ترجمة سورة الحجر

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الحجر باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu.
2. Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu.
3. Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya.
4. Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa.
5. Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu).
6. Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu.
7. Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima.
8. (Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa.
9. Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma.
10. Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera.
11. Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga.
12. (Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo).
13. (Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa.
14. Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka).
15. Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge.
16. Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi.
17. Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
18. Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde.
19. N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero.
20. Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa.
21. Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo.
22. Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese.
23. Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo.
24. Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo.
25. Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya.
26. Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu.
27. N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo.
28. Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze.
29. Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira.
30. Olwo ba Malayika bonna nebavunnama.
31. Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama.
32. (Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami.
33. (Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu.
34. (Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda.
35. Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa.
36. (Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa.
37. (Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa.
38. Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira).
39. (Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna.
40. Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu.
41. (Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu.
42. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze.
43. Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna.
44. Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa.
45. Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta.
46. (Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna.
47. Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya).
48. Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu.
49. Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi.
50. Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo.
51. Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim.
52. Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde.
53. Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo.
54. (Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki?.
55. Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira.
56. Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze!.
57. Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa?.
58. Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi.
59. Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya.
60. Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye).
61. Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu.
62. (Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa.
63. Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa.
64. Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu.
65. Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa.
66. Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana.
67. Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo).
68. (Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza.
69. Era mutye Katonda temunswaza.
70. Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu!.
71. Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola.
72. (Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe.
73. Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo.
74. (Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye.
75. Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero.
76. Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba).
77. Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza.
78. Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi.
79. Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo).
80. Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh).
81. Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako.
82. Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe.
83. Okubwatuka nekubakwata nga bukya.
84. Ebyo bye baakolanga tebyabayamba.
85. Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi.
86. Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo.
87. Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna).
88. Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.
89. Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu.
90. Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda).
91. Abo abafuula Kur’ani ebiwayi.
92. Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala.
93. Ku ebyo bye baakolanga.
94. Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
95. Mazima ffe twakumalira abajeeja.
96. Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya.
97. Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera.
98. (Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama.
99. Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira.
Icon