ترجمة سورة مريم

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة مريم باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Kaaf Haa Yaa Ain Swad.
2. Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria.
3. Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama.
4. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba.
5. Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana.
6. Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange.
7. (Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa.
8. (Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge!.
9. (Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna.
10. (Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu).
11. Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo.
12. (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto.
13. Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda.
14. Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu.
15. Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu.
16. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba.
17. Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala.
18. (Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera).
19. (Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu.
20. Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya!.
21. (Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda).
22. (Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde.
23. Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako.
24. (Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala.
25. Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga.
26. Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero.
27. Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza.
28. Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya!.
29. (Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere.
30. (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi.
31. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.
32. Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu.
33. Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu.
34. Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa.
35. Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba.
36. Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu.
37. Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako.
38. Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu.
39. Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza.
40. Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa.
41. Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi.
42. Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.
43. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.
44. Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi.
45. Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane.
46. (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba.
47. Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa.
48. Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange.
49. Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi.
50. Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu.
51. Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi.
52. Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye.
53. Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi.
54. Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi.
55. Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe.
56. Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi.
57. Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu.
58. Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba.
59. Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira.
60. Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna.
61. (Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira.
62. Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo.
63. Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda.
64. Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira.
65. (Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana?.
66. Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu!.
67. Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna.
68. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.
69. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.
70. Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga.
71. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.
72. Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye.
73. Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi.
74. Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi.
75. Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu.
76. Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi.
77. Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana.
78. Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero).
79. Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza.
80. Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina.
81. Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi.
82. Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe.
83. Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira.
84. Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi.
85. (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi.
86. Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi.
87. Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi.
88. (Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana.
89. Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo.
90. Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose.
91. Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana.
92. Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana.
93. Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu.
94. Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala.
95. Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu.
96. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa.
97. Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya.
98. (Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo.
Icon