ترجمة سورة الحشر

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الحشر باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo.
2. Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga.
3. Singa tekyali nti Katonda yabasalirawo ku bawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro.
4. Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza.
5. Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi.
6. Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna.
7. Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza.
8. Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima.
9. Abatuuze b'e Madinah abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala.
10. Naabo abajja oluvanyuma lwabwe babasabira nga bagamba nti ayi Katonda tusonyiwe ne baganda baffe abaatukulembera mu bukkiriza, era tossa mu mitima gyaffe nsaalwa yonna eri abo abakkiriza. Ayi Katonda waffe gwe musaasizi oweekisa ekingi.
11. Abaffe tolaba (ggwe Nabbi Muhammad) abananfunsi abagamba bannabwe abaakafuwala mu bayudaaya nti singa munaaba mugobeddwa naffe tujja kugenda nammwe. Era tetulikkiriza kigambo kyamuntu yenna ku bikwata ku mmwe. Era bwemulirwanyisibwa tugenda kubataasa. Ne Katonda akakasa nti mazima ddala baali balimba.
12. Wabula singa (abayudaaya) bagobwa, abananfunsi tebagenda nabo. Ate ne bwebaba balwanyisiddwa tebabataasa. So nga ne bwebaba bagezezzaako okubataasa babaddukako, n'oluvanyuma nebatafuna kutaasibwa kwonna.
13. (Abakkiriza), mwe mutiibwa mu mitima gyabwe okusinga bwe batya Katonda. Ekyo nno lwakuba nti bbo kibiina ky'abantu abatategeera.
14. (Abayudaaya n'abananfunsi) tebayinza kubalwanyisa nga bali wamu okugyako nga bali mu byalo ebiriko ebigo, oba nga bali mabega w'abisenge. Obulabe wakati waabwe bokka buyitirivu obalowooza okuba nti bali wamu, so nga emitima gyaabwe myawukamu. Ekyo nno lwakuba nti bo kibiina kyabantu abatategeera.
15. (Ba Banu Nadhiri) bafaanana naabo abaabakulembera e mabegako katono (Abakafiiri be Makkah abaawangulwa obubi ennyo ku lutalo lwe Badri) baaloza ku bukaawu bwe bikolwa byabwe (ku nsi) ate nga balinayo ebibonerezo ebiruma ennyo (ku nkomerero).
16. (Abananfunsi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde.
17. Enkomerero y'a bombi neeba nga ddala baakubeera mu muliro olubeerera, eyo nno y'empeera y'a beeyisa obubi.
18. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda, era omuntu atunule mu byategekedde olunaku lw'enkya. Bulijjo muteekwa okutya Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala buli kye mukola.
19. Temubeera nga abo abaava ku Katonda, ekyavaako okuba nga Katonda abeerabiza bye baali bateekwa okwekolera, abo nno be bonoonyi.
20. Abantu bo mu muliro tebenkana na bantu ba mu jjana, abo abaliyingira e jjana be bokwesiima.
21. Singa twassa Kur'ani eno ku nsozi wandizirabye nga zigonze, era nga zimerenguse olw'okutya Katonda. Ebifaananyi ng'ebyo tubikubira abantu bibasoboseze okufumitiriza (bategeere Katonda).
22. Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero.
23. Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako.
24. Yye Katonda, yooyo omutonzi, eyatandikawo ebitonde mu kubitonda nga talina kyalabirako, eyafaananya buli kintu nga bwa kyagala, alina amannya amalungi, buli ekiri mu ggulu n'ensi kimutendereza. Era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
Icon