ﰡ
2. Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola.
3. Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza.
4. Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi.
5. Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka).
6. Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka.
7. Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka.
8. Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya.
9. Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera).
10. Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.
11. (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi.
12. Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira.
13. Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
14. (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
15. (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.
16. (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.
17. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi.
18. Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu.
19. Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.
20. Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira.
21. Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.
22. Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu.
23. Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo.
24. Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde.
25. (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi.
26. (Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa
27. (Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi.
28. (Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.
29. Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.
30. Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde.
31. Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe.
32. Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi.
33. (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.
34. Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa.
35. Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula.
36. Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka
37. Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi.
38. Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba.
39. Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli.
40. Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali.
41. Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa.
42. Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi.
43. Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira.
44. Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo).
45. Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka.
46. Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira.
47. (Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza.
48. Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo.
49. Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima.
50. Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
51. Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira.
52. Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani).
53. Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu.
54. Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira.
55. Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera.
56. Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu.
57. Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
58. Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira.
59. Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi.
60. Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera!.
61. Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.
62. Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako.
63. Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe.
64. Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama.
65. Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka.
66. Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya.
67. Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi.
68. Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.
69. Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu.
70. Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa.
71. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!.
72. Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba!.
73. Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza.
74. Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga.
75. Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga.
76. Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.
77. Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi.
78. (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).
79. (Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene.
80. Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza.
81. Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa.
82. Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi.
83. Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda.
84. Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola.
85. Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu.
86. Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri.
87. Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.
88. Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.