ﯫ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda omufuzi wa buli kintu, omutukuvu mu buli kimu, nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo.
2. Yye yooyo eyatuma eri abo abataamanya kusoma na kuwandiika omubaka (Muhammad) nga ava mu bo ng'abasomera e bigambo bya Katonda era nga abatukuza (okubajja mu bukafiiri) era nga abayigiriza ekitabo (Kur'ani) n'ebiva mu Hadith so nga oluberyeberye (nga Nabbi tannatumwa) baali mu bubuze obw'olwatu.
3. Era yamutuma n'eri abalala nga ba mu bo, naye nga balijja luvannyuma lwabwe (nabo be basiramu abalala bonna abakkiriza Nabbi Muhammad abataamulabako okutuusiza ddala ku lunaku lw'enkomerero) era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo.
4. Ebyo bye birungi bya Katonda byawa oyo gwaba ayagadde. Mazima Katonda ye nannyini birungi ebisukkulumu.
5. Ekifaananyi kyabo abaaweebwa Taurat ne batagikozesa, balinga endogoyi ey'etikka ebitabo (nga tesobola kwe gasa nabiri mu bitabo ebyo), kibi nnyo ekifaananyi ekyo, ekyabo abalimbisa ebigambo bya Katonda. Bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
6. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abayudaaya bwe muba nga mweyita abaagalwa ba Katonda (mwe mwekka) so ssi abantu abalala, kale nno mwegombe okufa bwe muba nga muli ba mazima.
7. Tebagenda kwe gombera ddala kufa, olwebyo byebaakola. Bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi.
8. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima okwo okufa kwe mudduka kwakubatuukako, oluvanyuma muzzibwe eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabika. Ate nno olwo alyoke abategeeze ebyo byonna bye mwali mukola.
9. Abange mmwe abakkiriza, bwe baaziinanga olw'esswala (ye jjuma) ku lunaku lwe jjuma, mwanguwenga okugenda eri okwogera ku Katonda, ate muyimirize emirimu. Ekyo kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi.
10. E sswala bweggwa, olwo nno mugende mu nsi munoonye ebigabwa bya Katonda, mwogere nnyo ku Katonda mulyoke mwesiime.
11. Bwe balaba ebyo busuubuzi, oba ebya masanyu, banguwa okugenda gyebiri ne bakuleka nga oyimiridde. Bagambe nti ebya Katonda bye birungi okusinga ebya masanyu n'obusuubuzi, ate nga Katonda yaasinga abagabi bonna.