b’omukintu e kyo, (bwe bamulimbisa) tubatuusaako obubenje n’obuzibu, olwo nno balyoke bagonde.
95. Oluvanyuma mu kifo kye kibi ne tuwaanyisaamu e kirungi, okutuusa lwe baayala e mbeera yaabwe neetereera, ne bagamba nti, (si ffe tusoose) ne bakadde baffe baatuukibwako obuzibu, ate oluvanyuma ne batuukibwako obwangu. (awamu n'ekyo Katonda agamba) ne tubakwata (ne tubatta) nga nabo tebategeera.
96. Singa abantu b’o mu bitundu e byo bakkiriza ne batya Katonda, twandibagguliddewo e mikisa okuva mu ggulu ne mu nsi, naye baalimbisa, olwo nno netubabonereza olw’ebyo bye baakola.
97. Abaffe abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza kubatuukako kiro, nga nabo beebase.
98. Oba abantu b’omu bitundu e byo baalina obukakafu nti e bibonerezo byaffe tebiyinza ku batuukako misana, nga nabo bali mu kutiguka.
99. Abaffe baawona okusalawo kw’a Katonda, (e kituufu kiri nti) tewali ayinza kulowooza nti ayinza okuwona okusalawo kw’a Katonda okugyako abantu abafaafaaganirwa.
100. Abaffe tekitegeerekeka eri abo abasikira e nsi oluvanyuma lw’abagibaddemu okufa nti, singa twayagala twalibavunaanye olw’e byonoono bya bwe, ne tuteeka e nvumbo ku mitima gyabwe nebaba nga tebawulira.
101. E bitundu e byo tukutegeeza e bimu ku byafaayo byabyo, era mazima ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baali tebayinza kukkiriza ebyo bye baalimbisa mu kusooka, bulijjo bwatyo Katonda bwazibikira e mitima gy’a bakafiiri.
102. Era abasinga obungi mu bo tetwabasanga na ndagaano yonna (gye baatuukiriza), wabula twasanga abasinga obungi mu bo nga boonoonyi.
103. Ate oluvanyuma lwabwe, twatuma Musa ewa Firawo n’abakungube, nga tumuwadde eby’amagero byaffe nebabiwakanya, kale nno, fumiitiriza olabe e nkomerero y’aboonoonyi nga bwe yali.
104. Musa naagamba nti, owange Firawo mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.
105. Kikakafu okuba nga soogera ku Katonda okugyako amazima, mazima mbaleetedde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe obujulizi, n’olwekyo mpa abaana ba Israil (ngende nabo).
106. (Firawo) naagamba nti oba olina obujulizi bwozze nabwo buleete, bwoba nga ddala oli mu boogera amazima.
107. Awo Musa n’asuula omuggogwe, okugenda okwekanga nga gwo, musota ogwannamaddala.
108. Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula.
109. Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti mazima ono, mulogo kakensa.
110. Ayagala ku baggya mu nsi ya mmwe, kati mmwe kiki kye mugamba.
111. Nebagamba nti, mugambe ne mugandawe balindeko, otume mu bitundu byonna abakunga (abalogo).
112. Bajja kukuleetera buli mulogo omukugu.
113. Era abalogo bajja ewa Firawo ne bagamba nti, mazima tuteekwa okusasulwa, kavuna tuba nga ffe tuwangudde.
114. Naagamba nti weewaawo, era mazima ddala mujja kubeera mu abo abambeera ku lusegere.
115. Nebagamba nti owange Musa ggwe osooka okwanja, oba ffe tusooka okussaawo.
116. Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu.
117. Netutumira Musa nti, suula omuggogwo, negutandika okumira byonna, ebyo bye baali bajingiridde.
118. Amazima negalabika, byonna bye baali bakola nebifa.
119. Bwe batyo nebawangulirwa awo wennyini, nebafuuka abakkakanyiziddwa.
120. Bbo abalogo beesanga nga bateekwa kuvunnama.
121. Nebagamba nti tukkirizza Mukama Katonda omulabirizi w’ebitonde.
122. Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.
123. Firawo naagamba nti mumukkirizza nga sibawadde lukusa, (kirabika nti mazima ddala) luno lukwe lwe mwakoledde mu kitundu kino olw'ekigendererwa ky’okugobamu abantu baamu, naye muggya ku kimanya.
124. Nja kubatemako e mikono n’amagulu gammwe mu mpuyi ez’enjawulo (Nga bwetutema omukono ogwa ddyo, okugulu tutema kwa kkono) ate oluvanyuma mwenna nja kubakomerera ku misaalaba.
125. Nebagamba nti (ekyo temuli), anti mazima ddala ffe olwo tunaaba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.
126. Tolina kyotuvunaana okugyako okuba nti tukkirizza e bigambo by’a Mukama omulabirizi waffe e bitujjidde, ayi Mukama omulabirizi waffe tugonnomoleko obugumiikiriza, era otuuse e ntuuko yaffe nga tuli basiraamu.
127. Abakungu mu bantu ba Firawo nebagamba nti, ogenda kuleka Musa n’abantube babe nga boonoona mu nsi, (era osuubire nti Musa an’akuleka) neba Katondabo, (Firawo) kwe kugamba nti, abaana baabwe ab’obulenzi tujja kubatta, tulekewo bawala baabwe, mazima ffe, nga bulijjo tubali waggulu, era tubasukkulumye mu maanyi.
128. Musa naagamba abantube nti, mwekwate ku Katonda era mugumiikirize, mazima ddala ensi y’aKatonda, agisikiza abo b’aba ayagadde mu baddube, era e nkomerero (e nnungi), y'abo abatya Katonda.
129. Nebagamba nti, mazima twabonyabonyezebwa nga tonnatujjira, n’oluvanyuma lw’okutujjira! (Musa) naagamba nti, Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kuzikiriza omulabe wa mmwe, mu kifo kya bwe azzeewo mmwe, nga abasigire mu nsi, olwo nno atunuulire alabe bwe mukola.
130. Mazima twabonereza abantu ba Firawo n’emyaka gy’enjala, n’ekkekwa ly’ebibala, babe nga bajjukira.
131. Bwe kyabajjira nga e kirungi baagambanga nti, kino kyaffe, (ffe tukikoze) buli lwe baatukwangako e kibi, nga beekwasa Musa n’abo abaali naye, naye nga ddala e kikwa kyabwe kiri wa Katonda, wabula mazima abasinga obungi mu bo tebamanyi.
132. Era nebagamba nti, buli kabonero konna k’onootuleetera obe nga otuloga nako, tetugenda kukukkiriza.
133. Olwo nno netubasindikira amataba, n’enzige, n’ensekere, n’ebikere n’omusaayi nga bubonero obulagiddwa obulungi, wabula ne beekuluntaza, anti era bulijjo baali bantu aboonoonyi.
134. Ekibonerezo bwe kyamala okubatuukako nebagamba nti, owange Musa tusabire Mukama omulabiriziwo, ng’osinziira ku ebyo bye yakuwa, singa otuggyako e kibonerezo kino, ddala tujja kukukkiriza era tugenda kukuweera ddala abaana ba Israil (obatwale).
135. Bwe twamala okubaggyako e kibonerezo nga e bbanga eryali libagereddwa liweddeko, ekyaddirira bo kumenya ndagaano.
136. Olwo nno netubalaga obusungu bwaffe, netubazikiriza mu nnyanja olw'okuba nti, mazima bo baalimbisa e bigambo byaffe, era nga ku byo baali bagayaavu.
137. Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba.
138. Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera.
139. Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu.
140. Naagamba nti, ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! ate nga yye yabasukkulumya ku bitonde byonna!
141. (Ebyogeddwa byonna mu aya ezikulembedde okubaawo kyagoberera e kyafaayo e kiddirira e kigamba nti), mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Firawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bwe bibonyobonyo, nga batemula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo bawala ba mmwe, mu ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe.
142. Twalagira Musa amale e biro makumi asatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama omulabiriziwe, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama omulabiriziwe kye yamugerera nekituukirira, nga z’ennaku amakumi ana, awo Musa naagamba mugandawe, Haruna nti, nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu e kkubo ly’aboonoonyi.
143. Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza.
144. (Katonda) naagamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde e nkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza.
145. Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi.
146. Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba.
147. Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga!
148. Musa bwe yagenda, abantube, baabumba e nnyana okuva mu by'okwewunda byabwe, nga erabikira ddala nga erina omubiri, n’okungonga engonga, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kw’ogera nabo! era nga tesobola kubalungamya ku kkubo, b’agyeteerawo, era olwekikolwa ekyo nebabeera ab’omu bantu abeeyisa obubi.
149. Bwe beefumiitiriza, nebalaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) nebagamba nti, singa Mukama omulabirizi waffe tatusaasira, naatusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.
150. Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi.
151. Musa naagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasirakwo, anti bulijjo ggwe musaasizi asinga abasaasizi bonna.
152. Mazima abo abeeteerawo e nnyana (bagisinze), bajja kutuukwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama omulabirizi waabwe, mu bulamu obwe nsi, era bwe tutyo bwe tusasula abo abatemerera e bigambo.
153. Naabo abakola ebibi, ate nebeenenya oluvanyuma lwabyo, era nebakkiriza, mazima ddala Mukama omulabiriziwo, oluvanyuma lwabyo, musonyiyi, musaasizi.
154. Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula e mbawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulungamu, n’okusaasira eri abo, bo abatya Mukama omulabirizi waabwe.
155. Musa yalonda mu bantube, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya mu ffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesakwo, obuza nakwo oyo gwoba oyagadde, ate n’olungamya nakwo, oyo gwoba oyagadde, otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo ggwe asinga abasaasizi bonna.
156. Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe.
157. Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.
158. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka w’a Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) oyo bubwe obufuzi bw'eggulu omusanvu ne nsi, tewali kintu kyonna kisinzibwa okugyako yye, awa obulamu, era natta, kale nno mukkirize Katonda n’omubakawe, Nabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambobye, era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye.
159. Mu bantu ba Musa, mulimu e kibiina nga bakozesa amazima, era nga gebakozesa okukola obwenkanya.
160. Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi.
161. Era jjukira bwe baalagirwa nti, mutuule mu kitundu kino, mulye nga muli mu kyo, wonna wemwagala, era mugambe nti, Hittwa (tuggyeko e bibi), era muyingire omulyango gw’ekibuga nga muvunnamye, olwo nno tujja kubasonyiwa e byonoono bya mmwe, tujja kwongeza abakozi b’obulungi.
162. Abo abeeyisa obubi, baakyusa e kigambo ekyabagambwa, olwo nno ne tubasindikira e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye beeyisangamu obubi.
163. Babuuze ebikwata ku kitundu e kyali ku lubalama lwe nyanja, bwe baamenya e tteeka erikwata ku lunaku lw’omukaaga, olw'okuba e byennyanja byabwe bya bajjiranga, mu bungi ate nga ku lunaku olutali lw’amukaaga nga tebibajjira, bwe tutyo bwe tubakema olw'ebyo bye baakola mu bwonoonyi.
164. Era jjukira e kibiina mu bo bwe kyagamba nti, lwaki mubuulirira e kibiina kya bantu nga Katonda ajja kubazikiriza, oba ajja kubabonereza n’ebibonerezo e bisuffu, bo nebagamba nti tukikola lwa kweggyako musango ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, ate sinakindi nabo bayinza okutya Katonda.
165. Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga.
166. Bwe baalemera kw'ebyo e byabagaanibwa twabagamba nti, mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa.
167. Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bwe bibonerezo, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, mazima Mukama omulabiriziwo mwangu mu kubonereza, era mazima yye. Musonyiyi nnyo wa kisa.
168. Era twabagabanya mu nsi, nebaba e bibiina e byenjawulo, mu bo mulimu abalongoofu, era mu bo mulimu abatali ekyo, era twabagezesa n’ebirungi n’ebibi kibayambe okudda (eri Katonda).
169. Newajja oluvanyuma lwabwe abaabaddira mu bigere, abaasikira e kitabo nebaba nga bakulembeza by’akufuna bya nsi ebitaliimu, era nebagamba nti tulisonyiyibwa, era singa bajjirwa e birala e bibifaanana, nabyo bandibitutte, abaffe tebaakozesebwa ndagaano y’ekitabo okuba nga teboogera ku Katonda okugyako amazima, era nga basoma ebyo ebiri mu kitabo, ate nga ekituufu kiri nti, obutuulo obw'enkomerero bwe bulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera.
170. Ate abo abeekwata ku kitabo nebayimirizaawo e sswala, mazima ffe tetugenda kwonoona mpeera y’abalongoofu.
171. Era jjukira bwe twatengeesa olusozi waggulu waabwe, neruba nga manvuli, nebatuuka okulowooza nti mazima ddala lugenda kubagwako (awonno netubagamba nti) bye tubawadde mubikwate butiribiri, era mujjukire ebibirimu, olwo nno mube abatya Katonda.
172. Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yajja ku migongo gy’abaana ba Adam ezzadde lyabwe, n’abalagira beeweeko obujulizi, (naagamba nti) Sinze Mukama omulabirizi wa mmwe, nebagamba nti, bwe guli, era tukiwaako obujulizi, olwo nno muleme kugamba ku lunaku lw'enkomerero nti, mazima ddala ffe, kino twali tetukimanyi.
173. Oba muleme kugamba nti, bakadde baffe beebaakola shiriki ffe nga tetunajja, era ffe twali zzadde eryajja oluvanyuma lwabwe. Otuzikiriza otya olw'ebyo ebyakolebwa aboonoonyi.
174. Era nno bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo, babe nga badda (eri okusinza Katonda yekka).
175. Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero bwaffe n'abwesamba, ne Sitane naamunoonya (n'amufuula munne) olwo nno naabeera ow'omu babuze.
176. Singa twayagala twandimusitudde e ddaala olw'obubonero obwo, naye mazima ddala yye yeemalira ku nsi, era n’agoberera okwagalakwe, olwo nno e kifaananyi kye alinga e mbwa bwogigoba e misinde ewejjawejja, ate nebwogireka eba ewejjawejja, ekyo nno kye kifaananyi kyabo abaalimbisa e bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo kibayambe ku bigambo byaffe, bategeeze ebyafaayo, kibayambe okwefumiitiriza.
177. Kifaananyi kibi eky’a bantu abaalimbisa e bigambo byaffe, ate nga ekituufu kiri nti emyoyo gyabwe gye baayisanga obubi.
178. Oyo yenna Katonda gw'aba alungamizza ye y’abeera omulungamu, ate gwabuza, abo nno be baafaafaaganirwa.
179. Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini).
180. Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola.
181. Mu bantu betwatonda, mulimu e kibiina nga bo bakolera ku mazima, era gebakozesa okukola obwenkanya wakati w’abantu.
182. Naabo abaalimbisa tujja kubatwaliriza mpola, naye tubakwate nga tebamanyi.
183. Era mbalindiriza nebeeyagalira (mu byengera) naye nga mazima entegeka yange nnyweevu.
184. Abaffe tebaalowoozaako (n’omulundo n'ogumu) nti munnaabwe ono si mugwi wa ddalu, (e kituufu kiri nti) tali kintu kyonna okugyako okuba nti mutiisa ow’olwatu.
185. Abaffe tebaatunulako mu bufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi! na buli kyonna Katonda kyeyatonda! n’okuba nti kirabika nti e nkomerero yaabwe mazima yali etuuse! kaakano oluvanyuma lwa kino bigambo ki bye bayinza okukkiriza!.
186. Oyo yenna Katonda gwabuza tewali ayinza ku mulungamya, era abaleka mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.
187. Bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero nti lulituuka ddi, gamba nti, mazima ebirukwatako Mukama omulabirizi wange y'abimanyi, tewali ayinza ku kubuulira mu butuufu nti lulituuka ddi? okugyako yye, ebilukwatako bizito mu ggulu omusanvu, ne ku nsi, terugenda kubajjira okugyako kibwatukira, balukubuuza ng’olinga alumanyiiko ennyo, gamba nti, mazima ebyokumanya olunaku olwo biri wa Katonda, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.
188. Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba e kibi, okugyako Katonda kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okugyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Katonda.
189. Katonda yye yooyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, ng’ate mu ye mwe yaggya mukyalawe, abeere ng’adda gyali olw'okufuna obutebenkevu, bwe yamala okulabagana naye, naafuna olubuto olwangu, n’ayita nalwo mu mitendera (olubuto mweruyita) olw’amala okukula, baasaba Mukama omulabirizi waabwe, nebagamba nti, singa otuwa omwana omulongoofu, tujja kubeerera ddala mu beebaza.
190. (Naye ate abantu abaddirira) Katonda bwe yabawa omwana omulongoofu, baamugattako e bintu e birala mu ekyo kye yabawala, Katonda w'anjawulo nnyo, kw'ebyo bye bamugattako.
191. Abaffe bagatta ku Katonda ebyo ebitasobola kutonda kintu kyonna, ng’ate byo byatondebwa.
192. Era tebiyinza kubafunira kutaasa wadde bo bennyini okwetaasa.
193. Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebabagoberera, kye kimu kamube nga mubayise, oba nga musirise.
194. Mazima abo bemusaba nemuva ku Katonda, baddu nga mmwe, kale mubasabe babaanukule bwe muba nga mwogera mazima.
195. Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza.
196. Mazima omukuumi wange ye Katonda, oyo eyassa e kitabo, era bulijjo yye, ye mukuumi w’abalongoofu.
197. Era mazima ddala be musaba ne mumulekawo, tebasobola kubataasa, era nga bwe batasobola kwetaasa.
198. Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba.
199. Nywerera ku kusonyiwa, era olagire abantu okweyisa obulungi, era ove ku batategeera.
200. Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi.
201. Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu.
202. Naye nga bannaabwe bongera kubasindika mu bwonoonefu, era nga tebaweera.
203. Bwotabaleetera kya magero, bagamba nti, waakiri waalikyeyiiyirizza, gamba nti, mazima ngoberera ebyo ebiba bimpereddwa okuva ewa Mukama omulabirizi wange. (Kur’ani) eno, mumuli oguvudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, era bulungamu na kusaasira eri abo abakkiriza.
204. Buli Kur’ani lwesomwanga mugiwulirize, era mugisseeko omulaka, olwo nno mulyoke musaasirwe.
205. Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu.
206. Mazima abo abali ewa Mukama omulabiriziwo, tebeekuluntaza nebatamusinza, era ba mutendereza, era nga yye yekka, gwebavunnamira.