ترجمة سورة الرحمن

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الرحمن باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. (Katonda) omusaasizi ennyo.
2. Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.
3. Yatonda omuntu.
4. Yamuyizigiriza okunnyonnyola.
5. Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa).
6. Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda).
7. Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya.
8. Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya).
9. Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane.
10. N'ensi yagiteerawo ebitonde.
11. Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba.
12. N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo.
13. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
14. Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye.
15. Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro.
16. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
17. Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi.
18. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
19. Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana.
20. Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula.
21. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
22. Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo).
23. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
24. Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi.
25. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
26. Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo.
27. Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa.
28. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
29. Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe).
30. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
31. Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu).
32. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
33. Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi.
34. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
35. Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa).
36. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
37. Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse.
38. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
39. Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni.
40. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
41. Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro).
42. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
43. Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa.
44. Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya.
45. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
46. Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri.
47. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
48. Ezirimu amatabi agalanda.
49. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
50. Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta.
51. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
52. Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri.
53. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
54. (Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga).
55. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
56. Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana).
57. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
58. (Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo).
59. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
60. Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi.
61. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
62. Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri.
63. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
64. Eza kiragala omukwafu.
65. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
66. Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi.
67. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
68. Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga.
69. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
70. Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika.
71. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
72. Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema.
73. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
74. Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana).
75. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
76. Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo.
77. Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
78. Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa.
Icon