ترجمة معاني سورة المعارج
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. "Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja.
2. Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako.
3. Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu.
4. Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi).
5. Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi.
6. Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala.
7. Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi.
8. Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse.
9. Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa.
10. Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we.
11. Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe.
12. Mukyalawe ne mugandawe.
13. N'ekika kye ekimukuuma.
14. Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda.
15. Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja.
16. Ogusiriiriza ddala eddiba.
17. Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima.
18. Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza".
19. Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube.
20. Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya.
21. Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo.
22. Okugyako abo abayimirizaawo e sswala.
23. Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera.
24. Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa.
25. Guweebwa abasabi n'abafuna mpola.
26. Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero.
27. Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe.
28. Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa.
29. Era abo abakuuma obwerere bwabwe.
30. Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo.
31. Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo.
32. Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe.
33. Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe.
34. Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu.
35. Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa.
36. Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa".
37. Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja.
38. Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera.
39. Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi.
40. Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala.
41. Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa.
42. Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa.
43. Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo.
44. Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa.