ترجمة معاني سورة النجم
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde.
2. Munammwe (Muhammad) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga.
3. Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe).
4. Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda).
5. Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu).
6. Nannyini busobozi eyeyoleka.
7. Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula.
8. Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi).
9. Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo.
10. Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu.
11. Emmeme (ya Nabbi Muhammad) teyalimba kwebyo bye yalaba.
12. Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba.
13. Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala.
14. Mu kifo awali awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa.
15. Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira).
16. Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka.
17. Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba).
18. Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene.
19. Abaffe mulaba Latta ne Uzza.
20. Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa).
21. Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu).
22. Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira.
23. (Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe.
24. Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa).
25. Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo).
26. Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima.
27. Mazima abo abatakkiriza nkomerero be bayita ba Malayika amannya ag’ekikazi.
28. Era nga tebakirinaako kumanya kwonna, tebagoberera okugyako okuteebereza ate nga ddala okuteebereza tekulina kye kugasa awali amazima.
29. N’olwekyo va kwoyo ayawukana nokubulirira kwaffe, naatayagala okugyako obulamu bw'ensi.
30. Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama.
31. Bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi (era yye ye nannyini mateeka kwe bikolera) olwo nno alisasula abo abayonoona olwebyo bye bakola era nga alisasula obulungi abo abalongoosa.
32. Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya.
33. Abaffe olabye oyo akyuka (naava ku mazima).
34. Era nawaayo katono bwamala ate nammira ddala.
35. Abaffe (ekimukozesa ekyo) lwakuba nti alina okumanya ebyekusifu, olwo nno naaba nga abiraba.
36. Oba tabuulirwanga ebyo ebiri mu bitabo bya Musa.
37. Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (bwe yalaganyisa Katonda).
38. (Ebyo ebigamba nti) tewali mwoyo gulyetikka kibi kya mulala.
39. Era nti omunu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera.
40. Era nti mazima okukola kwe kya ddaaki kulirabwa.
41. Oluvanyuma alikusasulwamu empeera esinga okuba enzijuvu.
42. Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu).
43. Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya.
44. Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu.
45. Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi.
46. Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu).
47. Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza).
48. Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza.
49. Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga).
50. Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka.
51. Na be kibiina kya Thamud era nga teyalekawo (wadde omu).
52. Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula.
53. Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora).
54. Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira.
55. Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa!.
56. Ono (omubaka Muhammad) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera.
57. Enkomerero esembedde.
58. Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda.
59. Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera.
60. Nemuba nga museka nemutakaaba.
61. Nga nammwe muzannya buzannyi.
62. Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu).