ترجمة سورة الإنفطار

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الإنفطار باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu.
2. N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana.
3. N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde.
4. Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo).
5. Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo.
6. Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi.
7. Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya.
8. Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera.
9. Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero).
10. Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika).
11. Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa)
12. Bamanyi ebyo byonna byemukola.
13. Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera.
14. Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu.
15. Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero).
16. Tebagenda ku gwebulankanyako.
17. On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero).
18. Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo).
19. Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka.
Icon