ﮤ
surah.translation
.
ﰡ
1. (Eno) ssuula twagissa ne tugikakasa (okukozesa amateeka agagirimu) netussa mu yo ebigambo ebinnyonnyofu mube nga mujjukira.
2. Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja buli omu ku bo mumukube emiggo kikumi, ekisa tekibakwatanga ku lwa bwe bombi, nga muli mu kutuukiriza e ddiini ya Katonda, bwe muba nga mukkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, ekibinja mu bakkiriza kiteekwa okubaawo nga babonerezebwa.
3. Omusajja omwenzi tawasa okugyako omukazi omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okugyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, era ekyo kyaziyizibwa ku bakkiriza.
4. N’abo abatemerera abakyala ab'ensa obwenzi ate ne bataleeta bajulizi bana mubakube emiggo kinaana era lubeerera temuddangayo okukkiriza obujulizi bwa bwe era abo be boonoonyi.
5. Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola e mirimu emirungi. Anti mazima Katonda musonyiyi musaasizi.
6. Ate abo abawaayiriza be baafumbiriganwa nabo obwenzi ate nga tebalina bajulizi okugyako bo bennyini, kale nno obujulizi bw'omu ku bo kwe kulayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima yye wa mu boogera amazima.
7. Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima ekikolimo kya Katonda kibe ku ye bwaba nga wa mu balimba.
8. Olwo nno omukyala ne bamuggyako e kibonerezo bwalayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima oli byayogera bimussa mu balimba.
9. Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima obusungu bwa Katonda bube ku ye (bba) bwaba mu boogera amazima.
10. Singa si bulungi bwa Katonda bwabawa na kusaasirakwe (mwandisanze) obuzibu mu kusalawo ensonga) era mazima Katonda akkiriza okwenenya mugoba nsonga.
11. Mazima abo abaaleeta ebigambo eby'obulimba (ne batemerera Aisha obwenzi) bamu ku mmwe, temukitwala nti kibi gye muli wabula kirungi gye muli, buli omu ku bo ateekwa okufuna empeera y'ekibi kye yakola, ate oyo eyakikulembera mu bo waakufuna ebibonerezo e bikakali.
12. Singa bwe mwakiwulira abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala beerowooleza bulungi, era ne bagamba nti kuno kutemerera okw'olwatu.
13. Singa baakireetako abajulizi bana naye kebataaleeta bajulizi olwo nno abo bbo ewa Katonda be balimba.
14. Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa ku nsi ne ku nkomerero olw'ebyo bye mweyingizaamu mwalituukiddwako ebibonerezo ebikakali.
15. Mu kiseera wemwabisaasaanyiza ne nnimi za mmwe ne mwogera n'emimwa gya mmwe bye mutaalinako kumanya, mwakitwala nga ekyangu naye nga ewa Katonda kinene.
16. Singa bwe mwakiwulira mwagamba nti tekitugwanira kwogera ku nsonga eno, wasukkuluma Mukama Katonda, kuno kutemerera okuyitirivu.
17. Katonda ababuulirira bulijjo obutaddayo kukola kintu nga kino bwe muba nga muli bakkiriza.
18. Era Katonda abannyonnyola amateeka. Era bulijjo Katonda amanyi nnyo ate nga mugoba nsonga.
19. Mazima abo abaagala ebikolwa eby'obuwemu okusaasaana mu bakkiriza, balina ebibonerezo ebiruma ennyo ku nsi ne ku nkomerero. Era Katonda amanyi ate mmwe temumanyi.
20. Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa (mwandituuseeko ebizibu naye nga bulijjo) mazima Katonda wa kisa musaasizi.
21. Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa olubeerera, teyanditukudde muntu yenna mu mmwe, naye mazima Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde mazima Katonda awulira mumanyi nnyo.
22. Abeeyisa obulungi mu ddiini era abagaziyizibwa mu byenfuna tebalayiranga obutawa ab'oluganda olw'okumpi n'abanaku n'abaasenguka olw'okuweereza mu kkubo lya Katonda. Basaana basonyiwe era balekere, abaffe (mmwe) temwagala Katonda kubasonyiwa era nga bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
23. Mazima abo abatemerera obwenzi abakyala ab'ensa abatalina musango abakkiriza, bakolimirwa ku nsi ne ku nkomerero era balissibwako ebibonerezo eby'amaanyi.
24. Ku lunaku ennimi zaabwe n'emikono gya bwe lwe biribawaako obujulizi olw'ebyo bye baakolanga.
25. Ku lunaku olwo Katonda agenda kubasasula mu bujjuvu empeera yaabwe ebasaanira, era bagenda kumanya nti mazima Katonda yye ye mazima owa nnamaddala.
26. Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (bebatemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.
27. Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga amayumba agatali mayumba gammwe okugyako nga musabye era ne mutoolera abantu baamu ssalaamu ekyo kye kirungi gye muli kibayambe mujjukire.
28. Bwe mutagasangamu muntu yenna temugayingiranga okutuusa nga mukkiriziddwa, bwe mugambibwanga nti muddeyo muddangayo, ekyo ky'ekisinga obutukuvu gye muli, Katonda byonna bye mukola abimanyidde ddala.
29. Temulina musango bwe muyingira e nyumba ezitaliimu bantu ng'ate mulimu bye mwetaaga. Bulijjo Katonda amanyi bye mwoleesa ne bye mukweka.
30. Gamba abakkiriza bakkakkanye ku maaso ga bwe, era bakuume obwereere bwa bwe, ekyo kye kisinga obutukuvu gye bali, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
31. Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi.
32. Mufumbize mu mmwe abatali bafumbo, nabwekityo mufumbiriganye abalongoofu mu baddu ba mmwe n'abazaana ba mmwe, bwe baba baavu Katonda ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye bulijjo Katonda mugazi (mu byalina) mumanyi nnyo.
33. Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Katonda lwabawa ekimala ekyetaago kya bwe nga aggya mu bigabwabye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu ba mmwe abo emikono gya mmwe egya ddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana ba mmwe okukola obwa malaaya (mu kikola mutya) ng'ate bbo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu byansi, oyo yenna abawaliriza mazima Katonda oluvanyuma lw'okubawaliriza musonyiyi musaasizi.
34. Era mazima twassa gye muli ebigambo (bya Kur'an) ebinnyonnyola, era (netussa) eby'okulabirako ebikwata ku abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe era ekyo nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.
35. Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu.
36. Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo.
37. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.
38. Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira.
39. Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe).
40. (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala.
41. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
42. Bwa Katonda obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era ewa Katonda y'eri obuddo.
43. Abaffe tolaba nti mazima Katonda atambuza ebire bwamala naabikungaanya wamu oluvanyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gwaba ayagadde ate n'aguwonya oyo gwaba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kumpi kizibe amaaso (g'abantu).
44. Katonda akyusakyusa emisana n'ekiro, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abalina amaaso.
45. Katonda yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
46. Mazima twassa obubonero obunnyonnyola, bulijjo Katonda alungamya gwaba ayagadde ku kkubo eggolokofu.
47. (Abannanfusi) bagamba nti tukkirizza Katonda n'omubaka era ne tugonda ate ekitundu ku bo ne kyekyusa oluvanyuma lw'ekyo, era abo si bakkiriza.
48. Bwe bayitibwa okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati wa bwe ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bakyawukanako.
49. Bwe kiba nga amazima gali ku ludda lwa bwe bajja gyali (Nabbi) nga bagonvu.
50. (Ekibakozesa ekyo) abaffe mu mitima gya bwe mulimu obulwadde oba babuusabuusa (obwa Nabbi bwe), oba batya Katonda n'omubaka we okubasaliriza, si bwekiri abo bbo be beeyisa obubi.
51. Mazima kyalibadde ekigambo kya bakkiriza (kye bandigambye) wonna we babayitira okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati waabwe bandigambye tuwulidde era netugonda era abo bbo be b'okutuuka ku buwanguzi.
52. Oyo yenna agondera Katonda n'omubakawe n'atya Katonda ne yeeyisa nga Katonda bwayagala abo bbo be bawanguzi.
53. Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro bya bwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.
54. Bagambe nti: mugondere Katonda era mugondere omubaka, bwe bagaana mazima (Nabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulungama, era omubaka tabanjibwa okugyako okutuusa obubaka okw'olwatu.
55. Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza mu mmwe ne bakola e mirimu emirongoofu nti ajja kubawa obuyinza mu nsi, nga bwe yawa abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe era nti ajja kubanywereza e ddiini yaabwe eyo gye yabasiimira, era oluvanyuma lw'okuwangalira mu kutya ajja kubawaanyisizaamu emirembe, babe nga bansinza nga tebangattako kintu kirala kyonna, oyo yenna akola ekimenya amateeka oluvanyuma lw'ekyo abo nno bo be boonoonyi.
56. Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.
57. Abo abaakaafuwala tosuubira nti bayinza okulemesa (Katonda) mu nsi, obuddo bwa bwe muliro era buddo bubi ddala.
58. Abange mmwe abakkiriza bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gya mmwe egya ddyo, n'abo abatannaba kutuuka myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) e sswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’e sswala ya Isha, (ebyo) biseera bya mmwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwena wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoololeramu ng'abamu musisinkana ba nnammwe, bwatyo (Katonda) bwa bannyonnyola e bigambo anti bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
59. Abato mu mmwe bwe batuuka e myaka gy'obukulu bateekwa okusaba okukkirizibwa okuyingira nga bwe basaba abo abakulembedde, bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambobye, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
60. N'abannyuka eby'obufumbo mu bakyala abo abatakyalina ssuubi mu kufumbirwa, tebalina kabi obuteebikkirira naye nga tebegyagyama na bya kwenyiriza, era okwessaamu ensa kye kisinga obulungi gye bali, era bulijjo Katonda awulira nnyo mumanyi.
61. Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bbo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda ba mmwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga ba kitammwe abato oba mu maka ga ba senga mmwe, oba mu maka ga ba kojjammwe oba mu maka ga ba maama ba mmwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwa mmwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawudde yawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Katonda. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambo (bye) mulyoke mutegeere.
62. Mazima abakkiriza beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe era bwe baba naye ku nsonga ebakwatako bonna tebayinza kuvaawo okugyako nga bamaze kumusaba, mazima abo abakusaba okubakkiriza bagende, abo beebo abakkiriza Katonda n'omubakawe, kale bwe baba bakusabye olw'ezimu ku nsonga zaabwe wa olukusa oyo gwoba oyagadde mu bo era osabe Katonda abawe ekisonyiwo, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
63. Temufuulanga engeri gye mukoowoola omubaka nga engeri gye mwekoowoolamu mwekka na mwekka, mazima Katonda amanyi abo abeemulula mu mmwe nga bebbirira, abo abaawukana ku kigambokye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo.
64. Abange, mazima bya Katonda yekka ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima amanya ekyo kye mubaako era amanyi olunaku lwe baliddizibwa gyali olwonno abategeeze bye bakola era Katonda amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.