ترجمة معاني سورة القيامة
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira.
2. Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa.
3. Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage.
4. Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe.
5. Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona.
6. Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi.
7. Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya.
8. Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo.
9. Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana).
10. Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa!.
11. Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka.
12. Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo.
13. Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola.
14. Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda).
15. Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda.
16. Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza.
17. Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi.
18. Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo.
19. Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe.
20. (Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu.
21. Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero.
22. Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana.
23. Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo.
24. Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu.
25. Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi.
26. Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli.
27. Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya.
28. Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa.
29. Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe.
30. Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo.
31. Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala.
32. Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba.
33. Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga.
34. (Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi).
35. Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde.
36. Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala.
37. Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana.
38. Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu.
39. Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi.
40. Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu!.