ترجمة سورة الواقعة

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الواقعة باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka.
2. Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa.
3. Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi).
4. Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana.
5. N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa.
6. Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka.
7. Era mmwe nemuba emitendera esatu.
8. Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?.
9. Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?.
10. Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu.
11. Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda).
12. Nga bali mu jjana ez'ebyengera.
13. Bangi mu bibiina ebyasooka.
14. Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad).
15. (Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo.
16. Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya).
17. Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu.
18. Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo.
19. Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira.
20. N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo.
21. Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala.
22. N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana.
23. Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri.
24. (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi).
25. Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza.
26. Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe.
27. Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?.
28. Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa.
29. N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye.
30. N'ebisikirize ebigazi.
31. N'amazzi agakulukuta awatali kusalako.
32. N'ebibala ebingi.
33. Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo.
34. N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu.
35. Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda.
36. Olwo nno twabatonda nga mbeerera.
37. Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa.
38. Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo.
39. Bangi mu bibiina ebyasooka.
40. Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad).
41. Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?.
42. Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze.
43. Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya.
44. Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa.
45. Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya.
46. Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira).
47. Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!.
48. Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!.
49. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma.
50. Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa.
51. Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa.
52. Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu.
53. Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe).
54. Olwo nno munywereko amazzi ageeseze.
55. Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta.
56. Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula.
57. Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo).
58. Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana.
59. Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!.
60. Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa.
61. Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi.
62. Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira.
63. Abaffe mulaba ebyo bye mulima.
64. Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!.
65. Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya.
66. (Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa.
67. (Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa.
68. Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa.
69. Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa.
70. Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi).
71. Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma.
72. Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika.
73. Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro).
74. Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.
75. Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye.
76. Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi.
77. Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa.
78. Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)
79. Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza).
80. Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
81. Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira.
82. Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe.
83. Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa).
84. Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula.
85. Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba.
86. Kale singa mwali temufugibwa (Katonda).
87. Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima.
88. Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda).
89. Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera.
90. Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.
91. (Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.
92. Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze.
93. (Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi.
94. Nakwesogga muliro Jahiimu.
95. Mazima ebyo ge mazima agannamaddala.
96. Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.
Icon