ترجمة سورة النبأ

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة النبأ باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Beebuuzaganya ku ki?
2. Ku kigambo e kinene.
3. Ekigambo kye baawukaniramu ddala.
4. Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya.
5. Oluvanyuma nedda bajja kumanyira ddala.
6. Abaffe tetwabafuula e nsi e kyaliiro.
7. N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga).
8. Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja).
9. Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo.
10. Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo)
11. Ne tufuula emisana omunoonyezebwa eky’okubabeezaawo.
12. Ne tuzimba waggulu wa mmwe emyaliiro emigumu musanvu.
13. Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka.
14. Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka.
15. Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera (ebirala).
16. N’amalimiro amasaakaativu.
17. Mazima olunaku lw’okulamula lwaweebwa e kiseera e kigere.
18. Olwo Lwe lunaku e ngombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja.
19. N’eggulu ne liggulwawo ne libeerako e miryango.
20. N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo.
21. Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze.
22. Nga bwe buddo bw’abo abamawaggali eri Katonda.
23. Baakugubeeramu byeya na byeya.
24. Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza.
25. Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi.
26. Nga y’empeera ebasaanira.
27. Kubanga baali tebasuubira nti walibayo okubalibwa.
28. Ne balimbisa nnyo ebigambo byaffe.
29. So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu, mu buwandiike.
30. Kale mukombe ku kibabu ky'ebikolwa byammwe kubanga tetujja kubongera okugyako ebibonerezo.
31. Mazima abatya Katonda bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala).
32. Amalimiro n’emizabbibu.
33. N’abawala ab’amabeere amatutu.
34. N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa.
35. Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba.
36. Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza.
37. Oyo nanyini Ggulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye.
38. Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu.
39. Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we.
40. Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba ebyo emikono gye bye gyakola. Ku lunaku olwo omukaafiiri aligamba: ye nga zinsanze, singa nfuuse ettaka.
Icon