ترجمة سورة الإسراء

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الإسراء باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Musukkulumu nnyo oyo eyatambuza omudduwe ekiro okumuggya ku muzikiti ogw'emizizo (Makkah) naagenda ku muzikiti ogusinga okuba ogw'ewala (Jerusalemu), ogwo ebitundu ebigwetoolodde bye twawa omukisa, olwo nno tumulage obumu ku bubonero bwaffe. Mazima yye (Katonda) y'awulira ennyo alaba.
2. Era twawa Musa ekitabo era netukifuula eky'okulungamya eri abaana ba Israil (nga mbagamba) nti nga oggyeko nze temweteerangawo omukuumi omulala yenna.
3. (Abange mmwe) ezadde ly'abo be twatwala ne Nuhu mu lyato (mubeere nga Nuhu), mazima ye yali muddu eyeebaza.
4. Era twasalawo ku baana ba Israil mu kitabo nti mugenda kwonoonera ddala mu nsi emirundi ebiri, era mugenda kwe kuluntaza olwekuluntaza oluyiritivu.
5. Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa.
6. Oluvanyuma twabaddiza mmwe amaanyi ku bo (nemubawangula) era netubawa emmaali, n'abaana era netubafuula mmwe nga mwe musinga obungi.
7. (Netubagamba nti) bwe mulongoosa mulongoseza myoyo gya mmwe, naye bwe mwonoona era gye mwonoonera, endagaano y'enkomerero bwelijja (tulibasindikira abantu) boonoone ebyenyi bya mmwe (babakkakkanye), era bagenda kuyingira omuzikiti (Jerusalemu) nga bwe baaguyingira omulundi ogwasooka, olwo nno bye baliba bawangudde babibetente olubetenta.
8. Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama omulabirizi wa mmwe okubasaasira, naye bwe muddamu naffe nga tuddamu, ate nga omuliro Jahannama twagufuula ekkomera lya bakaafiiri.
9. Mazima Kur’ani eno erungamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu.
10. Era nti mazima ddala abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabagerekera ebibonerezo ebiruma ennyo.
11. Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu ayanguyiriza.
12. Era twassaawo ekiro n'emisana, nga bubonero bubiri, olwo nno tujjawo akabonero k'ekiro netussaawo akabonero k'emisana, nekabasobozesa okulaba mulyoke musobole okumanya ebigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe, era musobole okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, era buli kintu twakinnyonnyola olunnyonnyola olumala.
13. Era buli muntu twamukakasaako emirimugye mu nsingoye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule.
14. Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabokyo, kimala bumazi okuba nti olwa leero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala.
15. Oyo yenna alungama alungamira mwoyogwe, ate abula omwoyogwe gwaba aleetedde obuzibu bw'okubula, tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kyonoono kya mwoyo mwonoonyi mulala, era tetusobola kubonereza okugyako nga tutumye omubaka.
16. Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula.
17. Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuhu (nga mingi!), Mukama omulabiriziwo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo bya baddube, okuba nti amanyidde ddala alaba.
18. Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Katonda).
19. Ate omuntu ayagala enkomerero era naakola ebyetaagisa ku yo, era nga mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa.
20. Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi).
21. Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi.
22. Katonda tomussangako ba katonda balala, olwo nno nekikufuula avumirirwa aboolebwa.
23. Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.
24. Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.
25. Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.
26. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.
27. Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe.
28. Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu.
29. Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.
30. Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.
31. Era temuttanga abaana ba mmwe olw'okutya obwavu (okubalumba), ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi kiyitirivu.
32. Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi.
33. Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).
34. Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okugyako lwa kugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwasajjakula.Era mutuukirizenga endagaano mazima endagaano yaakukubuuzibwa.
35. Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo kye kirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi.
36. Tewessanga ku kintu kyotalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima. Ebyo byonna buli kimu kigenda kubuuzibwa.
37. Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu.
38. Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa ewa Mukama omulabiriziwo.
39. Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda.
40. (Abange mmwe abatakkiriza), Mukama omulabirizi wa mmwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate yye neyeewa abawala mu ba Malayika! mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo.
41. Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima).
42. Bagambe (Ggwe Muhammad) singa Katonda aliko ba katonda abalala nga bwe bagamba, olwo nno (ba katonda abo) bandibadde beetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) nnyini Arish.
43. Yeesamba naasukkuluma ebyo bye bagamba olusukkuluma olusuffu.
44. Ku lulwe eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendobye naye temutegeera ngeri ya kutendereza kwabyo, mazima yye bulijjo alumirwa musonyiyi.
45. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.
46. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.
47. Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge.
48. Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi nebatuuka okubula nebatasobola kulaba kkubo (libazza eri amazima).
49. Era bagamba nti bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) netufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya!.
50. Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa).
51. Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi.
52. (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono.
53. Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu.
54. Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bwayagala abasaasira, oba bwaba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okola ku nsonga zaabwe.
55. Era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa ba Nabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nabbi) Dauda Zaburi.
56. Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala
57. Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa.
58. Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo.
59. Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okugyako okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamud engamiya nga kyamagero eky'olwatu, nebeeyisa bubi ku yo, era tewali kituweerezesa byamagero okugyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu).
60. Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama omulabiriziwo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era tetwaleeta ndooto eyo gye twakulaga okugyako olw'okugezesa abantu era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kur’ani nakyo kigezo era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku lunaku lw'enkomerero naye tebibongera okugyako okubula okuyitirivu.
61. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okugyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire oyo gwe watonda mu ttaka!.
62. Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo.
63. Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu.
64. Era sikiriza n'eddoboozilyo oyo yenna gwoba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggyeryo eryembalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli kyoyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okugyako ebigayaaza.
65. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi.
66. Mukama Katonda wa mmwe yooyo abatambuliza amaato mu nyanja musobole okunoonya ebimu ku bigabwabye, mazima yye ku mmwe musaasizi nnyo.
67. Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi.
68. Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna.
69. Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola.
70. Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.
71. (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono.
72. Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo.
73. Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe.
74. Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali.
75. Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.
76. Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono.
77. Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe.
78. Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako.
79. Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa.
80. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira.
81. Era gamba nti amazima gazze obwonoonefu nebuvaawo, mazima obwonoonefu buba bwakuvaawo.
82. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.
83. Bwetuwa omuntu ebyengera (mu kifo ky'okwebaza) atuvaako neyeefaako yekka, so nga akabi bwe kamutuukako akutuka n'okusuubira.
84. Bagambe nti buli omu akolere ku ngeriye, Mukama omulabirizi wa mmwe y'asinga okumanya, ali ku kkubo eddungamu.
85. Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono.
86. Era singa tuba twagadde tusobola okukuggyako ebyo bye twakutumira, ate toyinza kufuna olw'ebyo kuffe muwolereza.
87. (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu.
88. Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.
89. Mazima twannyonnyola abantu mu Kur’ani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi bagaana (okugyako okusigala) mu bukafiiri.
90. Era nebagamba nti tetugenda kukkiriza okugyako nga otufukumulire amazzi okuva mu ttaka.
91. Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende ne Nzabibu. Olwo nno noofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula.
92. Oba otusuuleko eggulu nga bwogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Katonda ne ba Malayika tubalabe maaso ku maaso.
93. Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka!.
94. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka.
95. Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.
96. Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube.
97. Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.
98. Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya ebigambo byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba engumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa netutondebwa bupya!.
99. Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri.
100. Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza.
101. Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Israil (ebyaliwo) mu kiseera weyabajjira (aba Misiri), Firawo naamugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga ggwe oli mulogo.
102. (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde.
103. Olwo nno (Firawo) yayagala okubagoba mu nsi (Misiri), twamuzikiriza n'abo abaali naye.
104. Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Israil mutuule mu nsi (eye Sham), endagaano y'olunaku lw'enkomerero bwelituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya.
105. (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.
106. Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).
107. Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama.
108. Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.
109. Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.
110. Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.
111. Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza.
Icon