ترجمة سورة المدّثر

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة المدّثر باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda).
2. Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda.
3. Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza.
4. N'engoyezo zitukuze.
5. Amasanamu geewalire ddala.
6. Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi.
7. Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo.
8. Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira).
9. Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito.
10. Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri.
11. (Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera.
12. Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu.
13. Nemuwa nabaana abatutumufu.
14. Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa).
15. Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo.
16. Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani).
17. Nja kumussaako e bibonerezo e bizito.
18. Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani.
19. Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo.
20. Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo.
21. Oluvanyuma yakirowozaako.
22. Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu.
23. Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza.
24. Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka.
25. Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu!
26. (Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara.
27. Naye omanyi Sakara kyeki.
28. Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza.
29. Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu.
30. Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda.
31. Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu.
32. Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi.
33. Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako.
34. Ne ndayira n'amakya ngabusasaana.
35. Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene.
36. Ebyandibadde bibuulirira omuntu.
37. Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba.
38. Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye.
39. Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo.
40. Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa.
41. Ku bonoonyi.
42. Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro.
43. Baligamba nti tetubangako mu basaaze.
44. Era tetwaliisanga banaku.
45. Twabeeranga nabakubi bambekuulo.
46. Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero.
47. Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako.
48. Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza.
49. Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno).
50. Nga balinga entulege ezigobeddwa.
51. Ezidduka e mpologoma.
52. Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa.
53. Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero.
54. Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira.
55. Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo.
56. Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa.
Icon