ﰡ
1. Alif Laam Raa, bino bigambo by'ekitabo ekyeyolefu.
2. Mazima ffe twakissa (ekitabo) nga kyakusoma nga kiri mu luwarabu mube nga mutegeera.
3. Ffe tukutegeeza ebyafaayo ebisinga obulungi nga tukozesa obubaka bwe twakussaako (nga nabwo) ye Kur’ani eno, newaakubadde nga mu kusooka wali mu batamanyi.
4. Jjukira Yusuf bwe yagamba Kitaawe nti: owange Taata mazima nze nnaloose emmunyeenye kumi n'emu, n'omwezi, n'enjuba nabirabye nga binvunnamidde.
5. (Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu.
6. Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga.
7. Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza.
8. Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu.
9. (Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo mwekomye okwagalwa Kitammwe, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu.
10. Omwogezi omulala mu bo naagamba nti temutta Yusuf wabula mumusuule wansi mu luzzi abamu ku batambuze bajja kumulonda, bwe muba nga muteekwa buteekwa okubaako kye mukola.
11. (Ebyo nga biwedde) baagamba nti owange Kitaffe lwaki totwesiga ku Yusuf ate nga naffe tumufaako!.
12. Mutuwe tugende naye enkya, asanyuke, era azannye era mazima ffe tujja kumukuuma.
13. (Yakub) naagamba nti mazima nze kimpisa bubi okuba nga mumutwala, era ntya omusege okumulya nga mmwe mumulagajjalidde.
14. Ne bagamba nti singa omusege gumala ne gumulya nga ate tuli bangi mazima ffe olwo tubeera tufaafaaganiddwa.
15. Bwe baagenda naye era nebassa kimu okumuteeka mu kinnya wansi mu luzzi, netumutumira nti mazima ddala ogenda okubategeeza ekigambo kya bwe kino nga bo tebakyakifaako.
16. Olwo nebadda ewa Kitaabwe olw'eggulo nga bakaaba (naye nga kwali kwekaabya).
17. Nebagamba nti owange Kitaffe mazima ffe twagenze netusindana mu kudduka netuleka Yusuf awabadde ebintu byaffe omusege negumulya, tojja kutukkiriza newaakubadde nga twogera mazima.
18. Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera.
19. Abatambuze nebajja ne batuma abakimira amazzi nassa endobo ye olwajigyayo (wansi mu luzzi bwati naalaba omulenzi), naagamba nti “Neesiimye neefunidde omulenzi” ne bamukukusa nga bamufudde kya maguzi. Katonda mumanyi nnyo ku ebyo bye baali bakola.
20. Nebamutunda omuwendo omutono, Dirihamu mbale bubazi, anti baali tebamwetaaga.
21. Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi.
22. Bwe yasajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya, era bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi.
23. (Ekyo nga kiwedde) ate muka nnyinimu oyo mu nju mweyasulanga naamwegwanyiza naggala enzigi, naamugamba nti “nzuno nkwewadde”. (Yusuf) naagamba nti: “nsaba obukuumi bwa Katonda”, ekituufu kiri nti Mukama wange (balo) ampisizza bulungi (siyinza kukikola) mazima anti abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
24. Mazima (omukyala) yamwegomba ne (Yusuf) namwegomba (omukyala), naye singa (Yusuf) teyalaba kabonero ka Mukama omulabiriziwe (yandigudde mu nsobi) twakola bwe tutyo tube nga tumuwugulako obwonoonefu n'obuwemu, anti mazima ye wa mu baddu baffe abasengejje.
25. Nebagobagana nga badda ku mulyango, (mu mbeera eyo) omukyala naayuza ekyambalo (kya Yusuf) emabega, nebasanga bba (w'omukyala) ku mulyango, omukyala naagamba nti kibonerezo ki ekisaanira okuweebwa omuntu ayagala okukola ku mukyalawo ekivve,okugyako okuba nga asibwa oba okumussaako e kibonerezo ekiruma?.
26. (Yusuf) naagamba nti ye yanneegwanyizza, omu ku bantu bo mu nyumba y'omukyala naawa obujulizi nti ekyambalokye (Yusuf) bwe kiba kiyuziddwa mu maaso gaakyo, omukyala yaanaaba ayogedde amazima ate yye (Yusuf (naaba ow'omu balimba.
27. Naye ekyambalokye (Yusuf) bwe kinaaba nga kiyuziddwa mabega (omukyala) anaaba alimbye, olwo nno ye naabeera mu ba mazima.
28. (Olwo bba w'omukyala) bwe yamala okulaba ekyambalokye nga kiyuziddwa mabega kwe kugamba nti “ezo nkwe zammwe (mwe abakyala) anti mazima bulijjo enkwe za mmwe za kabi nnyo.
29. Gwe (Yusuf) bino biveeko (tobinyega) ate ggwe weetonde olw'ekibikyo, mazima ddala ggwe obadde mu basobya.
30. Abakyala bo mu kibuga nebagamba nti Muka omukulu yeegwanyizza omuweerezaawe! mazima okwagala kumumazeemu, mazima ffe ye tumulaba nga ali mu bubuze obweyolefu.
31. Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa.
32. Omukyala naagamba nti oyo nno yooyo gwe mubadde munnenyeza. Yye, kituufu namwegwanyizza naagaana, wabula bwataakole ekyo kye mmulagira aggya kusibirwa ddala era abeere mu banyomebwa.
33. (Yusuf) naagamba nti: Ayi Mukama omulabirizi wange ekkomera lyenjagala okusinga ekyo kye bampitira, bwotamponye nkwe zaabwe nja kugwa mu mitego gya bwe, era mbe mu batategeera.
34. Awo nno Mukama omulabiriziwe naamwanukula naamuwugulako enkwe zaabwe anti mazima yye awulira nnyo mumanyi nnyo.
35. (Bwe baamala okutunula mu bujulizi) kyabalabikira nga balina kumusiba okumala ekiseera.
36. Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa.
37. (Yusuf) naabagamba nti emmere gye muweebwa tejja kubatuukako okugyako nga mmaze okubavvuunulira (buli omu ekirootokye) nga tennaba kubatuukako, ekyo nno mmwe kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yanjigiriza, anti mazima nze nayawukana n'ekibiina ky'abantu abatakkiriza Katonda, nga era bo bawakanya olunaku lw'enkomerero.
38. Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Katonda bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza.
39. (Yusuf naabagamba nti) abange mmwe abasibe ababiri, ba katonda ab'enjawulo be balungi okusinga Katonda omu nantalemwa?.
40. Bye musinza ne muleka Katonda, tebirina kye biri okugyako okuba amannya obunnya ge mwatuuma mmwe ne bakadde ba mmwe. Katonda tabissangako bujulizi bwonna, ate nga okusalawo kwonna tekuli okugyako mu mikono gya Katonda (ate nga) yalagira mube nga temusinza okugyako ye yekka eyo nno y'eddiini ennambulukufu, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi.
41. Abange mmwe abasibe ababiri, yye, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate yye, omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza.
42. (Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera.
43. (Lumu) Kabaka naagamba nti mazima nze naloose nga ndaba ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gye nte musanvu, era nendoota ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebikoola musanvu ngabikaze, abange mmwe abakungu munnyinnyonnyole endooto yange bwe muba nga mumanyi okuvvuunula amakulu g'ebirooto.
44. Nebagamba nti: okwo kulogojjana kwa birooto ate ekirala tetumanyi kuvvuunula birooto.
45. Omu ku basibe ababiri eyawona (e kkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume.
46. (Bwe yatuuka mu kkomera) naagamba nti Yusuf owange ggwe omwogera mazima tubuulire amakulu g'ekirooto nga ente musanvu engevvu nga ziriibwa emigogge gy'ente musanvu, ebirimba musanvu ebyakiragala n'ebirala musanvu bikalu, olwo nno nzire eri abantu mbabuulire babe nga bamanya.
47. Yusuf naagamba nti mujja kulimira emyaka musanvu egiddiringanye, bye munaakungula mubireke mu birimba byabyo okugyako bitono ebyo bye munaalya.
48. Oluvanyuma lw'ekyo, wajja kujja emyaka musanvu egy'obuzibu egiggya okumalawo byonna bye mwagiterekera okugyako ebitono ennyo bye mulisalawo bisigalewo (nga nsigo).
49. Oluvanyuma lw'ebyo wagenda kujjawo omwaka abantu mwebalinywesebwa era mu mwaka ogwo balisobola okusogola ku mubisi.
50. Kabaka naagamba nti: mumundeetere, gwebaatuma bwe yamala okumutuukako (Yusuf) naagamba nti ddayo ewa Mukamaawo omubuuze ebikwata ku bakyala abo abeesala engalo, mazima Mukama omulabirizi wange amanyidde ddala ebikwata ku nkwe zaabwe.
51. (Kabaka) yagamba (abakyala abo nti) kiki ekyabatuusa kukwegwanyiza Yusuf, nebagamba nti amazima ga Katonda tetumumanyangako kibi kyonna, muka omukulu naagamba nti kaakati amazima geeyolese nze namwegwanyiza era mazima yye wa mu bantu aboogera amazima.
52. (Yusuf naagamba nti ekyo kyali bwekiti Kabaka) asobole okumanya nti nze sigezangako kumukumpanya nga taliiwo, bulijjo Katonda talungamya nkwe za bakumpanya.
53. Era sseetukuza mazima omwoyo (gw'omuntu) gulagira nnyo okwonoona, okugyako oyo Mukama omulabirizi wange gwaba asaasidde anti mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.
54. Kabaka naagamba nti mumundeetere, mwekomye, bwe yamala okwogera naye (Kabaka) naagamba nti mazima ggwe okuva olwa leero oweereddwa obuvunaanyizibwa era oli mwesigwa.
55. (Yusuf) naagamba nti (bwe kiba bwe kityo) mpa obuyinza ku mawanika g’omunsi (eno Misiri) mazima nze nsobola obuwanika era omumanyi ennyo.
56. Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi.
57. Empeera y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abakkiriza ne baba nga batya Katonda.
58. Awo nno baganda ba Yusuf bajja ne bayingira we yali era n'abamanya nga ate bo tebamutegeera.
59. Bwe yamala okubategekera bye banaatwala, naagamba nti lwe mulidda mundeeteranga muganda wa mmwe mu Kitammwe temulaba nti mazima nze ntuukiriza ebipimo era nze nsinga okuyisa obulungi abagenyi!.
60. Bwe mutalimundeetera temugenda kupimirwa mmere okuva gyendi era temunsembereranga.
61. Nebagamba nti tujja kusaba Kitaawe amutuwe era mazima ddala ffe tugenda kukikola.
62. (Yusuf) naagamba abavubuka be nti musse sente zaabwe mu migugu gya bwe banaakimanyira eyo nga batuuse kibenga kibasikiriza okudda.
63. Bwe baddayo ewa Kitaabwe, baagamba nti owange Kitaffe tugaaniddwa okupimirwa (emmere omulundi omulala bwe tutagenda ne Beniyamini) kale tukkirize tugende ne Muganda waffe tube nga tupimirwa era mazima ddala ffe tugenda kumukuuma.
64. Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna.
65. Bwe baasumulula emigugu gya bwe (nga batuuse ewaabwe) ne bagwa ku sente zaabwe nga zibaddiziddwa ne bagamba nti owange Taata ate kiki ekirala kye twagala, sente zaffe ziizino zituddiziddwa, kye tulina okukola kuleetera bantu baffe mmere, era Muganda waffe tujja kumukuuma, olwo nno tuddeyo tweyongere ekipimo eky'etikkibwa engamiya, era ekyo ekipimo kyangu nnyo okufuna.
66. Yakub naagamba nti sijja kumubawa kugenda naye okutuusa nga mumpadde obweyamo eri Katonda nti mazima ddala mujja kumunkomezaawo, okugyako nga mwetooloddwa (ne mutasobola kumutaasa). Bwe baamala okumuwa obweyamo bwa bwe naagamba nti Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.
67. Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga.
68. Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.
69. Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga.
70. Bwe yamala okubategekera bye batwala yassa ekisena mu mugugu gwa Muganda we, olwo nno omulangirizi naalangirira nti, abange mmwe abatambuze abagenda mazima ddala mmwe muli babbi.
71. Nebagamba nga boolekedde bali (ababagamba eby'obubbi) kiki ekibabuzeeko.
72. Nebagamba nti ekisena kya Kabaka tetukiraba era oyo yenna anaakireeta ajja kuweebwa empeera ey'etikkibwa e ngamiya, era ekyo nze nkyeyimiridde.
73. Nebagamba nti tulayira Katonda mazima mukimanyi tetwajja kwonoona mu nsi, (eno) era tetubangako babbi.
74. Nebabagamba nti kibonerezo ki (ekimugwanira) bwe munaaba abalimba?.
75. Nebagamba nti ekibonerezokye, oyo yenna ekisena kya Kabaka gwe kinaasangibwa mu mugugugwe ye y'anaafuuka omutango gwa kyo, (ewaffe) bwe tutyo bwe tubonereza abeeyisa obubi.
76. (Yusuf naayaza) nga atandikira ku migugu gya bwe nga tannatuuka ku mugugu gwa Mugandawe olwo naakijja mu mugugu gwa mugandawe, bwe tutyo bwe twayamba Yusuf naasalira bagandabe amagezi (anti) yali tayinza kusigaza mugandawe okusinziira ku nkola ya Kabaka (we Misiri) singa Katonda teyayagala, tusitula amadaala g'abo betuba twagadde era waggulu wa buli mumanyi waliyo omumanyi (asingako).
77. Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera.
78. Nebagamba nti owange ggwe Kamalabyonna mazima Biniyamini) aliko Kitaawe Musajja mukulu mukadde, kale mu kifo kye sigaza omu ku ffe, mazima tukutwala okuba nga oli mu bakozi b'obulungi.
79. (Yusuf) naagamba nti Katonda akisse wala okuba nga tukwata atali oyo gwe tukutte n'ebintu byaffe bwe kiba kityo olwo nno tuba balyazaamaanyi.
80. Bwe baamala okuba nga tebakyamulinamu ssuubi nebadda ebbali (begeyeemu), Mukulu waabwe naagamba nti temukimanyi nti Kitammwe yabaggyeko obweyamo eri Katonda ate nga oluberyeberye mulina engeri gye mutaayisaamu Yusuf bulungi, n'olwekyo sigenda kuva mu nsi eno okugyako nga Kitange anzikirizza oba Katonda nansalirawo. Era yye yaasinga abasalawo bonna.
81. Muddeeyo eri Kitammwe mumugambe nti: owange Kitaffe mazima Mutabaniwo yabba tetuwa bujulizi okugyako ku ekyo kye tumanyi, era tetubangako ba kalondoozi ku ebyo ebyekusifu.
82. Buuza abantu bo mu kitundu gye twali, obuuze n'ekibinja ky'abantu kye twaddiramu era mazima ddala ffe tuli b'amazima.
83. (Yakub) naagamba nti wabula emyoyo gya mmwe gyabayiiyirizza ekintu. okugumiikiriza kulungi, nina essuubi nti bonna Katonda agenda kubandeetera bonna. Mazima ddala y'amanyi ennyo era mugoba nsonga.
84. Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu.
85. Nebagamba nti amazima ga Katonda era okyajjukira Yusuf okutuusa lwokonzibye n'otuuka okubeera mu bagenda okufa!.
86. Naagamba nti mazima ebizibu byange ne nnaku yange mbiroopera Katonda era mmanyi okuva eri Katonda bye mutamanyi.
87. Abange baana bange mugende mugezeeko okunoonya ebifa ku Yusuf ne Mugandawe, temugwangamu ssuubi ku kusaasira kwa Katonda mazima tewali akutuka ssuubi na kususaasira kwa Katonda okugyako abantu abakaafiiri.
88. Bwe baayingira awaali Yusuf ne bagamba nti owange kamala byonna ekyeya kituli bubi ffe n'abantu baffe, ate bye twagala okuwaanyisaamu emmere bye tuleese ssi birungi, wabula ggwe tujjulize byotupimira era otusaddaakire (okkirize tugendere awo) mazima Katonda asasula abasaddaaka.
89. (Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira).
90. Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi.
91. Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya.
92. Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna.
93. Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna.
94. Ekibinja (kyabwe) bwe kyamala okuva (Emisiri) Kitaabwe naagamba nti mpulira akawoowo ka Yusuf singa si kutya nti munamputtawaza.
95. Nebagamba nti tulayira Katonda mazima ggwe oli mu bubuzeebwo obw'edda.
96. Eyaleeta amawulire ag'esssanyu bwe yatuuka, (ekyambalo) yakissa ku kyenyikye (ekya Yakub) awo wennyini naddamu okulaba. (Yakub) naagamba nti saabagamba nti mmanyi okuva ewa Katonda ebyo bye mutamanyi.
97. Nebagamba nti owange Kitaffe tusabire Katonda atusonyiwe ebyonoono byaffe mazima twali basobya.
98. Naagamba nti nja kubasabira Mukama omulabirizi wange abasonyiwe, mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.
99. Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde.
100. Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga.
101. Ayi Mukama omulabirizi wange mazima ompadde kyompadde mu bufuzi era nommanyisa okuvvuunula endooto, (ggwe) omutonzi w'eggulu omusanvu ne nsi, ggwe mukuumi wange ku nsi ne ku nkomerero. Nzita nga ndi musiraamu onteeke mu bakozi b'obulungi.
102. Ebyo nno bye bimu ku bigambo ebyekusifu bye tukutumira (ggwe Muhammad) era tewali nabo bwe bassa ekimu nga bakola olukwe.
103. Abantu abasinga obungi ne bwolulunkana otya tebayinza kubeera bakkiriza.
104. Sso ate tobasaba mpeera (ku kyobalungamya) tekiri (kyokola) okugyako okujjukiza eri ebitonde.
105. Obubonero bumeka mu ggulu omusanvu n'ensi bwe bayitako nga bbo tebabufaako.
106. Abasinga obungi mu bo tebakkiriza Katonda okugyako nga era bamugattako ebintu ebirala.
107. Abaffe baafuna obukakafu okuba nti tebayinza kujjirwa kibonerezo ky'amaanyi okuva ewa Katonda oba olunaku lw'enkomerero nerubatuukako kibwatukira nga nabo tebategedde.
108. Gamba nti: lino ly'ekkubo lyange nkowoola abantu okujja eri Katonda, nze n'abangoberera tukola ekyo nga tusinziira ku kulungamizibwa, era Mukama Katonda yasukkuluma, era nze siyinza kubeera mu bamugattako kintu kirala.
109. Tetwatumako oluberyeberye lwo okugyako basajja nga tubawa obubaka nga bantu ba mu bitundu ebyo (bye baatumwamu) abafffe tebatambula mu nsi ne balaba, yali etya enkomerero y'abo abaabasooka, e nyumba y'enkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera!.
110. (Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa.