ترجمة سورة النازعات

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة النازعات باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe.
2. Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi.
3. Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga.
4. Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana.
5. Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange).
6. (Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa.
7. Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira).
8. E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya.
9. Amaaso gaabwe nga makkakkamu.
10. Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati?"
11. Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu?
12. Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa.
13. Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka.
14. Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi.
15. Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa?
16. Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa'?
17. N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi.
18. Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo)?
19. Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya?
20. (Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala.
21. (Firaawo) naalimbisa era n’ajeema.
22. Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa.
23. N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira.
24. Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu.
25. Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka.
26. Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda.
27. Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno!
28. (Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza.
29. Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo.
30. N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira.
31. Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo.
32. N’ensozi yazisimba n'azinyweeza.
33. (Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe.
34. Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero)
35. Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola.
36. Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba.
37. Oyo yenna eyasukka mu kujeema
38. N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero)
39. Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe.
40. Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi.
41. Mazima e jjana, bwe buddo bwe.
42. Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi.
43. Wa gy'onoggya okulwogerako?
44. Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako.
45. Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya.
46. Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya.
Icon