ترجمة سورة المطفّفين

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة المطفّفين باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo.
2. Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe.
3. So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo).
4. Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa.
5. Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero).
6. Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde.
7. Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin.
8. Naye omanyi Sijjiin kye ki?
9. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu.
10. Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa.
11. Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero).
12. Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi.
13. Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka.
14. Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe.
15. Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda).
16. Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu.
17. Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga.
18. Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina.
19. Naye omanyi Illiyyiina kye ki?
20. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu.
21. Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda.
22. Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera.
23. Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde.
24. Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu.
25. Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi.
26. (Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye.
27. Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim.
28. Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda.
29. Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza.
30. Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso.
31. Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana.
32. Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala.
33. Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali.
34. Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza.
35. (Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka.
36. (Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola.
Icon