ﰡ
1. Aliif Laam Raa, e nnyukuta zino twazoogerako ku ntandikwa ya Sura Al Bakara, bino bye bigambo by'ekitabo (Kur’ani) eby'amagezi.
2. Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu e mirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo mweyolefu.
3. Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe ye Katonda oyo eyatonda e ggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Katonda, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira.
4. Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga.
5. (Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi.
6. Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda).
7. Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe.
8. Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga.
9. Mazima abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu, Mukama omulabirizi waabwe abalungamya olw'obukkiriza bwa bwe, gikulukutira e migga wansi waabwe mu jjana ez'ebyengera.
10. Okusaba kwa bwe nga bali mu yo (baliba batendereza nga bagamba nti) wasukkuluma ayi Mukama Katonda nga ne ssalaamu, kye kiriba e kiramuso kya bwe, nga n'enkomelero y'okusaba kwa bwe baligamba nti amatendo gonna ga Katonda omulabirizi w'ebitonde.
11. Singa Katonda yali atuusa ku bantu akabi nga bwabatuusaako amangu obulungi, yaalibatuusizza kw'ekyo kye yabagerera, olwo nno netuleka abatasuubira kutusisinkana mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.
12. Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola.
13. Twazikiriza e mirembe mingi oluberyeberye lwa mmwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi.
14. Oluvanyuma twabafuula (mmwe) abaddira bali mu bigere oluvanyuma lwa bwe, olwo nno tulabe mmwe mukola mutya!.
15. Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa ng’ate ddala binnyonnyofu, abo abatasuubira kutusisinkana bagamba nti leetayo Kur’ani endala etali eno oba eno gikyuseemu, bagambe nti tekiri mu buyinza bwange okugikyusa nga nze nnesalirawo, sirina kyengoberera okugyako ekyo ekimpebwa nga bubaka, mazima nze ntya ebibonerezo by'okulunaku oluzito singa njemera Mukama omulabirizi wange.
16. Bagambe nti singa Katonda yayagala sandigibasomedde (Kur’ani) era (Katonda) teyandigibamanyisizza, anti mazima nnatuula mu mmwe ebbanga ddene nga tennampebwa abaffe temutegeera!.
17. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona.
18. Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Katonda ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammad nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako.
19. Abantu tebabangako okugyako e kibiina kimu (Wddiinin y'obusiraamu) wabula oluvanyuma baayawukana, naye singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo (okuba nti buli muntu alina waalifiira) ensonga zaabwe zaalimaliddwa (mangu) mw'ebyo bye baawukanamu.
20. Era bagamba nti singa (Muhammad) assibwako eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe kale ggwe gamba nti mazima ebitalabwako biri mu mikono gya Katonda (bwayagala abiwa abantu bwaba tayagadde naatabawa), kale nno mulindirire, mazima nze ndiwamu na mmwe mu balindirira.
21. Abantu bwe tubakombya ku kusaasira oluvanyuma lw'obuzibu obuba bubatuuseeko ogenda okulaba nga balina enkwe zebakola ku by'amagero byaffe, gamba ggwe (Muhammad) nti Katonda y'asinga obwangu mu kussa mu nkola kyaba asazeewo, mazima ddala bulijjo ababaka baffe bawandiika enkwe zemusala.
22. (Katonda) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo e nnungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza.
23. Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga.
24. Mazima e kifaananyi ky'obulamu bw'ensi kiringa amazzi getussa okuva waggulu ne gatuuka ku bimera ebiri mu ttaka, mu ebyo abantu bye balya n'ensolo bye zirya, okutuusa ensi bwetandika okulabika obulungi nenyirira abantu abagiriko nebalowooza nti bagisobola, e kiragiro kyaffe nekibajjira ekiro oba e misana netugifuula nga enkungule neeba nga etabadde y'amugaso eggulo bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola obubonero eri abafumiitiriza.
25. Ne Katonda akoowoola abantu okujja eri e nyumba ey'emirembe era alungamya oyo gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu.
26. Abo abakola obulungi bagenda kuweebwa obulungi n'ennyongeza. Enfuufu tegenda kubikka byenyi bya bwe wadde okulabikako obunyomoofu, abo nno b'ebantu bo mu jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo.
27. Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi bya bwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera.
28. Era jjukira olunaku lwe tulibakunganya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Katonda) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Katonda nebagamba nti mwali temusinza ffe.
29. Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza.
30. Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Katonda mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko.
31. Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.
32. Oyo nno mmwe ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda).
33. Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza.
34. Gamba ggwe (Muhammad) nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya!.
35. Bagambe nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okulungamya, gamba nti Katonda alungamya eri obutuufu, yaateekwa okugobererwa oba oyo atalungamya okugyako nga alungamiziddwa mwabaaki ebintu mubisalawo mutya!.
36. Abasinga obungi mu bo tebagoberera okugyako okuteeba, anti mazima okuteeba tekulina kintu kyonna kye kuyamba ku kulaga obutuufu, mazima ddala bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
37. Kyali tekisoboka kuba nti Kur’ani eno yagunjibwawo nga teyava wa Katonda, wabula yye Katonda yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
38. Oba bagamba nti (Muhammad) yagigunjaawo, gamba nti (bwemba nga nze nnagiyiiya) kale muleete essuula yonna egifaanana muyite bonna bemunaaba musobodde, nga oggyeko Katonda bwe muba nga mwogera mazima.
39. Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya!.
40. Ate mu bo mulimu abakkiriza (Kur’ani) era nga bwe mulimu abatagikkiriza era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya bikwata ku boonoonyi.
41. Naye bwe baba nga bakulimbisizza (ggwe Nabbi Muhammad), bagambe nti nina e mirimu gyenkola (e ddiini yange) na mmwe mulina e mirimu gye mukola (mu ddiini yammwe) muli wala nnyo n'ebyo byenkola era nange ndiwala nnyo n'ebyo bye mukola.
42. Ate mu bo mulimu abakuwuliriza naye abaffe ggwe osobola okuwuliza ba kiggala newaakubadde nga tebategeera.
43. Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba!.
44. Mazima Katonda tayisa bubi Bantu mu kintu kyonna, naye mazima abantu bo bennyini be beeyisa obubi.
45. N'olunaku (Katonda) lwali bakunganya bagenda kuba nga abataali ku nsi okugyako essaawa emu mu budde bw'emisana nga bamanyigana wakati waabwe. Mazima bafaafaaganirwa abo abalimbisa okusisinkana Katonda era tebabangako balungamu.
46. Naye singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tubalagaanyisa (kuno ku nsi) oba netukutta (nga tobirabye ky'ekimu) n'olwekyo gye tuli y'eri obuddo bwabwe ate Katonda alaba ebyo byonna bye bakola.
47. Nabuli bantu bonna baafuna omubaka, kale nno bwalijja omubaka waabwe (naabawaako obujulizi ku lunaku lw'enkomerero) wagenda kulamulwa wakati waabwe na bwenkanya era nga tebagenda kuyisibwa bubi.
48. Era bagamba nti, ebyo ebitulagaanyisibwa biribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.
49. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) sisobola kwetaasa mu kabenje konna era nga bwe siyinza kwegasa na kintu kyonna okugyako ekyo Katonda kyaba anjagalizza, buli bantu balina ebbanga Katonda lye yabagerera singa ebbanga eryo liba lituuse tebasobola kwongezaayo oba okukulembeza oba wadde essaawa emu.
50. Bagambe nti, mulaba mutya singa ebibonerezo bya Katonda biba bibajjidde kiro oba misana (ekyo kibagasaaki?) lwaki aboonoonyi basaba ebibonerezo okubajjira amangu!.
51. Abaffe oluvanyuma lw'okujja kw'ekibonerezo ebyo olwo nga mubikkirize so nga ate mwali musaba byanguyirizibwe (mu ngeri ya kujeeja).
52. Oluvanyuma abeeyisa obubi baligambibwa nti mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera, abaffe muyinza okusasulwa okugyako ekyo kye mwapakasa.
53. Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Katonda).
54. Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi.
55. Abange, mazima bya Katonda, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi.
56. Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa.
57. Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza.
58. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya.
59. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Katonda gwe mutemerera.
60. Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza.
61. Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.
62. Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala.
63. (Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda.
64. Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu.
65. Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi.
66. Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza.
67. Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira.
68. Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi.
69. Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima.
70. Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.
71. Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza.
72. Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu.
73. (Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa.
74. Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka e nsalo.
75. Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Firawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi.
76. Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu.
77. Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero).
78. Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza.
79. Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu.
80. Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala.
81. Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi.
82. Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde.
83. Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi.
84. Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda).
85. (Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi.
86. Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaakaafuwala.
87. Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza.
88. Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa).
89. (Katonda) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda).
90. Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse.
91. (Firawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi.
92. Kale nno olwa leero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe).
93. Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu.
94. Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammad) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa.
95. Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa e bigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa.
96. Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza.
97. Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma.
98. Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe.
99. Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza.
100. Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Katonda, era Katonda assa ekibi ku abo abatategeera.
101. Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza.
102. Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira.
103. Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza.
104. Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza.
105. Era tereera mu ddiini ya Katonda n'goli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta e bintu e birala ku Katonda.
106. Tolekanga Katonda n'osaba e kintu e kirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi.
107. Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.
108. Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe.
109. Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna.