ترجمة سورة الذاريات

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الذاريات باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ndayidde empewo ezifumuula enfuufu olufumuula.
2. Olwo nno nendayira ebire ebyetikka enkuba olwetikka.
3. N'amaato agaseeyeeya mu mazzi mu bwangu.
4. Era ndayidde Malayika ezigabanya Riziki okusinziira ku kiragiro ekiba kiziweereddwa.
5. Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuukirira.
6. Era ddala olunaku lwo kusasula lwa kubaawo.
7. Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi.
8. Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kur’ani).
9. Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza).
10. Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi).
11. Abo abali mu nnyanga ey’obukaafiiri nga babulubuuta.
12. Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi?.
13. Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro.
14. (Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino kyekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu.
15. Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi.
16. Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa.
17. Bebakanga e kiseera kitono mu kiro.
18. Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira.
19. Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba).
20. Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala.
21. Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba.
22. Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa.
23. Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula.
24. Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako.
25. Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa.
26. Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye).
27. Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye!.
28. (Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo.
29. (Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya!).
30. (Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo.
31. Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese?.
32. Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi.
33. Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye.
34. Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde.
35. (Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza.
36. Naye tetwasangamu okugyako e nyumba emu eyabasiraamu.
37. Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo.
38. Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu.
39. Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu.
40. Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa.
41. Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala).
42. Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano.
43. Ne mu bantu ba Thamud (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono.
44. Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba.
45. Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona.
46. N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi.
47. (N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya.
48. N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga.
49. Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira.
50. Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.
51. N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.
52. Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu.
53. Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi.
54. Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa.
55. Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza.
56. Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze.
57. Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise.
58. Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi.
59. Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu).
60. Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero).
Icon