ترجمة معاني سورة الزخرف
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
2. Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu.
3. Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera.
4. Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi.
5. Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda).
6. Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka?.
7. Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga.
8. Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga).
9. Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
10. Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga).
11. Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) netuzza bugya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira).
12. Era yooyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era nabateerawo amaato n’ebisolo ebyawaka ebyo bye mwebagala.
13. Mube nga mutebenkera ku migongo gyazo, oluvanyuma musiime ekyengera kya Mukama omulabirizi wa mmwe wemuzituulirako, era mugambe nti, musukkulumu oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola.
14. Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama omulabirizi waffe.
15. Naye abatakkiriza bateeka ku Katonda abamu ku baddube (nti nabo ba Katonda), mazima omuntu mwewakanyi omweyolefu.
16. Oba mwebyo byatonda mweyasalawo okwegyira abawala ate mmwe naasalawo okubawa abalenzi.
17. So nga omu kubo bwaba aweereddwa amawulire nti afunye omwana agwa mu kiti kyabo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu.
18. Abaffe oyo akuzibwa ng’ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda!).
19. Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa.
20. Era bagamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okugyako bateebereza buteebereza.
21. Abaffe twabawa ekitabo oluberyeberye lwakino (ekikolwa kyabwe) balyoke babe nga kye bekwatako.
22. Wabula bagamba nti mazima ffe twasanga baganda baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe kwe tulungamira.
23. Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu bagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera.
24. Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newakubadde nga mbaleetedde ekirungamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde ba mmwe ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo.
25. Olwo nno netubabonereza, kale tunuulira enkomerero ya balimbisa yali etya.
26. Jjukira Ibrahim bwe yagamba kitawe n’abantu be, nti mazima nze neganye ebyo bye musinza.
27. Okugyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima yye yajja okunnungamya.
28. (Ibrahim) yakiteekawo nga kigambo ekyokusigalawo oluvanyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda).
29. Wabula nawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kur’ani) n’omubaka annyonnyola (amazima ago).
30. Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya.
31. Era nebagamba nti singa Kur’ani eno essiddwa ku musajja owekitiibwa ngava mu kimu ku bitundu ebibiri.
32. Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda, (obwa Nabbi nga bwe baagala) ffe tubagabanyiza ebibabeesaawo mu bulamu bwensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda kwe kusinga obulungi kwebyo byonna bye bakungaanya.
33. Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala gebalinnyirako (bonoonekere ddala).
34. Nga ne ku nyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (nakwo twanditaddeko ffeeza).
35. Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna tebiri okugyako okuba nga bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga enkomerero ewa Mukama omulabiriziwo, ya batya Katonda.
36. (Nooyo yenna eyesulubabba ebigambo bya Katonda (Kur’ani) tumuteerawo Sitane olwo nno neba nga ye mukwanogwe.
37. Era mazima bo bannaabwe (ba Sitane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balungamu.
38. Okutuusa (omuntu oyo eyesulubabba) lwalijja gyetuli aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana wakati we buvanjuba ne bugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi!.
39. Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka.
40. Abaffe ggwe (Muhammad) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo nooyo ali mu bubuze obweyolefu.
41. Singa tukugyawo (noofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima ffe tuba ba ku babonereza.
42. Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola.
43. Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu.
44. Era mazima yo (Kur’ani) kitiibwa gyoli neeri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu).
45. Buuza abo betwatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti, abaffe twaleka Katonda omusaasizi ennyo netuteekawo bu katonda obulala obusinzibwa!.
46. Mazima twatuma Musa n’obubonero bwaffe nti genda eri Falawo na bakungu be, olwo nno nabagamba nti mazima nze ndi mubaka w'omulabirizi w’ebitonde.
47. Wabula bwe yabajjira n’obubonero bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera.
48. Tetwabalaga kabonero konna okugyako nga kko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) netubatusaako ebibonerezo oba olyawo ne bekyusa (okuva ku kye babaddeko).
49. (Bwe balaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo tusabire Mukama omulabirizi wo ng’okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulungama.
50. Bwe twabagyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano.
51. Era Firawo nalangirira mu bantu be naagamba nti abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga nagino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba!.
52. Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo yye anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna.
53. Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda.
54. (Firawo) bwatyo bwe yazannyira ku bwongo bwa bantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo nebaba abantu abonoonyi.
55. Bwe bamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna.
56. Ne tubafuula abedda abogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma.
57. Mutabani wa Mariam (Issa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olwessanyu).
58. Nebagamba nti abaffe ba katonda baffe bebasinga oba yye, tebakukubira kifaananyi ekyo okugyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi.
59. (Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil.
60. Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde ba Malayika nga basikiragana mu nsi.
61. Era mazima yye (Isa) kabonero akaliranga okusembera kw'olunaku lw'enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu naakamu era mungoberere, lino lye kkubo eggolokofu.
62. Era Sitane tabasuuliranga emisanvu (mu kkubo) anti mazima yye ku mmwe mulabe owolwatu.
63. (Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere.
64. Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu.
65. Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi.
66. Abaffe (balina kye) balindirira okugyako ekiseera eky'enkomerero okuba nga kibajjira ekibwatukira nga nabo tebamanyi.
67. Abomukwano ku lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannabwe okugyako abatya Katonda.
68. (Era Katonda alilangirira nti) abange baddu bange temuggya kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala.
69. Abo abakkiriza ebigambo byaffe era nebaba abewaayo gyetuli (abasiramu).
70. Muyingire e jjana ne bakkiriza bannammwe nga mwegazaanya.
71. Essowani eza zzaabu n’a magiraasi biryetolozebwa mu bo, era (e jjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo.
72. Era eyo e jjana, eyo gye mugisikiziddwa olwebyo bye mwakola (ku nsi).
73. Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwemulya.
74. Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama.
75. Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu.
76. Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi.
77. (Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu).
78. Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima.
79. Bwebaba nga baasalawo ekigambo (ekyokusalira (Muhammad enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu).
80. Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula webabikolera) nabatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika.
81. Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera musaale mu bamusinza.
82. Mukama omulabirizi weggulu omusanvu ne nsi (era) omulabirizi wa Arish musukkulumu nnyo kwebyo bye bamujwetekako.
83. Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa.
84. Anti yye (Katonda) ye Katonda mu ggulu, era ne mu nsi ye Katonda. Era yye ye mugoba nsonga omumanyi ennyo.
85. Era yatukula oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era ye yekka yalina okumanya ebikwata ku lunaku lw'enkomerero (ddi lwelituuka) era gyali gye mulizzibwa.
86. Abo bebasinza nebava ku ye tebalisobola kuwolereza, be ppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (yaliyogera) ate era bo nebaba nga baliba bamanyi amazima.
87. Singa obabuuza nti ani yabatonda? ddala bajja kugamba nti Katonda, kale ate bawugulwa batya!.
88. (Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama omulabirizi wange mazima abo (benkowoola) bantu abatakkiriza.
89. Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balianya.